Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omusajja n’Omukazi Bwe Baba Baagalana, Kiba Kikyamu Bwe Beegatta nga Si Bafumbo?

Omusajja n’Omukazi Bwe Baba Baagalana, Kiba Kikyamu Bwe Beegatta nga Si Bafumbo?

Bayibuli ky’egamba

Bayibuli egamba nti ‘abagwenyufu Katonda ajja kubasalira omusango.’ (Abebbulaniya 13:4) Ekigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa ekyavvuunulwa ‘obugwenyufu,’ kizingiramu okwegatta kwonna wakati w’abantu abatali bafumbo. N’olwekyo, kiba kikyamu mu maaso ga Katonda omusajja n’omukazi abatali bafumbo okwegatta, ne bwe kiba nti balina ekiruubirirwa eky’okufumbiriganwa mu biseera eby’omu maaso.

Naye watya singa omusajja n’omukazi baba baagalana nnyo? Ne bwe kiba kityo, Katonda aba abeetaagisa okusooka okufumbiriganwa nga tebanneegatta. Katonda yatutonda nga tulina obusobozi bw’okwoleka okwagala. Engeri ye esinga obukulu kwe kwagala. (1 Yokaana 4:8) N’olwekyo, alina ensonga ennungi kw’asinziira okulagira nti okwegatta kulina kuba wakati w’omusajja n’omukazi abafumbo.