Buuka ogende ku bubaka obulimu

Twasalawo Okweggyako Ebintu Ebimu

Twasalawo Okweggyako Ebintu Ebimu

 Madián ne Marcela abaali babeera mu kibuga Medellín, mu Colombia baalina buli kimu kye baali beetaaga era nga bali mu bulamu obweyagaza. Madián yalina omulimu ogumusasula obulungi, era baali babeera mu nnyumba ey’ebbeeyi. Naye waliwo ekyabaawo ekyabaleetera okulowooza ku bye basaanidde okukulembeza mu bulamu. Bagamba nti: “Mu 2006 twagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwalina omutwe ogugamba nti, ‘Beera n’Eriiso Eriraba Awamu. Aboogezi bangi baatukubiriza okwewala okwetuumako ebintu kitusobozese okuweereza Katonda mu bujjuvu. Bwe twava ku lukuŋŋaana olwo, twakiraba nti twalina okubaako kye tukolawo. Twagulanga ebintu bingi era twalina amabanja mangi.”

 Ebyo Madián ne Marcela bye baayiga ku lukuŋŋaana olwo byabayamba okukiraba nti baali beetaaga okweggyako ebintu ebimu. Bagamba nti: “Twalekera awo okugulaagula ebintu. Twasengukira mu nnyumba entonoko, era ne tutunda emmotoka yaffe ne tugula pikipiki.” Era baalekera awo okugendanga mu maduuka amanene agaalimu ebintu ebingi ebisikiriza. Baatandika okumala obudde obuwerako nga babuulira baliraanwa baabwe ebikwata ku Bayibuli. Ate era baatandika okukolagana ennyo ne bapayoniya ab’enjawulo. a

 Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Madián ne Marcela baasengukira mu kibiina eky’omu kyalo awaali obwetaavu basobole okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe. Okusobola okukola ekyo, Madián yaleka omulimu gwe. Mukama we yeebuuza ensonga lwaki yali alese omulimu omulungi bwe gutyo. Madián bwe yali amunnyonnyola ensonga, yamubuuza nti: “Ofuna ssente nnyingi. Naye oli musanyufu?” Mukama we yakkiriza nti teyali musanyufu, kubanga yalina ebizibu bingi bye yali tasobola kugonjoola. Bw’atyo Madián yamuddamu nti: “Ekikulu si ze ssente mmeka z’ofuna, wabula okumanya ebisobola okukuyamba okuba omusanyufu. Okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda kituyambye nnyo nze ne mukyala wange okuba abasanyufu, era twagala okuwaayo ebiseera ebiwerako okukola omulimu ogwo kitusobozese okweyongera okuba abasanyufu.”

 Madián ne Marcela basanyufu era bamativu olw’okukulembeza okuweereza Katonda mu bulamu bwabwe. Kati bamaze emyaka 13, nga baweerereza mu bibiina omuli obwetaavu obusingako ebiri mu bugwanjuba bwa Colombia. Era kati baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo.

a Bapayoniya ab’enjawulo be babuulizi abalondebwa ofiisi z’amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa ne basindikibwa mu bitundu ebimu okubuulira amawulire amalungi ekiseera kyonna. Baweebwayo ssente entonotono okukola ku byetaago byabwe.