Buuka ogende ku bubaka obulimu

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Enkolagana Yange ne Taata Eddawo

Enkolagana Yange ne Taata Eddawo
  • YAZAALIBWA: 1954

  • ENSI: Philippines

  • EBYAFAAYO: Yalina Obukyayi eri Kitaawe Eyali Amuyisa Obubi

OBULAMU BWANGE BWE BWALI

 Abalambuzi bangi bagenda okulambula ekiyiriro ky’amazzi ekimanyiddwa ennyo ekiri okumpi n’ekibuga Pagsanjan mu Philippines. Eyo taata wange, Nardo Leron, gye yakulira mu bwavu. Bwe yalaba obulyi bw’enguzi obwali mu gavumenti, mu poliisi, ne gye yali akolera, yanyiiga nnyo.

 Bazadde bange baakolanga nnyo okusobola okukuza abaana omunaana be baalina. Baateranga okumala obudde buwanvu nga tebali waka, nga balabirira ennimiro ezaali mu nsozi. Ebiseera ebisinga nze ne muganda wange Rodelio twalinanga okwerabirira, era twalumwanga enjala. Ng’abaana, twafunanga obudde butono obw’okuzannya. Okutandikira ku mwaka musaanvu, buli omu ku ffe yalinanga okukola mu ssamba ly’ebinazi, era twetikkanga ebinazi bingi nga tubiyisa mu nsozi. Bwe byabanga bizitowa nnyo, twabikululanga.

 Taata yatukubanga nnyo, naye ekyasinga ng’okutuluma kwe kumulaba ng’akuba maama waffe. Twagezangako okumulemesa okukuba maama, naye ne tulemererwa. Nze ne Rodelio tweteesa okutta taata nga tukuze. Nga nnayagalanga nnyo okuba ne taata atwagala!

 Ebikolwa eby’obukambwe taata bye yali akola byandeetera okunyiiga ennyo, era ne nva awaka nga ndi wa mwaka 14. Okumala ekiseera nnasulanga ku nguudo, era nnatandika n’okunywa enjaga. Oluvannyuma nnakolanga ogw’okusaabaza abalambuzi nga mbatwala okulambula ebiyiriro.

 Oluvannyuma lw’emwaka mitono, nnatandika okusoma ku yunivasite mu Manila. Naye olw’okuba nnalinanga okuddayo e Pagsanjan okukola ku wiikendi, nnalinanga obudde butono obw’okusoma. Obulamu bwange tebwalina kigendererwa, era enjaga yali tekyasobola kukkakkanya birowoozo byange. Nnatandika okukozesa ebiragalalagala ebirala ebyali bisingako amaanyi. Era okukozesa ebiragalalagala kyandeetera okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Nnali nneetooloddwa obwavu, obutali bwenkanya, n’okubonaabona. Nnali saagala gavumenti kubanga nnali ndowooza nti ye yali eviiriddeko ebizibu ebyo. Nnabuuza Katonda nti, “Lwaki obulamu buli bwe buti?” Nnatambula mu madiini ag’enjawulo naye saafuna bya kuddamu. Nneeyongera okukozesa ebiragalalagala okusobola okubuzaabuza embeera yange.

 Mu 1972, abayizi mu Philippines baateekateeka okwekalakaasa nga bawakanya gavumenti. Nneegatta ku kibinja ekimu eky’abeekalakaasi, era ebyavaamu tebyali birungi. Abantu bangi baakwatibwa, era oluvannyuma lw’emyezi, baayiwa amagye mu ggwanga lyonna okusobola okukuuma eddembe.

 Nnaddamu okusula ku nguudo, naye ku luno nnali ntya ab’obuyinza olw’okuba nnali nneenyigidde mu kwekalakaasa. Okusobola okufuna ssente ez’okugula ebiragalalagala, nnatandika okubba, era oluvannyuma nneetundanga eri abantu abagagga n’abagwira. Nnali sifaayo oba mba mulamu oba nedda.

 Mu kiseera ekyo maama wange ne muganda wange omuto baali batandise okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Taata wange kyamunyiiza nnyo nnatuuka n’okwokya ebitabo byabwe. Naye bombi tebaddirira era oluvannyuma babatizibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa.

 Lumu, Omujulirwa wa Yakuwa yayogera ne taata wange ku kisuubizo ekiri mu Bayibuli ekiraga nti mu biseera eby’omu maaso, ensi yonna ejja kubaamu obwenkanya obwa nnamaddala. (Zabbuli 72:12-14) Ekyo taata wange kyamukwatako nnyo era n’asalawo okukinoonyerezaako. Bwe yali asoma Bayibuli, yakizuula nti Katonda asuubiza okuleeta gavumenti erimu obwenkanya, era n’ebyo by’ayagala abaami ne bataata okukola (Abeefeso 5:28; 6:4) Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ye ne baganda bange abalala bonna baafuuka Bajulirwa ba Yakuwa. Ebyo byonna nnali sibimanyi olw’okuba nnali mbeera walako nabo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE

 Mu 1978, nnasengukira mu Australia. Naye ne mu nsi eyo eyalimu emirembe era eyali obulungi mu by’enfuna, saasobola kukkakkana mu birowoozo. Nneeyongera okwekatankira omwenge n’okukozesa ebiragalalagala. Mu mwaka ogwo, Abajulirwa ba Yakuwa bankyalira. Nnayagala nnyo ebyo bye bandaga mu Bayibuli ebikwata ku nsi erimu emirembe, naye nnali ntya okukolagana nabo.

 Oluvannyuma lw’ekiseera kitono nnaddayo e Philippines ne mmalayo wiiki ntono. Baganda bange baŋŋamba nti taata waffe yali afubye nnyo okufuuka omuntu omulungi, naye nnali nkyalina obusungu ku mutima era nnagezaako okumwewala.

 Mwannyinaze omuto ku nze yanyinnyonnyola okuva mu Bayibuli ensonga lwaki waliwo okubonaabona era n’obutali bwenkanya. Nneewuunya nnyo okuba nti omwana omuto ono atalina bumanyirivu yannyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Bwe nnali nvaayo, taata wange yampa akatabo, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. a Yaŋŋamba nti: “Lekera awo okudduka. Akatabo kano kajja kukuyamba okuzuula ekyo ky’onoonya.” Yankubiriza okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa nga nzizeeyo mu Australia.

 Nnakolera ku ekyo taata wange kye yaŋŋamba era ne nzuula Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekyali okumpi ne we nnali nsula mu Brisbane. Nnakkiriza okuyiga Bayibuli. Obunnabbi bwa Bayibuli gamba ng’obwo obuli mu Danyeri essuula 7 ne Isaaya essuula 9, bwandaga nti gavumenti ya Katonda eteriimu bulyi bwa nguzi, y’ejja okutufuga mu biseera eby’omu maaso. Era nnayiga nti tujja kuba mu bulamu obulungi mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Nnali njagala okusiimibwa Katonda, naye nnakizuula nti nnalina okuyiga okwefuga, okulekera awo okukozesa ebiragalalagala n’okwekatankira omwenge, era n’okulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Nnayawukana n’omuwala gwe nnali mbeera naye era ne nneekutula ku mize emibi. Bwe nneeyongera okwesiga Yakuwa, nnamusaba annyambe okukola enkyukakyuka endala.

 Mpolampola, nnakiraba nti bye nnali njiga byali bisobola okukyusa obulamu bw’omuntu. Bayibuli egamba nti, bwe tufuba tusobola okwambala “omuntu omuggya.” (Abakkolosaayi 3:9, 10) Ekyo bwe nnafuba okukikola, nnakiraba nti ebyo bye nnawulira ku taata wange nti yafuuka omuntu omulungi byali bituufu. Mu kifo ky’okuwulira obusungu n’obukyayi, nnali njagala okuzzaawo emirembe naye. Kyaddaaki, nnasonyiwa taata wange era ne nneggyamu obukyayi bwe nnalina okuva mu buto.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU

 Bwe nnali nkyali muvubuka, nnagobereranga nnyo abalala, ekyanviirako okufuna ebizibu n’okwenyigira mu bikolwa ebibi. Okulabula Bayibuli kw’ewa kutuufu—emikwano emibi gya mpabya. (1 Abakkolinso 15:33) Naye nkoze emikwano egyesigika mu Bajulirwa ba Yakuwa, era ginnyambye okufuuka omuntu omulungi. Ate era mu bo, nnafunamu mukyala wange omulungi, Loretta. Ffembi, tuyigiriza abalala engeri Bayibuli gy’esobola okubayambamu.

Renée Leron ne mukyala we nga baliira wamu ekijjulo ne mikwano gyabwe

 Olw’okusoma Bayibuli, taata wange yakola enkyukakyuka ze nnali sisuubira—yafuuka omwami omulungi era Omukristaayo omukkakkamu, ow’emirembe era alina okwagala. Bwe twasisinkana nga mmaze okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa mu 1987, taata wange yangwa mu kafuba omulundi ogwasooka mu bulamu bwange!

 Okumala emyaka egisukka mu 35, taata wange ne maama wange beeyongera okukolera awamu, nga babuulira abantu essuubi Bayibuli ly’ewa. Yafuuka omusajja omunyiikivu era afaayo ku balala era yali amanyiddwa ng’omuntu ayamba abalala. Mu myaka egyo, nnayiga okumuwa ekitiibwa n’okumwagala. Nnali nneenyumiriza mu ky’okuyitibwa mutabani we! Yafa mu 2016, naye bwe mulowoozaako mpulira nga mwagala, nga nzijukira nti ye nange twakola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okukolera ku ebyo bye twali tuyiga mu Bayibuli. Sikyalina bukyayi gy’ali n’akamu. Era ndi musanyufu nnyo okuba nti nnazuula Kitange ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, asuubiza okumalawo ebintu byonna ebiviirako obutabanguko mu maka.

a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyafulumizibwa.