Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Zuukuka  |  Na. 1 2017

Omukazi ow’amagezi awuliriza omuntu we ow’omunda

 BAYIBULI KY’EGAMBA

Okuggyamu Olubuto

Okuggyamu Olubuto

Buli mwaka, abaana bukadde na bukadde battibwa nga tebannazaalibwa, era omuwendo gwabwe gusinga emiwendo gy’abantu mu nsi nnyingi.

Buli muntu wa ddembe okwesalirawo ku nsonga eno?

ABANTU KYE BAGAMBA

Waliwo ensonga nnyingi ezireetera abakazi okuggyamu embuto, nga muno mwe muli obuzibu bw’eby’enfuna, enkolagana gye babadde ne basajja baabwe okuggwaawo, okwagala okweyongerayo mu misomo gyabwe, okwagala okusigaza omulimu gwabwe, oba obutaagala kukuza baana nga tebali na bakitaabwe. Kyokka ate abalala bakitwala nti kibi okuggyamu embuto.

BAYIBULI KY’EGAMBA

Obulamu, naddala obw’omuntu, Katonda abutwala nga bwa muwendo nnyo. (Olubereberye 9:6; Zabbuli 36:9) N’obulamu bw’omwana akyali mu lubuto Katonda abutwala nga bwa muwendo nnyo. Katonda yakola olubuto lw’omukazi ng’omwana asobola okukuliramu obulungi. Bayibuli egamba nti: “Wambikkako nga ndi mu lubuto lwa mmange. Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo, byonna ebikwata ku nnaku lwe byatondebwa.”Zabbuli 139:13, 16.

Endowooza Katonda gy’alina ku bulamu bw’omwana atannazaalibwa yeeyolekera bulungi mu Mateeka ge yawa Abayisirayiri ne ku muntu waffe ow’omunda. Amateeka ga Katonda gaali gagamba nti singa omuntu yatuusanga akabi ku mukazi ali olubuto, omwana ali mu lubuto n’afa, omuntu oyo yalinanga okuttibwa, bw’atyo n’asasulira obulamu bw’omwana gwe yabanga asse. (Okuva 21:22, 23) Kya lwatu nti abalamuzi baalowoozanga ku ebyo ebyali bizingirwamu nga tebannasalira muntu oyo gwa kufa.Okubala 35:22-24, 31.

Katonda yatonda abantu nga balina omuntu ow’omunda. Omukazi bw’awuliriza omuntu we ow’omunda, kwe kugamba, eddoboozi erimuli munda, assa ekitiibwa mu bulamu bw’omwana we atannazaalibwa era omuntu we ow’omunda amwejjeereza. * Singa takolera ku bulagirizi bw’omuntu we ow’omunda, n’atta omwana we oyo, omuntu we ow’omunda amulumiriza era amusingisa omusango. (Abaruumi 2:14, 15) Okunoonyereza kulaga nti, abakazi abaggyamu embuto batera okweraliikirira n’okwennyamira.

Ate watya singa omuntu afuna olubuto lw’ateeyagalidde? Ng’eyogera ku kisuubizo kya Katonda eri abo abanywerera ku mateeka ge, Bayibuli egamba nti: “Eri omwesigwa oba mwesigwa; eri oyo ataliiko kya kunenyezebwa naawe olaga nti toliiko kya kunenyezebwa.” (Zabbuli 18:25) Era egamba nti: “Kubanga Yakuwa ayagala obwenkanya,era talyabulira abo abeesigwa gy’ali.”Zabbuli 37:28.

‘Omuntu waabwe ow’omunda awa nabo obujulirwa, nga mu birowoozo byabwe bavunaanibwa omusango oba bejjeerezebwa.’Abaruumi 2:15.

 Watya singa waggyamuko ku lubuto?

ABANTU KYE BAGAMBA

Ruth, omuzadde ali obwannamunigina yagamba nti: “Nnalina abaana basatu era nga ndaba bwe ngattako ow’okuna nnali sijja kusobola kubalabirira. N’olwekyo, bwe nnafuna olubuto olw’omwana ow’okuna, nnaluggyamu. Kyokka ekyo kyannumiriza nnyo.” * Naye ddala Katonda yali asobola okusonyiwa Ruth?

BAYIBULI KY’EGAMBA

Yesu yayoleka endowooza Katonda gy’alina ku nsonga eyo bwe yagamba nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi, basobole okwenenya.” (Lukka 5:32) N’olwekyo, singa tunakuwalira ekibi kye twakola, ne twenenya mu bwesimbu, era ne tusaba Katonda atusonyiwe, Katonda atusonyiwa ne bwe kiba nti ekibi kye twakola kyali kya maanyi. (Isaaya 1:18) Zabbuli 51:17 wagamba nti: “Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.”

Omuntu bwe yeenenya mu bwesimbu era n’asaba Katonda amusonyiwe, Katonda amuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era n’amuwa emirembe mu mutima. Abafiripi 4:6, 7 wagamba nti: “Naye mu buli nsonga yonna mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.” * Oluvannyuma lw’okusoma Bayibuli n’okusaba Katonda amusonyiwe, Ruth yafuna emirembe mu mutima. Ruth yakiraba nti Katonda ‘asonyiyira ddala.’Zabbuli 130:4.

[Katonda] tatubonerezza nga bwe tugwanidde okubonerezebwa olw’ebibi byaffe, era tatusasudde ekyo kye tugwanira olw’ensobi zaffe.”Zabbuli 103:10.

^ lup. 8 Okuba nti obulamu bw’omukazi ali olubuto oba obw’omwana ali mu lubuto buli mu kabi tekiwa muntu bbeetu kuggyamu lubuto. Abasawo bwe bakikakasa nti mu kiseera eky’okuzaala, maama oba omwana ajja kufa, omukazi oyo n’omwami we be balina okusalawo bulamu bw’ani obw’okutaasa. Kyokka olw’okuba wabaddewo enkulaakulana mu by’obujjanjabi, embeera ng’eyo tetera kubaawo.

^ lup. 12 Erinnya likyusiddwa.

^ lup. 14 Essuubi ery’okuzuukira nalyo lisobola okuyamba omuntu eyaggyamuko ku lubuto okufuna emirembe. Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2009, olabe ebyawandiikibwa ebiraga nti waliwo essuubi nti n’abaana abaafa nga tebannazaalibwa bayinza okuzuukizibwa.