Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Kisoboka okuba ne gavumenti emu ng’efuga ensi yonna?
Gavumenti eneefuga ensi yonna eneesobozesa etya abantu ab’amawanga gonna okuba obumu? Isaaya 32:1, 17; 54:13
Lowooza ku engeri abantu gye bayinza okuganyulwa singa ensi yonna efugibwa gavumenti emu. Leero abantu bangi babonaabona olw’okuba baavu, ate ng’abalala bagagga nnyo. Naye singa gavumenti emu y’efuga ensi yonna, ate ng’efaayo ku bantu bonna, buli omu yandibadde afuna bye yeetaaga. Olowooza ekiseera kirituuka abantu ne bassaawo gavumenti ng’eyo?
Ebyafaayo biraga nti gavumenti ziremereddwa okukola ku byetaago by’abantu be zifuga, nnaddala abaavu. Gavumenti ezimu ziyisa bubi abantu be zifuga. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Naye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yasuubiza okussaawo gavumenti ejja okuggyawo gavumenti endala zonna. Omufuzi wa gavumenti eyo ajja kukola ku byetaago by’abantu bonna.
Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
Yakuwa Katonda yalonda omufuzi omutuufu, era nga ye Mwana we, Yesu. (Lukka 1:31-33) Yesu bwe yali ku nsi yayamba nnyo abantu. Bw’anaaba afuga ensi, ajja kusobozesa abantu ab’amawanga gonna okuba obumu, era aggyewo okubonaabona kwonna.
Buli omu anakkiriza nti Yesu y’agwanidde okuba Kabaka? Nedda. Naye olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, awadde abantu akakisa basobole okukkiriza nti Yesu y’agwanidde okuba Kabaka. (2 Peetero 3:9) Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kuzikiriza abantu ababi, era aleetewo emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna.