EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 TIMOSEEWO 1-4

“Katonda Teyatuwa Mwoyo gwa Butiitiizi”

“Katonda Teyatuwa Mwoyo gwa Butiitiizi”

1:7, 8

Ebigambo ebyo omutume Pawulo bye yawandiikira Timoseewo bisobola okutuzzaamu amaanyi. Mu kifo ky’okutya okubuulira amawulire amalungi, tusobola okulwanirira okukkiriza kwaffe n’obuvumu ne bwe kiba kitwetaagisa ‘kubonaabona.’

Mbeera ki ezinneetaagisa okwoleka obuvumu?