Jjulaayi 27–Agusito 2
OKUVA 12
Oluyimba 20 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Abakristaayo Kye Bayigira ku Mbaga ey’Okuyitako”: (Ddak. 10)
Kuv 12:5-7—Omwana gw’endiga ogw’Okuyitako kye gukiikirira (w07 1/1 lup. 24 ¶4)
Kuv 12:12, 13—Omusaayi ogwamansirwa ku myango kye gukiikirira (it-2-E lup. 583 ¶6)
Kuv 12:24-27—Kye tuyigira ku Mbaga ey’Okuyitako (w13 12/15 lup. 20 ¶13-14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 12:12—Mu ngeri ki Yakuwa gye yabonerezaamu bakatonda b’e Misiri ng’akozesa ebibonyoobonyo, nnaddala eky’ekkumi? (it-2-E lup. 582 ¶2)
Kuv 12:14-16—Kintu ki eky’enjawulo ekyabangawo ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ne ku nkuŋŋaana entukuvu, era kyaganyula kitya Abayisirayiri? (it-1-E lup. 504 ¶1)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 12:1-20 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe magazini ekwatagana n’ensonga gye mwogeddeko. (th essomo 6)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) bhs lup. 16 ¶21-22 (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Yakuwa Akuuma Abantu Be”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okulambula Myuziyamu Zaffe Eziri e Warwick: “Abantu Abayitibwa Erinnya lya Yakuwa.”
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 125
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 129 n’Okusaba