Bayibuli ky’egamba

Katonda talina mukyala gwe yazaalamu baana. Naye Katonda ye yatonda ebintu byonna era n’abiwa obulamu. (Okubikkulirwa 4:11) Eyo ye nsonga lwaki omuntu Katonda gwe yasooka okutonda, Adamu, ayitibwa “omwana wa Katonda.” (Lukka 3:38) Ate era Bayibuli eraga nti Katonda ye yatonda Yesu. Eyo ye nsonga lwaki Yesu naye ayitibwa “Mwana wa Katonda.”—Yokaana 1:49.

Katonda okutonda Adamu, yali yamala dda okutonda Yesu. Ng’ayogera ku Yesu, omutume Pawulo yagamba nti: “Kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye w’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Yesu yali yabeerawo dda nga tannaba na kuzaalibwa wano ku nsi mu Besirekemu. Ng’eyogera ku Yesu, Bayibuli egamba nti “ensibuko ye ya mu biseera eby’edda, mu nnaku ez’edda.” (Mikka 5:2) Yesu ye Mwana wa Katonda omubereberye era mu kusooka yali kitonde kya mwoyo nga tannazaalibwa wano ku nsi ng’omuntu. Yesu kennyini yalaga nti yava mu ggulu.—Yokaana 6:38; 8:23.