Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

 KYAJJAWO KYOKKA?

Ekikakampa ky’Ekiwuka Ekiyitibwa Silver Ant eky’Omu Ddungu Sahara

Ekikakampa ky’Ekiwuka Ekiyitibwa Silver Ant eky’Omu Ddungu Sahara

EKIWUKA ekiyitibwa silver ant ekibeera mu ddungu Sahara kye kimu ku biramu ebisinga okugumira ebbugumu eringi. Omusana ogw’omu ttuntu bwe guba gwememula mu ddungu Sahara, ebiramu ebirya ekiwuka ekyo ne bigenda okwewogoma omusana, ekiwuka ekyo kivaayo ne kitandika okunoonya eby’okulya mu bwangu. Mu by’okulya ebyo mwe muba n’ebiwuka ebiba bifudde olw’ebbugumu eringi.

[50] μm

Weetegereze: Ekiwuka ekyo kiriko ekikakampa ekikiyamba obutookebwa nnyo musana. Ekikakampa ekyo kiriko obwoya kungulu. Obwoya obwo buleetera ekiwuka ekyo okumasamasa. Obwoya obwo bwakula nga butyubu obw’ensonda essatu. Enjuyi ebbiri ez’obwoya obwo ezitunudde waggulu ziriko obuyengo ate oludda lwabwo olwa wansi teruliiko buyengo. Enkula y’obwoya obwo erina emiganyulo ebiri. Ogusooka, esobozesa obwoya obwo okutangira ebbugumu eriva ku njuba okutuuka ku mubiri gw’ekiwuka. Ogw’okubiri, esobozesa ebbugumu eriba liyingidde mu mubiri gw’ekiwuka ekyo okufuluma. Ate olubuto lw’ekiwuka ekyo lutangira ebbugumu eriva wansi okuyingira mu mubiri gw’ekiwuka. *

[10] μm

Ekikakampa kya silver ant kiyamba ebbugumu ly’omubiri gw’ekiwuka ekyo obutasukka diguli 53.6°C, kubanga singa ebbugumu ly’omubiri gwakyo lisukako awo ekiwuka ekyo kifa. Ekiwuka ekyo kyewunyisa nnyo bannassaayansi ne kiba nti banoonyereza ku ngeri gye bayinza okukola ebintu ebisobola okukuumira ebbugumu wansi ne bwe kiba nti tewali biwujjo (fan).

Olowooza otya? Ekikakampa kya silver ant kyajjawo kyokka oba kyatondebwa butondebwa?

^ lup. 4 Ebintu ebirala ebiyamba ekiwuka ekyo ze protein eziri mu mubiri gwakyo ezisobola okugumira ebbugumu eringi, n’amagulu amawanvu agakisobozesa okudduka ku sipiidi n’obutakoona wansi ku musenyu oguba gwokya ennyo. Ate era kirina mmaapu mu bwongo ne kiba nti ne bwe kiba wala okuva we kisula kisobola okukozesa ekkubo erisinga okuba ery’okumpi okuddayo.