ABAVUBUKA BABUUZA
Kiki Kye Nsaanidde Okukola Oluvannyuma lw’Okubatizibwa?—Ekitundu 2: Kuuma Obwesigwa Bwo
Bayibuli egamba nti “Yakuwa talina kirungi kyonna ky’amma abo abatambulira mu bugolokofu.” (Zabbuli 84:11) ‘Okutambulira mu bugolokofu’ kitegeeza ki? Kitegeeza okweyisa mu ngeri etuukana n’obweyamo bwe wakola nga weewaayo eri Yakuwa. (Omubuulizi 5:4, 5) Oyinza otya okutambulira mu bugolokofu, kwe kugamba, okukuuma obwesigwa bwo oluvannyuma lw’okubatizibwa?
Mu kitundu kino, tugenda kulaba bino wammanga:
Weeyongere okugumira ebizibu
Ekyawandiikibwa: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.”—Ebikolwa 14:22.
Kye kitegeeza: Abakristaayo bonna bafuna ebizibu. Waliwo ebizibu by’ojja okufuna olw’okuba oli Mukristaayo, gamba ng’okusekererwa oba okuyigganyizibwa. Kyokka ebizibu ebirala gamba ng’eby’enfuna oba obulwadde, abantu bonna bibatuukako.
Ky’olina okusuubira: Ebiseera ebimu, wayinza okujjawo enkyukakyuka mu bulamu bwo, era ezimu ku zo oyinza obutazaagala. Bayibuli egamba nti ebintu ebibi bisobola okutuuka ku buli muntu, k’abe Mukristaayo obanga si Mukristaayo.—Omubuulizi 9:11.
Ky’osobola okukola: Okuva bw’okimanyi nti ojja kufuna ebizibu, kiba kya magezi okweteekateeka nga bukyali. Bw’ofuna ebizibu, kitwale nti ofunye akakisa okunyweza okukkiriza kwo, n’okukiraga nti weesiga Yakuwa. (Yakobo 1:2, 3) Oluvannyuma lw’ekiseera, naawe ojja kukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo ebigamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.
KYALIWO DDALA. “Oluvannyuma lw’ekiseera kitono nga mmaze okubatizibwa, baganda bange baalekera awo okuweereza Yakuwa, bazadde bange ne balwala, nange ne ndwala. Mu kiseera ekyo, kyali kyangu okwerabira nti bwe nneewaayo eri Katonda, nnamusuubiza okukulembeza okukola by’ayagala mu bulamu bwange. Bwe nnajjukira obweyamo bwe nnakola nga nneewaayo eri Yakuwa, kyannyamba okugumira ebizibu ebyo.”—Karen.
Ekiyinza okukuyamba: Soma ebikwata ku Yusufu. Biri mu kitabo kya Olubereberye essuula 37, ne 39 okutuuka ku 41. Weebuuze: Bizibu ki bye yali tasuubira ebyamutuukako, era yabiyitamu atya? Yakuwa yamuyamba atya?
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ebitundu:
Wanula:
Ziyizanga ebikemo
Ekyawandiikibwa: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.”—Yakobo 1:14.
Kye kitegeeza: Oluusi ffenna tufuna okwegomba okubi, era bwe tutakufuga kisobola okutuviirako okukola ebintu ebibi.
Ky’olina okusuubira: N’oluvannyuma lw’okubatizibwa, ojja kweyongera okufuna ‘okwegomba kw’omubiri.’ (2 Peetero 2:18) Oyinza n’okuwulira ng’oyagala okwenyigira mu bikolwa eby’okwegatta nga tonnaba kuyingira bufumbo.
Ky’osobola okukola: Salawo kati ky’onookola singa oba okemeddwa; ekyo kijja kukuyamba obutatwalirizibwa kwegomba kubi. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” (Matayo 6:24) Salawo ani anaaba mukama wo. Londa Yakuwa. Okwegomba ka kube kwa maanyi kutya, osobola okusalawo obutakukolerako.—Abaggalatiya 5:16.
Ekiyinza okukuyamba: Manya obunafu bwo we buli. Londa emikwano eginaakuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Weewale abantu, ebifo, n’embeera eziyinza okukifuula ekizibu gy’oli okukola ekituufu.—Zabbuli 26:4, 5.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ebitundu:
“Nnyinza Ntya Okwewala Okukola Ekibi nga Nkemeddwa?”
Weeyongere okuba omunyiikivu
Ekyawandiikibwa: “Buli omu ku mmwe yeeyongere okwoleka obunyiikivu obwo . . . okutuukira ddala ku nkomerero, muleme kubeera bagayaavu.”—Abebbulaniya 6:11, 12.
Kye kitegeeza: Omuntu bw’atassa mutima gwe ku ekyo ky’akola, ayinza obutakikola bulungi.
Ky’olina okusuubira: Bwe wali waakabatizibwa, oyinza okuba nga wali munyiikivu nnyo. Wali oyagala nnyo Yakuwa. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, oyinza okukisanga nga kizibu okugondera Yakuwa mu buli kimu, era ekyo kiyinza okukuviirako okuggwaamu amaanyi n’olekera awo okuba omunyiikivu.—Abaggalatiya 5:7.
Ky’osobola okukola: Weeyongere okukola ekituufu ne bwe kiba nti ebiseera ebimu owulira nti kikukaluubirira. (1 Abakkolinso 9:27) Mu kiseera kye kimu, nyweza enkolagana yo ne Yakuwa nga weeyongera okumumanya n’okumusaba obutayosa. Ate era, weeyongere okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abo abaagala Yakuwa.
Ekiyinza okukuyamba: Kijjukire nti Yakuwa akwagala nnyo era mwetegefu okukuyamba. Bw’oba ng’omaze ekiseera nga toli munyiikivu, tokitwala nti Yakuwa takyakwagala. Bayibuli egamba nti: “Oyo akooye amuwa amaanyi, n’abo abatalina maanyi abawa amaanyi mangi nnyo.” (Isaaya 40:29) Yakuwa ajja kukuyamba oddemu okumuweereza n’obunyiikivu.
Ebirala ebisobola okukuyamba
Soma ebitundu:
Laba vidiyo:
Ky’olina okumanya: Bw’osigala ng’oli mwesigwa, ojja kusanyusa Yakuwa. (Engero 27:11) Ajja kukwagala nnyo olw’okusalawo okuba ku ludda lwe, era ajja kukuwa byonna bye weetaaga okusobola okuziyiza enkwe za Sitaani.

