Ddala amadiini gonna gasiimibwa Katonda?
“Omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.”—Matayo 7:14.
Bayibuli eraga nti
-
Si buli ddiini nti esiimibwa Katonda.—Matayo 7:21-23; Makko 7:6-8.
-
Abo abali mu ddiini ey’amazima bafuba okuba mu mirembe n’abalala era baagalana nnyo.—Mikka 4:3; Yokaana 13:35.
Okumanya ebisingawo, genda ku jw.org.

