Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Zuukuka  |  Na. 1 2018

 EKKUBO ERIREETA ESSANYU

Essuubi

Essuubi

“Ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.”​Yeremiya 29:11.

 “ESSUUBI . . . KINTU KIKULU NNYO BWE KITUUKA KU NKOLAGANA YAFFE NE KATONDA.” Bwe kityo ekitabo ekiyitibwa Hope in the Age of Anxiety bwe kigamba. Era kigamba nti: “Lye ddagala erisingayo obulungi eri omuntu awulira nga talina buyambi, ng’ayabuliddwa, oba awulira ng’atidde.”

Bayibuli ekiraga nti kikulu nnyo okuba n’essuubi. Kyokka era etugamba okwewala okussa essuubi lyaffe awakyamu. Zabbuli 146:3 wagamba nti: “Temwesiganga bafuzi, oba omuntu omulala yenna atasobola kulokola.” Mu kifo ky’okwesiga abantu, kiba kya magezi okwesiga Omutonzi waffe, oyo alina obusobozi okutuukiriza ebyo byonna by’aba asuubizza. Biki Katonda by’atusuubizza? Ka tulabeyo ebimu ku byo wammanga.

EBINTU EBIBI BIJJA KUGGWAAWO; ABATUUKIRIVU BAJJA KUBA MU MIREMBE EGY’OLUBEERERA: Zabbuli 37:10, 11 wagamba nti: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.” Olunyiriri olwa 29 lugamba nti: ‘Abatuukirivu balibeera ku nsi emirembe gyonna.’

ENTALO ZIJJA KUGGWAAWO: “Yakuwa . . . amalawo entalo mu nsi yonna. Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu; ayokya amagaali ag’olutalo.”​—Zabbuli 46:8, 9.

OBULWADDE, OKUBONAABONA, N’OKUFA BIJJA KUGGWAAWO: “Weema ya Katonda eri wamu n’abantu . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

BULI OMU ALIBA N’EMMERE EMUMALA: “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”​—Zabbuli 72:16.

ENSI YONNA EJJA KUFUGIBWA GAVUMENTI EMU, OBWAKABAKA BWA KRISTO: “[Yesu Kristo] n’aweebwa obufuzi, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga. Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.”​—Danyeri 7:14.

Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ebintu ebyo bijja kutuukirira? Yesu bwe yali ku nsi yakiraga nti ajja kutuukiriza ebintu ebyo bw’anaaba afuga nga Kabaka. Yawonya abalwadde, yaliisa abayala, era yazuukiza abafu. N’ekisinga obukulu, bye bintu bye yayigiriza. Mu byo mwalimu amagezi agajja okusobozesa abantu okubeera awamu emirembe gyonna nga bali mu mirembe era nga bali bumu. Yesu era yayogera ku bintu ebyandiraze nti enkomerero y’ensi eno eneetera okutuuka.

NG’EMIREMBE TEGINNAJJA, WANDIBADDEWO EBISEERA EBIZIBU

Yesu yakiraga nti ennaku ez’enkomerero tezandibadde za mirembe, wabula zandibaddemu obutabanguko. Bwe yali amenya ebintu ebiri mu kabonero akandiraze “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu” Yesu yayogera ku ntalo, enjala, endwadde, ne musisi ow’amaanyi. (Matayo 24:3, 7; Lukka 21:10, 11; Okubikkulirwa 6:3-8) Yesu era yagamba nti: “Olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”​—Matayo 24:12.

Waliwo ebintu bingi ebiraga nti okwagala kw’abantu kuwoze era omuwandiisi wa Bayibuli omulala yabyogerako. Mu 2 Timoseewo 3:1-5 tusoma nti, “mu nnaku ez’enkomerero” abantu bandibadde beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, era nga baagala nnyo eby’amasanyu. Bandibadde ba malala era nga bakambwe. Okwagala wakati w’abeŋŋanda kwandibadde kuwola, era abaana bandibadde tebagondera bazadde baabwe. Ate era wandibaddewo obunnanfuusi bungi mu madiini.

Ebintu ebyo ebiriwo bikakasa nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Era biraga nti Obwakabaka bwa Katonda obugenda okuleeta emirembe bunaatera okutuuka. Mu butuufu Yesu bwe yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14.

Amawulire ago amalungi galimu okulabula eri abakozi b’ebibi era gawa abantu abatuukirivu essuubi. Gakakasa abantu abatuukirivu nti ebintu Yakuwa bye yasuubiza binaatera okutuuka. Wandyagadde okumanya ebisingawo ku bintu ebyo? Bwe kiba kityo, laba olupapula olw’emabega olwa magazini eno.