Yoleka Obuvumu ng’Oweereza Katonda
Ekitabo kino kijja kukuyamba okuba omuvumu era n’okuba n’okukkiriza okunywevu.
Ebbaluwa Okuva Eri Akakiiko Akafuzi
Akakiiko Akafuzi kasuubira nti ekitabo kino kijja kukuyamba okukoppa abasajja n’abakazi abaaliwo mu biseera eby’edda, kikuyambe naawe okuba omuvumu.
ENNYANJULA
Osobola Okuba Omuvumu!
Ekitabo kino kitegekeddwa okukuyamba okuba omuvumu. Laba engeri Yakuwa gye yayamba abantu abatatuukiridde okuba abavumu, era n’engeri naawe gy’asobola okukuyambamu.
EKITUNDU 1
EKITUNDU 1
Okuva mu Kiseera ky’Abasajja Abeesigwa ab’Edda Okutuuka mu Kiseera ky’Abalamuzi
Ekitundu kino kiraga abaweereza ba Yakuwa abaayoleka obuvumu era abaalina okukkiriza okw’amaanyi, okutandikira ku Enoka okutuuka ku nnabbi Samwiri.
Ekitundu 1 Ekipande
Ekipande ekiraga emyaka gy’abantu aboogerwako mu Bayibuli n’ebintu ebyaliwo ebyogerwako.
1 ENOKA
Yatambula ne Katonda
Enoka yali wa njawulo ku bantu ab’omu kiseera kye mu ngeri enkulu bbiri. Ekyo kyasoboka kitya? Ekyokulabirako kye kituyigiriza ki ku kuba abavumu?
2 NUUWA
Yasalira Ensi Omusango
Ebiseera byaffe bifaananako bitya ebiseera bya Nuuwa? Soma olabe engeri gy’oyinza okuba omuvumu nga Nuuwa.
4 IBULAYIMU
Omusajja Eyasooka Okulwana Olutalo olw’Obutuukirivu
Okuba nti Ibulayimu yali mwetegefu okununula Lutti omwana wa muganda we tukiyigirako ki? Yakuwa yasanyuka Ibulayimu bwe yayoleka obuvumu n’okukkiriza?
5 IBULAYIMU
Yali Mwetegefu Okukola Ekintu Ekizibu Ennyo
Tuyinza tutya okuba abavumu ne tugondera Yakuwa nga Ibulayimu bwe yakola? Ebyo bye tuyize ku Ibulayimu bitulaga bitya nti Katonda atwagala nnyo?
6 LEBBEEKA
Yagenda Gye Yali Tamanyi
Lebbeeka yali mukyala alina okukkiriza okw’amaanyi era yali muvumu. Tuyinza tutya okumukoppa?
7 YAKOBO
Yayoleka Obuvumu n’Akuuma ab’Omu Maka Ge
Ebyo Yakobo bye yayitamu biraga bitya nti tulina okufuba ennyo okusobola okufuna omukisa gwa Yakwua?
8 YUSUFU
Teyakola Kibi ng’Akemeddwa
Laba engeri ekyokulabirako kya Yusufu gye kisobola okukuyamba okugumira ebigezo n’okwewala okukola ekibi ng’okemeddwa.
9 SIFIRA, PUWA, AMULAAMU, YOKEBEDI, MIRIYAMU
‘Olw’Okukkiriza, Bazadde ba Musa Baamukweka’
Abazaalisa, bazadde ba Musa, ne mwannyina baayoleka okukkiriza n’obuvumu obw’amaanyi. Tuyinza tutya okubakoppa?
11 MUSA
“Genda eri Falaawo”
Ebyo bye tusoma ku Musa bituyamba bitya okuba abakakafu nti Yakuwa atuyamba ne bwe tuba nga tuwulira nti tetusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bw’aba atuwadde?
12 KALEBU
Yasigala Mwesigwa eri Katonda We
Laba engeri ekyokulabirako Kalebu kye yassaawo gye kisobola okutuyamba ne twewala ‘okugoberera abangi.’
13 YOSWA
Yakolera ku Biragiro Ebyali Birabika ng’Ebitakola
Bulagirizi ki Yakuwa bwe yawa Yoswa obwalabika ng’obutakola? Mu mbeera ki mwe tuyinza okukoppa Yoswa?
14 LAKABU
Yalondawo Okuba ku Ludda Lwa Yakuwa
Kiki kye tuyigira ku ekyo Lakabu kye yakola? Yakuwa yamuwa atya emikisa olw’okuba omuvumu n’olw’okuba n’okukkiriza?
15 NAWOMI NE LUUSI
Baayambagana mu Kiseera Ekizibu Ennyo
Nawomi ne Luusi baayoleka batya obuvumu? Biki bye tuyinza okubayigirako?
16 BALAKA NE DEBOLA
“Mazima Nja Kugenda Naawe”
Balaka yagamba Debola agende naye mu lutalo. Ekyo kyali kiraga nti teyalina kukkiriza kunywevu?
17 YAYEERI
“Wa Mukisa Okusinga Abakazi Bonna”
Yayeeri yayoleka obuvmu n’atta omulabe wa Yakuwa era n’okutuusa leero tukyamuyigirako. Lwaki twetaaga okuba abavumu nga ye?
18 GIDIYONI
Yali Muvumu era nga Mwegendereza
Ddi lwe kiyinza okwetaaga okuba abavumu era abeegendereza?
19 YEFUSA NE MUWALA WE
Baatuukiriza Obweyamo Obutaali Bwangu
Tuganyulwa tutya mu kyokulabirako Yefusa ne muwala we kye baatuteerawo?
20 SAMUSOONI
Yali Muvumu mu Kiseera We Yabeerera Omunafu
Kiki kye tuyigira ku ekyo Samusooni kye yakola oluvannyuma lw’okukola ensobi?
21 SAMWIRI
Omulenzi Eyategeeza Abalala Obubaka Obwava eri Yakuwa
Ddi abavubuka lwe kibeetaagisa okwoleka obuvumu ne banywerera ku kituufu?
EKITUNDU 2
EKITUNDU 2
Okuva mu Kiseera kya Bassekabaka Okutuuka ku Kuddamu Okuzimba Yerusaalemi
Ekitundu kino kyogera ku baweereza ba Yakuwa abaayoleka okukkiriza n’obuvumu, okutandikira ku Yonasaani, mutabani wa Kabaka Sawulo, kyogera ku Kabaka Dawudi, era kikomekkereza ng’abantu ba Katonda bavudde mu buwambe e Babulooni ne baddayo okuddamu okuzimba Yerusaalemi.
Ekitundu 2 Ekipande
Ekipande ekiraga emyaka gy’abantu aboogerwako mu Bayibuli n’ebintu ebyaliwo mu kiseera kya bassekabaka okutuuka okuddamu okuzimba Yerusaalemi.
22 YONASAANI
Yalina Okuba Omuvumu Okuba Omwesigwa eri Mukwano Gwe
Yonasaani yalina okuba omwesigwa eri Yakuwa n’eri kitaawe. Yamanya atya nti yalina kusinga kubeera mwesigwa eri Yakuwa? Tuyinza tutya okumukoppa?
23 DAWUDI
Yalwanyisa Omusajja Omuwagguufu
Dawudi yali amanyiddwa ‘ng’omulwanyi omuzira.’ Obuvumu bwe yayoleka bwayamba butya abalala okuba abavumu? Bw’oba omuvumu kikwata kitya ku balala?
25 DAWUDI
Yayoleka Obuvumu n’Akola Ekituufu
Dawudi yali asobola okuwoolera eggwanga. Lwaki ekyo teyakikola? Tuyinza tutya okumukoppa?
26 NASANI
Yawabula Kabaka
Ekyokulabirako kya Nasani kituyigiriza ki ku ngeri y’okuyambamu mukwano gwaffe aba akoze ekibi eky’amaanyi?
28 ASA
Yaweereza Yakuwa “Obulamu Bwe Bwonna”
Biki bye tuyigira ku musajja eyaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna?
30 NNAMWANDU W’E ZALEFAASI
Yayoleka Okukkiriza mu Kiseera Ekizibu
Ebyo bye tumusomako bituyamba bitya okwesiga Yakuwa?
31 OMUWALA OMUTO OMUYISIRAYIRI
Omuwala Omuto Ayogera Ebikwata ku Katonda We
Ekyokulabirako ky’omuwala oyo omuto kisobola okukuyamba okubuulira abalala wadde ng’otidde.
32 ERISA
“Ai Yakuwa, Zibula Amaaso Ge Alabe”
Okukimanya nti bamalayika bali kumpi naffe kituyamba kitya okuba abavumu?
33 YEKOYAADA
Yakuuma Kabaka
Kintu ki ekyali kyetaagisa obuvumu Yekoyaada kye yakola? Tuyinza tutya okwoleka obuvumu nga Yekoyaada?
34 KEEZEEKIYA
“Yanywerera ku Yakuwa”
Keezeekiya yayoleka obuvumu obw’amaanyi n’okukkiriza. Tuyinza tutya okumukoppa leero?
35 MANASE
Yayoleka Obuvumu ne Yeenenya
Lwaki tuyinza okugamba nti Manase yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu?
36 YOSIYA
Yayamba Abantu Okuddamu Okusinza Yakuwa
Wadde nga Yosiya yakulira mu bantu abataamuteerawo kyakulabirako kirungi, yayoleka obuvumu n’awagira okusinza okw’amazima. Tuyinza tutya okumukoppa?
37 DANYERI
‘Teyeeyonoona’
Abavubuka bayinza batya okukoppa Danyeri ne booleka obuvumu n’obwesigwa? Ffenna tuyinza kumukoppa tutya?
38 ABEBBULANIYA ABASATU
“Baazikiza Amaanyi g’Omuliro”
Abebbulaniya abasatu baali bavumu ne bwe baatisibwatisibwa nti bagenda kuttibwa. Tuyinza tutya okukoppa engeri zino ze baayoleka: obwetoowaze, obukkakkamu, n’obwesigwa?
39 ESEZA
“Bwe Nnaaba Wa Kufa Kale Nnaafa”
Eseza yali mugezi era nga muwulize. Yasobola okuwangula omwami we ataali muweereza wa Yakuwa. Tuyinza tutya okumukoppa?
40 NEKKEMIYA
Yaddamu Okuzimba Bbugwe
Kiki kye tuyigira ku Nekkemiya bwe kituuka ku kukola ekisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa? Abakadde bayinza batya okukoppa Nekkemiya?
EKITUNDU 3
EKITUNDU 3
Ekiseera kya Masiya n’Abagoberezi Be
Ekitundu kino kyogera ku baweereza ba Yakuwa abaali abavumu era abaalina okukkiriza okw’amaanyi abaaliwo mu kyasa ekyasooka, omuli omuwala Omuyudaaya embeerera ayitibwa Maliyamu, era kifundikira kyogera ku omutume Yokaana.
Ekitundu 3 Ekipande
Ekipande ekiraga emyaka abantu aboogerwako mu Kitundu 3 gye baawangaala. Ate era kiraga ebimu ku bintu ebikulu ebyaliwo okuva mu kiseera kya Masiya okutuukira ddala mu kiseera ky’omutume Yokaana.
41 ZEKKALIYA NE ERIZABEESI
“Baali Batuukirivu mu Maaso ga Yakuwa”
Lwaki Yakuwa yali atwala Zekkaliya ne Erizabeesi nti batuukirivu? Tuyinza tutya okubakoppa?
42 MALIYAMU
Yayoleka Obuvumu n’Akkiriza Obuvunaanyizibwa Obwamuweebwa
Maliyamu yaweebwa obw’enjawulo era obwali obw’amaanyi. Kiki ekyamuyamba okuba omuvumu n’asobola okubutuukiriza?
43 YUSUFU
Yeetikka Obuvunaanyizibwa obw’Amaanyi
Yusufu yateerawo atya bataata Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?
44 YOKAANA OMUBATIZA
‘Tewali Amusinga’
Yokaana yali musajja muvumu nnyo era teyalina bintu bingi mu bulamu. Weetegereze kye tusobola okumuyigirako.
45 PEETERO
‘Ndi Muntu Mwonoonyi’
Kiki kye tuyigira ku Peetero bwe kituuka ku kuweereza Yakuwa ne bwe tuba nga tulina obunafu?
46 MALIYAMU MAGUDALEENA
“Ndabye Mukama waffe!”
Maliyamu yeemalira ku kuyamba Yesu n’abatume be. Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi n’okuba abavumu nga bwe yakola?
47 MALIYAMU, MWANNYINA WA LAAZAALO
“Akoze ky’Asobola”
Yesu yasiima mwannyina wa Laazaalo, Maliyamu olw’okwoleka okukkiriza n’obuvumu. Yayoleka atya obuvumu? Tuyinza tutya okumukoppa?
48 SITEEFANO
‘Yali Ajjudde Omwoyo Omutukuvu n’Okukkiriza’
Sitefaano yalina okwewozaako. Yalwanirira atya okukkiriza kwe? Ekyokulabirako kye yatuteerawo kiyinza kitya okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa?
50 SAWULO OW’E TALUSO
Yakyusiza Ddala Endowooza Ye
Kiki ekyaleetera omusajja eyali ayigganya ennyo Abakristaayo okukyuka? Biki bye tumuyigirako?
51 BALUNABBA
“Oyo Azzaamu Abalala Amaanyi”
Balunabba yayoleka obuvumu, n’atwala Sawulo eri abatume. Tuyinza tutya okuba abavumu nga Balunabba era n’okuba abeeteefuteefu okuweereza abalala?
52 MAKKO
“Wa Mugaso Nnyo Gye Ndi”
Wadde nga Makko yafuna ebyamumalamu amaanyi, yeeyongera okuweereza Yakuwa era n’okuyamba bakkiriza banne. Biki bye tumuyigirako?
53 PAWULO
“Mbakubiriza Okuba Abagumu”
Pawulo yakiraga atya nti yali muvumu mu mbeera eyali enzibu ennyo? Okuba nti yali muvumu kyaganyula kitya abalala?
54 OMUTUME YOKAANA
Yayoleka Obuvumu mu Kiseera Ekizibu Ennyo
Omutume Yokaana teyaggwaamu maanyi era teyatya. Tuyinza tutya okumukoppa ne twoleka obuvumu nga tuweereza Katonda?
OKUFUNDIKIRA
OKUFUNDIKIRA
“Weeyongere Okubeera Omuvumu”
Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi, abato n’abakulu abaayoleka obuvumu ne baweereza Yakuwa. Ebyo bye tubasomako naffe bisobola okutuyamba okuba abavumu.
Tewaliiwo bikwatagana n'ekyo ky'olonze.

