Obufuzi Bwomu Ggulu Buleera Emikisa ku Nsi

Obufuzi Bwomu Ggulu Buleera Emikisa ku Nsi

Obufuzi Bwomu Ggulu Buleera Emikisa ku Nsi

41 Yakuwa yafula Yesu Kabaka mu ggulu.—Isaaya 9:6; Danyeri 7:13, 14; Ebikolwa By’Abatume 2:32-36

42 Ajja kufuga ensi yonna.Danyeri 7:14; Matayo 28:18

43 Ojjukira ekiriba ku bantu ababi?—Zabbuli 37:9, 10; Lukka 13:5

44 Ojjukira erinya lya malaika eyasooka okwonoona? Yesu alimujjawo awamu neba malaika abalala ababi. Ebifananyi byabwe birizikirizibwa.—Abaebbulaniya 2:14; Okubikkulirwa 20:2, 10

45 Yesu alikolera abantu abawulize ebintu bingi ebirungi.—Abaebbulaniya 5:9

46 Tewalibaawo alwaala nate.—Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 22:1, 2

Ojjukira Yesu bweyawonya abalwadde?

47 Buli muntu aliba n’ebintu ebirungi.—Isaaya 65:17, 21-23

48 Katonda ajjukira n’abantu abaafa. Alikozesa Yesu okubaza mu bulamu nate. Kino kiyitibwa kuzuukira.—Yokaana 5:28, 29; 11:25

49 Oluvanyuma l’wokuttibwa kwa babi bonna, tewalibaawo afa nate. Nebisolo eby’omunsiko tebiriba bikambwe. Buli omu anasanyukanga emirembe gyonna.—Okubikkulirwa 21:4; Isaaya 65:25; Zabbuli 37:11, 29