Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa Bakyawa Abantu Abatakyali mu Ddiini Yaabwe?

Abajulirwa ba Yakuwa Bakyawa Abantu Abatakyali mu Ddiini Yaabwe?

 Abo abaaliko Abajulirwa ba Yakuwa naye nga tebakyabuulira, oboolyawo nga baalekera n’awo okukuŋŋaana naffe, tetubakyawa. Mu butuufu, tubatuukirira ne tugezaako okubayamba okuddamu okuweereza Katonda.

 Omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi tetwanguwa kumugoba mu kibiina. Kyokka Omujulirwa wa Yakuwa omubatize bwe yeeyongera okumenya amateeka ga Katonda n’ateenenya, agobebwa mu kibiina. Bayibuli egamba nti: “Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.”​—1 Abakkolinso 5:13.

 Watya singa omusajja agobebwa mu kibiina, naye nga mukyala we n’abaana be bakyali Bajulirwa ba Yakuwa? Enkolagana gye babadde nayo mu by’okusinza ekyuka, naye enkolagana yaabwe ng’ab’omu maka tekyuka era basigala baagalana.

 Abantu abaagobebwa mu kibiina basobola okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe ez’okusinza. Era bwe baba nga baagadde, basobola okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo okuva eri abakadde mu kibiina. Ekigendererwa kiba kya kuyamba muntu kuddamu kufuna bisaanyizo bya kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Abo abaagobebwa mu kibiina bwe balekera awo okukola ebintu ebibi era ne baba bamalirivu okukolera ku mitindo gya Bayibuli, bakomezebwawo mu kibiina.