Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Yesu Yafiira ku Musaalaba?

Ddala Yesu Yafiira ku Musaalaba?

Bayibuli ky’egamba

 Abantu bangi omusaala bagutwala nti ke kabonero k’Abakristaayo akasinga obukulu. Kyokka, Bayibuli teyogera ku ngeri ekyo kwe battira Yesu gye kyali kyakulamu. N’olwekyo, tewali ayinza kumanyira ddala bwe kyali kifaanana. Wadde kiri kityo, Bayibuli etuwa obukakafu obulaga nti Yesu teyafiira ku musaalaba, wabula ku nkondo.

 Bayibuli ekozesa ekigambo stau·rosʹ eky’Oluyonaani, ng’eyogera ku kintu Yesu kwe yafiira. (Matayo 27:40; Yokaana 19:17) Wadde nga Bayibuli nnyingi zivvuunula ekigambo kino nti “omusaalaba,” abeekenneenya bangi bakkiriziganya nti ekigambo ekyo kitegeeza “ekikondo ekyesimbye.” * Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa A Critical Lexicon and Concordance to the English and Greek New Testament, ekigambo stau·rosʹ “tekibangako na makulu ag’emiti ebiri egikiikiddwa mu ngeri yonna.”

 Bayibuli era ekozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekirala xyʹlon ekirina amakulu ge gamu ne stau·rosʹ. (Ebikolwa 5:​30; 1 Peetero 2:​24) Ekigambo ekyo kiyinza okutegeeza “olubaawo,” “enkondo,” oba “omuti.” * N’olwensonga eyo, ekyusa ya Bayibuli eyitibwa The Companion Bible egamba nti: “Oluyonaani olwakozesebwa mu kuwandiika Endagaano Empya terulaga nti ekigambo ekyo kitegeeza emiti ebiri egikiikiddwa mu ngeri yonna.”

Ddala kisanyusa Katonda okukozesa omusaalaba mu kusinza?

A crux simplex​—Bigambo bya Lulattini era bitegeeza enkondo kwe baakomereranga omumenyi w’amateeka

 Ka kibe ki Yesu kye yafiirako, bino wammanga awamu n’ennyiriri za Bayibuli eziragiddwa biraga nti tetusaanidde kukozesa musaalaba mu kusinza.

  1.   Katonda tayagala kumusinza nga tukozesa ebifaananyi oba obubonero, nga mw’otwalidde omusaalaba. Katonda yalagira Abayisirayiri obutakozesa “ekifaananyi ekyole eky’ekintu kyonna” mu kusinza, era n’Abakristaayo baalagirwa nti, “mudduke okusinza ebifaananyi.”​—⁠Ekyamateeka 4:​15-​19; 1 Abakkolinso 10:14.

  2.   Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka tebaakozesa musaalaba mu kusinza. * Abatume ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baateerawo Abakristaayo bonna ekyokulabirako mu bye baayigirizanga ne bye baakolanga.​—⁠2 Abassessalonika 2:​15.

  3.   Okukozesa omusaalaba mu kusinza kwasibuka mu bakaafiiri. * Emyaka mingi oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, amakanisa gaava ku njigiriza za Yesu, era abantu abaageegattangako “bakkirizibwanga okukozesa ebifaananyi n’obubonera bye baakozesanga mu kusinza okw’ekikaafiiri” nga mw’otwalidde n’omusaalaba. (The Expanded Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words) Kyokka, Bayibuli evumirira okukozesa obubonero obw’ekikaafiiri olw’okwagala okufuna abagoberezi.​—⁠2 Abakkolinso 6:​17.

^ lup. 2 Laba New Bible Dictionary, Third Edition, edited by D. R. W. Wood, olupapula 245; Theological Dictionary of the New Testament, Omuzingo VII, olupapula 572; The International Standard Bible Encyclopedia, Revised Edition, Omuzingo 1, olupapula 825; ne The Imperial Bible-Dictionary, Omuzingo II, olupapula 84.

^ lup. 3 Laba The Expanded Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words, olupapula 1165; A Greek-English Lexicon, ekya Liddell ne Scott, Ninth Edition, olupapula 1191-​1192; ne Theological Dictionary of the New Testament, Omuzingo V, olupapula 37.

^ lup. 6 Laba Encyclopædia Britannica, 2003, entry “Cross”; The Cross​—Its History and Symbolism, olupapula 40; ne The Companion Bible, Oxford University Press, appendix 162, olupapula 186.

^ lup. 7 Laba The Encyclopedia of Religion, Omuzingo 4, olupapula 165; The Encyclopedia Americana, Omuzingo 8, olupapula 246; ne Symbols Around Us, olupapula 205-​207.