EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA| OKUVA 12

Abakristaayo Kye Bayigira ku Mbaga ey’Okuyitako

Abakristaayo Kye Bayigira ku Mbaga ey’Okuyitako

12:5-7, 12, 13, 24-27

Abayisirayiri okusobola okwewala okukosebwa ekibonyoobonyo eky’ekkumi baalina okugoberera obulagirizi. (Kuv 12:28) Mu kiro kya Nisaani 14, Abayisirayiri baalina okusigala mu mayumba gaabwe. Baalina okutta endiga oba embuzi ennamu obulungi nga ya mwaka gumu. Baalina okumansira omusaayi waggulu w’enzigi ne ku myango eruuyi n’eruuyi. Oluvannyuma baalina okwokya ensolo yonna era bagirye mu bwangu. Tewali n’omu yalina kufuluma mu nnyumba ye okutuukira ddala ku makya.​—Kuv 12:9-11, 22.

Okuba abawulize kituganyula kitya leero?