Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Ebyo Ebikwata ku Yesu Byawandiikibwa Ddi?

Ebyo Ebikwata ku Yesu Byawandiikibwa Ddi?

Bayibuli ky’egamba

Ng’ayogera ku ebyo bye yawandiika ebikwata ku Yesu, omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo eyakiraba ye yakiwaako obujulirwa buno; obujulirwa bwe yawa butuufu era amanyi nti by’ayogera bya mazima nammwe musobole okukkiriza.”—Yokaana 19:35.

Ekimu ku bintu ebituleetera okukkiriza nti ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana bituufu kye ky’okuba nti byawandiikibwa nga bangi ku bantu abaabirabako nga bakyali balamu. Okusinziira ku kunoonyereza okutali kumu okwakolebwa, ekitabo ky’Enjiri ya Matayo kyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 41 E.E., nga waakayita emyaka nga munaana gyokka oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu. Wadde nga waliwo abamu abagamba nti ekitabo ekyo kyawandiikibwa luvannyumako, okutwalira awamu bonna bakkiriza nti Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byonna byamalirizibwa okuwandiikibwa mu kyasa ekyasooka E.E.

Abantu abaalaba Yesu ng’ali ku nsi, abaalaba ng’attibwa, oba abaaliwo ng’azuukiziddwa baali basobola bulungi okukakasa ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo by’Enjiri. Era baali basobola okulaga ensobi ezaalimu singa ddala zaalimu. Profesa F. F. Bruce agamba nti: “Ebyo abatume bye baali babuulira ebikwata ku Yesu baali babyekakasa era abantu be baabuuliranga tebaabiwakanyanga. Abatume baagamba nti, ‘baali bajulirwa b’ebintu byonna Yesu bye yakola,’ era ne bagamba n’abo abaali babawuliriza nti, ‘nabo baali bamanyi ebintu ebyo’ (Ebikolwa 2:22).