Buuka ogende ku bubaka obulimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Nkole Ntya Okulwanyisa Ebikemo?

Nkole Ntya Okulwanyisa Ebikemo?

By’osaanidde okukola

Okusooka, olina okukimanya nti, ka kibeere ki mikwano gyo kye baba bakoze, buli kyonna ky’okola, ggwe oba osazeewo okukikola.

Eky’okubiri, fuba okumanya ekikemo ky’osingira ddala okwolekagana nakyo.

Oluvannyuma, weebuuze, ‘Ddi lwe nsinga okukemebwa okukola ekintu ekyo ekibi?’ (Nga ndi ssomero? Nga ndi ku mulimu? Nga ndi mu kifo kirala?) Ekyo bw’okimanya, kiyinza n’okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okwekuuma n’otokigwamu.

Awo kati ate obeeko ky’okolawo. Kikulu nnyo okumanya engeri gy’oyinza okwewalamu embeera eziyinza okukuviirako okukemebwa okukola ekintu ekibi. (Ng’ekyokulabirako: Bwe kiba nti w’oyita ng’ova ku ssomero otera okusanga abaana b’osoma nabo abakupikiriza okunywa sigala, oyinza okukyusa ekkubo.) Kitegeere nti abo abeeyita mikwano gyo ate ne bakupikiriza okukola ebintu ebibi tebaba mikwano gya nnamaddala.

Kyo kituufu nti tosobola kwewala mbeera zonna eziyinza okukuviirako obuzibu. Era ekiseera kituuka n’oyolekagana n’okukemebwa okw’amaanyi ennyo—oboolyawo mu ngeri gy’obadde tosuubira. Embeera ng’eyo oyinza kugyetegekera otya?

Bwe wekkiriranya ng’okemeddwa, oba ofuuse muddu w’ekyo kye weegombye

Ekikulu kwe kuba obulindaala buli kiseera!

Lowooza ku kino: Yesu yalinga amanyi ky’agwanidde okukola singa aba ayolekaganye n’okugezesebwa. Yalinga mumalirivu buli kiseera okukola Kitaawe ky’ayagala. (Yokaana 8:28, 29) N’olwekyo, ekikulu kwe kuba nti buli kiseera omanyi ky’oteekeddwa okukola.

Eky’Okukola. Gezaako okulaba obanga osobola okumenya ensonga bbiri lwaki osaanidde okuziyiza ekikemo ky’otera okwolekagana nakyo, ate oluvannyuma omenye ebintu bibiri by’oyinza okukola okusobola okuziyiza ekikemo ekyo.

Lwaki okkiriza abalala okufuga obulamu bwo? Laga obuvumu okole ekyo ky’omanyi nti kye kituufu. (Abakkolosaayi 3:5) Ate era teweerabira kusaba Katonda akuyambe okukolanga bw’otyo bulijjo.—Matayo 6:13.