Buuka ogende ku bubaka obulimu

Engeri gye tukuumamu ebikukwatako

Engeri gye tukuumamu ebikukwatako

Ebikukwatako

Ebikukwatako by’oteeka ku mukutu guno bikozesebwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., oba ebitongole byabwe ebirala, era bikozesebwa olw’ekigendererwa ekyo kyokka kye tuba tukugambye ng’obituwa. Ebyo ebikukwatako aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc. tebabiwa muntu mulala yenna okuggyako ng’ekyo kyetaagisa olw’ekigendererwa eky’okuyamba ggwe aba abituwadde era nga tukutegeezezza, oba nga bakitegedde nti kyetaagisa okusobola okutuukiriza amateeka kye galagira, okulwanyisa oba okuziyiza obukumpanya, oba ensonga ezikwata ku by’okwerinda, oba ensonga endala ey’amaanyi. Ebikukwatako ebyo aba Watchtower tebajja kubitunda, oba okubikozesa mu ngeri endala okubaako kye babifunamu.

Endagiriro yo eya E-mail

Endagiriro ya e-mail gy’otuwa ng’oggulawo akawunti ku mukutu guno tujja kugikozesa okuwuliziganya naawe nga waliwo ensonga yonna ekwata ku akawunti yo. Ng’ekyokulabirako, singa weerabira erinnya oba ekigambo ky’okozesa okuyingira ku akawunti yo, era n’otusaba tukuyambe okuyingira ku akawunti yo, tujja kukuweereza obubaka okukuyamba nga tukozesa endagiriro ya e-mail eyo.

Kuki (Cookies)

Kuki zikozesebwa okujjukira ebintu omuntu by’atera okwagala okukozesa ng’ali ku mukutu gwa jw.org. Ng’ekyokulabirako, olulimi omuntu lw’asinga okukozesa luterekebwa mu kuki, ne kiba nti bw’addamu okuyingira ku akawunti ku mukutu gwa jw.org, ebigambo biba mu lulimi olwo. Kyokka nno ebintu ebikukwatako ggwe ng’omuntu tebiterekebwa mu kuki ezo.

Active Scripting oba JavaScript

Aba jw.org tukozesa enkola ya scripting okusobozesa omukutu ogwo okukola obulungi. Okukozesa tekinologiya oyo kisobozesa jw.org okukola mu bwangu ku ebyo abagikozesa bye baba beetaaga. Aba jw.org tetukozesa nkola ya scripting kubaako bye tuteeka ku kompyuta z’abo abakozesa omukutu guno, wadde okufuna ebibakwatako nga bo tebatuwadde lukusa.

Kompyuta yo eteekwa okuba ng’erina enkola ya Active scripting oba JavaScript omukutu gwa jw.org okusobola okukola obulungi. Programu ezisinga ezisobozesa omuntu okugenda ku Intaneeti zikkiriza omuntu okusalawo okukozesa oba obutakozesa active scripting oba JavaScript. Programu gy’okozesa okugenda ku Intaneeti esobola okukuyamba okutegeera engeri gy’oyinza okusobozesa Active scripting oba JavaScript okukola.

Bwe tuliba tukyusizzaamu mu nkola gye tugoberera okukuuma ebikukwatako, enkyukakyuka eziriba zikoleddwa tuliziraga ku muko guno, mu ngeri eyo olisobola okumanya ebyo bye twagala otutegeeze era n’engeri gye tubikozesaamu.