OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Beera Mwetoowaze—Weewale Okwegulumiza

Beera Mwetoowaze—Weewale Okwegulumiza

Omuntu bwe yeegulumiza era ne yeewaana kiraga nti alina amalala era tazimba balala. Bayibuli egamba nti: “Leka omuntu omulala akutendereze so si akamwa ko.”​—Nge 27:2.

MULABE VIDIYO, BEERA MUKWANO GWA YAKUWA—BEERA MWETOOWAZE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Bintu ki ebitera okuleetera abantu okwewaana?

  • Kalebu yeewaanidde atya ku mukwano gwe?

  • Taata we amuyambye atya okukimanya nti alina okuba omwetoowaze?

  • Ebiri mu 1 Peetero 5:5 biyinza bitya okutuyamba okuba abeetoowaze?