Ebikwata ku Buweereza bwa Yesu
Mu vidiyo zino, yiga ebisingawo ebikwata ku Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, era Omulokozi w’abantu.
Ekitundu 1: Ekitangaala eky’Amazima Ekyakira Ensi
Abantu banaanunulwa batya mu kibi kye baasikira okuva ku Adamu? Masiya lye ssuubi lyokka abantu bonna lye balina.
Ekitundu 2: “Ono Ye Mwana Wange”
Yokaana Omubatiza ateekerateekera Masiya ekkubo. Laba ebintu ebyewuunyisa ebibaawo nga Yesu atandika obuweereza bwe ku nsi.
Ekitundu 3: “Ye Nze”
Yesu amanyisa Nikodemu, omukazi Omusamaliya, n’abantu b’omu Samaliya nti ye Masiya. Naye abantu abatonotono ab’emitima emirungi be bamukkiririzaamu. Oluvannyuma lw’okukola ekyamagero ku nnyanja, agamba abavubi okufuuka abagoberezi be.
Ekitundu 4: “Kino Kye Kyandeeta”
Yesu akozesa amaanyi ge okuwonya abalwadde n’okugoba dayimooni ku bantu. Naye abantu abamu bamuwakanya era baagala okumutta. Olw’okuba wa kisa era ayigiriza bulungi, Yesu afuna abayigirizwa era mu bo alondamu 12.
Ekitundu 5: ’Baawuniikirira olw’Engeri gye Yali Ayigirizaamu’
Oluvannyuma lw’okuwonya abantu bangi, Yesu atandika okubayigiriza ng’omuntu alina obuyinza so si ng’abawandiisi baabwe. Engeri gy’abayigirizaamu ng’akozesa ebyokulabirako bye bamanyi obulungi ebaleetera okuwuniikirira.
Ekitundu 6: “Ye Ggwe Wuuyo Gwe Tubadde Tulindirira?”
Yesu akozesa amaanyi ge okuzuukiza abafu. Ebyamagero by’akola awamu n’engeri gy’ayigirizaamu byoleka ekyo ekiri mu mitima gy’abo abamuwuliriza. Ng’akozesa ebyokulabirako, Yesu annyonnyola ebikwata ku Bwakabaka.

