Magazini zaffe ezinnyonnyola Bayibuli zisobola okuwanulwa ku mukutu guno mu nnimi ezisukka mu 150. Magazini ya Omunaala gw’Omukuumi ennyonnyola engeri ebyo ebiriwo mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli. Ebudaabuda abantu ng’ebategeeza amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda era n’ebakubiriza okukkiririza mu Yesu Kristo. Ate yo Zuukuka! ewa abantu amagezi ku ngeri gye bayinza okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo ennaku zino, ate era n’ebakubiriza okussa obwesige mu kisuubizo kya Katonda eky’okuleetawo ensi empya ey’emirembe.