Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 BAYIBULI KY’EGAMBA | OKWERALIIKIRIRA

Okweraliikirira

Okweraliikirira

Okweraliikirira kusobola okuba okw’obulabe oba okw’omuganyulo. Bayibuli etuyamba okumanya okweraliikirira okw’obulabe n’okw’omuganyulo.

Kya bulijjo okweraliikirira?

EKITUUFU

Omuntu eyeeraliikirira aba tateredde, abaamu okutya, oba aba n’ebirowoozo bingi. Okuva bwe kiri nti tuli mu nsi erimu ebizibu ebitali bimu, ffenna tusobola okweraliikirira.

BAYIBULI KY’EGAMBA

Kabaka Dawudi yawandiika nti: “Ndituusa wa okweraliikirira, n’okuba n’ennaku mu mutima gwange buli lunaku?” (Zabbuli 13:2) Kiki ekyayamba Dawudi okwaŋŋanga embeera eyo? Yasaba Katonda n’amutegeeza ebyo ebyali bimweraliikiriza, nga mukakafu nti Katonda yali ajja kumulaga okwagala okutajjulukuka. (Zabbuli 13:5; 62:8) Mu butuufu, Katonda atukubiriza okumutikka emigugu gyaffe. Mu 1 Peetero 5:7 tusoma nti: “[Mukwase Katonda] byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.”

Okubaako kye tukolawo okuyamba abalala kituyamba okukendeeza ku kweraliikirira kwe tulina gye bali

Emirundi mingi wabaawo ebintu bye tusobola okukola okukendeeza ku kweraliikirira. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Bayibuli Pawulo bwe yali ‘yeeraliikirira olw’ebibiina byonna,’ yakola kyonna ekisoboka okubudaabuda n’okuzzaamu amaanyi ab’oluganda abaali mu bibiina ebyo. (2 Abakkolinso 11:28) Mu ngeri eyo okweraliikirira kwavaamu emiganyulo kubanga kwamukubiriza okubaako ky’akolawo okuyamba abaali beetaaga obuyambi. Bwe kityo bwe kiri n’eri ffe. Naye bwe tuteefiirayo ng’abalala bali mu bwetaavu kisobola okulaga nti tetubaagala.Engero 17:17.

‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’Abafiripi 2:4.

 Oyinza otya okwewala okweraliikirira ekisukkiridde?

EKITUUFU

Abantu batera okweraliikirira olw’ensobi ze baakola emabega, olw’ebyo bye basuubira okubaawo mu biseera eby’omu maaso, oba olw’eby’enfuna. *

BAYIBULI KY’EGAMBA

Okweraliikirira olw’ensobi ez’emabega: Abantu abamu mu kyasa ekyasooka bwe baali tebannafuuka Bakristaayo, baali batamiivu, baali banyazi, baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, era baali babbi. (1 Abakkolinso 6:9-11) Naye mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byabwe ku nsobi ze baakola emabega, baakyusa enneeyisa yaabwe nga bakakafu nti Katonda ow’ekisa ekingi, asonyiwa abo ababa beenenyezza mu bwesimbu. Zabbuli 130:4 wagamba nti: “Ggwe [Katonda] osonyiyira ddala, bw’otyo olyoke oweebwe ekitiibwa.”

Okweraliikirira ebikwata ku biseera eby’omu maaso: Yesu Kristo yagamba nti: “Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’ebyeraliikiriza ebyalwo.” (Matayo 6:25, 34) Kiki kye yali ategeeza? Essira lisse ku bizibu by’olina leero. Tobigattako bya nkya, kubanga ekyo kiyinza okukulemesa okusalawo obulungi. Ate era kijjukire nti ebintu abantu bye beeraliikirira oluusi tebibaawo.

Okweraliikirira ebikwata ku ssente: Omusajja omu ow’amagezi yagamba nti: “Tompa bwavu wadde obugagga.” (Engero 30:8) Omusajja oyo yayagala okubeera omumativu, ate ng’ekyo Katonda ky’ayagala. Abebbulaniya 13:5 wagamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’” Obutafaananako ssente oluusi eziyinza obutatuyamba, Katonda ye tasobola kulemererwa kuyamba abo abamwesiga era abamwemalirako.

“Sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere.”Zabbuli 37:25.

Okweraliikirira kuliggwaawo?

ABANTU KYE BAGAMBA

Mu 2008, munnamawulire ayitibwa Harriet Green yawandiika ekitundu ekyafulumira mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Guardian n’agamba nti: “Okweraliikirira kati kugenze ku kigero kipya.” Mu 2014, Patrick O’Connor yawandiika mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa The Wall Street Journal n’agamba nti: “Leero, abantu mu Amerika beeraliikirira nnyo okusinga bwe kyali kibadde.”

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza, naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.” (Engero 12:25) Tewali kubuusabuusa nti ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ ‘bigambo birungi.’ (Matayo 24:14) Obwakabaka obwo, gavumenti ya Katonda, ejja okukola ekintu abantu kye batasobola kukola. Ejja kumalawo ebintu byonna ebireetera abantu okweraliikirira, gamba ng’obulwadde n’okufa! “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso [gaffe] era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”Okubikkulirwa 21:4.

“Katonda awa essuubi abajjuze essanyu era abawe emirembe olw’okumwesiga.”Abaruumi 15:13.

^ lup. 10 Oluusi abantu abeeraliikirira ennyo baba beetaaga okulaba omusawo. Magazini eno tesalirawo muntu yenna bujjanjabi bw’alina kukozesa.