Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 1 2017 | Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Bayibuli

OLOWOOZA OTYA?

Bayibuli ya mugaso mu kiseera kino? Bayibuli egamba nti: “Ebyawandiikibwa byonna byaluŋŋamizibwa Katonda era bigasa.”2 Timoseewo 3:16, 17.

Akatabo kano kalaga amagezi amalungi agali mu Bayibuli era n’engeri gy’oyinza okuganyulwa mu kugisoma.

 

OMUTWE OGULI KUNGULU

Lwaki Wandisomye Bayibuli?

Abantu bukadde na bukadde baganyulwa batya mu kusoma Bayibuli?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Weeteeketeeke Bulungi

Ebintu bitaano ebinaakuyamba okwanguyirwa okusoma Bayibuli n’okunyumirwa okugisoma.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?

Enkyusa za bayibuli ez’enjawulo, tekinologiya, ebintu ebisobola okukuyamba okutegeera by’osoma, n’okukyusakyusa mu ngeri gy’osoma, byonna bisobola okukuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Onooganyulwa Otya mu Kusoma Bayibuli?

Ekitabo kino eky’edda kirimu amagezi amalungi.

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Nnali Ntya Nnyo Okufa

Yvonne Quarrie lumu yeebuuza nti, “Obulamu bulina kigendererwa ki?” Bye yayiga mu Bayibuli byakyusa obulamu bwe.

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

‘Yasanyusa Katonda’

Bw’oba ng’ofuba okulabirira ab’omu maka go oba nga wali weesanzeeko mu mbeera enzibu era si kyangu okunywerera ku kituufu, olina bingi by’osobola okuyigiriza ku Enoka.

Ekyawandiikibwa Okitegeera mu Ngeri Entuufu?

Obubaka obuli mu Bayibuli bukulu nnyo? Biki ebinaakuyamba okugitegeera obulungi?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Bayibuli tekoma ku kutubuulira ensibuko y’okubonaabona, naye era etubuulira engeri gye gujja okuggwaawo.