Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 EBIFA MU NSI

Ebikwata ku Ssemazinga wa Amerika

Ebikwata ku Ssemazinga wa Amerika

Amawulire agava ku ssemazinga wa Amerika galaga nti kikulu okukolera ku magezi agali mu Bayibuli.

Obutakebera Nnyo Bubaka Kikendeeza ku Kweraliikirira

Okunoonyereza okwakolebwa mu Vancouver mu Canada kulaga nti abantu abakebera obubaka ku masimu oba ku kompyuta emirundi esatu buli lunaku mu kifo ky’okubukeberakebera buli kaseera tebeeraliikirira nnyo. Kostadin Kushlev, eyawoma omutwe mu kunoonyereza okwo yagamba nti: “Abantu tekibanguyira kwewala kukeberakebera bubaka obuba bubaweerezeddwa ku kompyuta oba ku masimu gaabwe, ate ng’ekyo kyandibadde kikendeeza ku bibeeraliikiriza.”

LOWOOZA KU KINO: Okuva bwe kiri nti tuli mu ‘biseera ebizibu ennyo,’ tetwandifubye okukendeeza ku bitweraliikiriza?2 Timoseewo 3:1.

Ebyennyanja Byeyongedde

Lipoota emu eyaweebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi ekiyitibwa Wildlife Conservation Society (WCS), yagamba nti: “Emiwendo gy’ebyennyanja n’amakovu mu nnyanja z’omu Belize n’ez’omu nsi endala ez’omu Caribbean gweyongedde. Ekyo kiri kityo kubanga gavumenti tezikyakkiriza bantu kuvubira mu bitundu by’ennyanja ebimu.” Ng’ayogera ku nsi ya Belize, omukwanaganya w’ekitongole kya WCS ayitibwa Janet Gibson, yagamba nti: “Singa gavumenti zigaana abantu okuvubira mu bitundu by’ennyanja ebimu, omuwendo gw’ebyennyanja eby’ebika eby’enjawulo gujja kweyongera.”

LOWOOZA KU KINO: Okuba nti obutonde busobola okwezza obujja tekiraga nti Omutonzi alina amagezi mangi nnyo?Zabbuli 104:24, 25.

Ettemu mu Brazil

Lipoota eyafulumizibwa ekitongole ky’eby’amawulire mu Brazil ekiyitibwa Agência Brasil eraga nti ettemu lyeyongedde nnyo mu Brazil. Mu 2012, abantu abasukka mu 56,000 be baatemulwa, era ng’okusinziira ku Kitongole ky’Eby’Obulamu, guno gwe muwendo ogukyasinzeeyo obunene ogw’abantu abatemulwa buli mwaka. Omukugu mu by’okwerinda ayitibwa Luís Sapori agamba nti, ekyo kivudde ku kuba nti empisa z’abantu zeeyongedde okwonooneka. Abantu bwe balekera awo okussa ekitiibwa mu mateeka, “batandika okukozesa eryanyi okusobola okufuna ebyo bye baba baagala.”

OBADDE OKIMANYI? Bayibuli yayogera ku kiseera okwagala kw’abantu abasinga obungi lwe kwandiwoze, ne kiviirako obujeemu okweyongera.Matayo 24:3, 12.