Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Ddesemba 2015

Obunnanfuusi Bulikoma?

Obunnanfuusi Bulikoma?

PANAYIOTA yakulira ku kimu ku bizinga by’ennyanja Meditereniyani. Bwe yali akyali muvubuka, yatandika okwenyigira mu by’obufuzi. Yaweerezaako ng’omuwandiisi w’ekibiina ky’obufuzi ekyali ku kyalo kwe yabeeranga. Yatambulanga nnyumba ku nnyumba asobole okufuna ssente z’ekibiina ekyo. Kyokka oluvannyuma, Panayiota yawulira nga simusanyufu. Wadde abo abaali mu kibiina ekyo baali beeyita ba mukago, buli omu yali yeefaako yekka, baalina obuggya, era nga basosola mu mawanga.

Daniel yakulira mu Ireland mu maka agaali gettanira ennyo eby’eddiini. Kyokka agamba nti abakulembeze b’eddiini ye baali bannanfuusi nnyo; baanywanga nnyo omwenge, baakubanga zzaala, babbanga ssente ezaasoloozebwanga mu kkanisa, kyokka nga bamugamba nti bw’anaakola ekibi ajja kwokebwa mu muliro ogutazikira.

Jeffery yamala emyaka mingi ng’akola nga kitunzi wa kampuni z’omu Bungereza ne Amerika ezitambuza ebyamaguzi mu nsi yonna. Agamba nti emirundi egimu bakasitoma n’amakampuni amalala agakola omulimu gwe gumu baalimbanga era baawanga abakungu ba gavumenti enguzi basole okufuna kontulakiti.

Leero, obunnanfuusi bweyolekera mu bintu bingi abantu bye bakola; mu by’obufuzi, mu madiini, ne mu by’obusuubuzi. Omuntu omunnanfuusi y’oyo eyeefuula ky’atali asobole okulimba abalala; aba nga munnakatemba ayambadde akakookolo.

Obunnanfuusi buviiriddeko abantu bangi okuyisibwa obubi era beebuuza obanga bulikoma. Eky’essanyu, Bayibuli etukakasa nti obunnanfuusi bujja kukoma.

KATONDA NE YESU BATWALA BATYA OBUNNANFUUSI

Bayibuli eraga nti obunnanfuusi tebwatandikira mu bantu wabula bwasibuka ku Sitaani. Ng’ayitira mu musota, Sitaani yalimbalimba Kaawa, omukazi eyasooka, nti singa ajeemera Katonda yandibadde n’obulamu obulungi. (Olubereberye 3:1-5) Okuva olwo, abantu bangi baafuuka bannanfuusi era balimbalimba abalala basobole okwefunira bye baagala.

Abayisirayiri ab’omu biseera eby’edda bwe baafuukanga bannanfuusi ne beenyigiranga mu kusinza okw’obulimba, Katonda yabalabulanga ku kabi akandivuddemu. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa Katonda yagamba nti: “Abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa  kaabwe era kya ku mimwa gyabwe naye omutima gwabwe baguntadde wala.” (Isaaya 29:13) Abayisirayiri bwe baagaana okukyusa enneeyisa yaabwe, Katonda yaleka abalabe baabwe okuzikiriza ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu mwe baasinzizanga. Abababulooni be baasooka okukizikiriza mu mwaka gwa 607 E.E.T., n’oluvannyuma Abaruumi baakizikiriza mu mwaka gwa 70 E.E. Ekyo kiraga nti Katonda tayagalira ddala bunnanfuusi.

Ku luuyi olulala, Katonda n’omwana we Yesu, baagala nnyo abantu abeesimbu era ab’amazima. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali yaakatandika obuweereza bwe ku nsi, yagamba omusajja ayitibwa Nassanayiri nti: “Laba Omuyisirayiri yennyini, ataliimu bukuusa.” (Yokaana 1:47) Nassanayiri era eyali ayitibwa Battolomaayo, yafuuka omu ku batume ba Yesu 12.Lukka 6:13-16.

Yesu yamala ekiseera kiwanvu n’abagoberezi be era yabayigiriza obutaba bannanfuusi kubanga Katonda tayagala bunnanfuusi. Yesu yavumiriranga ebikolwa eby’obunnanfuusi abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera ekyo bye baakolanga. Ka tulabe ebimu ku bintu ebyoleka obunnanfuusi bannaddiini abo bye baakolanga.

Beeraganga nti ‘batuukirivu’ nnyo. Yesu yayigiriza abantu nti: “Mwegendereze obutayoleka butuukirivu bwammwe mu maaso g’abantu olw’okwagala okubalaba . . . nga bannanfuusi bwe bakola.” Ate era yabagamba nti tebaalinanga kweraga nga bakoledde abalala ebirungi. Bandisabyenga mu kyama so si mu lujjudde basobole okulabibwa. Bwe bandikozenga bwe batyo, okusinza kwabwe kwandibadde kusiimibwa Katonda.Matayo 6:1-6.

Baali banoonya nnyo ensobi mu balala. Yesu yagamba nti: “Munnanfuusi ggwe! Sooka oggye ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi bw’onoggya akasubi ku liiso lya muganda wo.” (Matayo 7:5) Omuntu bw’anonooza ensobi z’abalala ng’ate naye akola ensobi, aba munnanfuusi kubanga aba yeefuula ky’atali. Bayibuli egamba nti: “Abantu bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda”Abaruumi 3:23.

Baalina ebiruubirirwa ebikyamu. Lumu abayigirizwa b’Abafalisaayo n’abagobeerezi ba Kerode babuuza Yesu ekibuuzo ekikwata ku kusasula omusolo. Nga beefuula abantu abalungi, baagamba Yesu nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima.” Oluvannyuma ne bamubuuza nti: “Kikkirizibwa mu mateeka okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” Yesu yabaddamu nti: “Lwaki munkema mmwe bannanfuusi?” Yesu yali mutuufu okubayita bannanfuusi kubanga baali tebaagala kumanya kituufu, wabula ‘okumukwasa mu bigambo bye.’Matayo 22:15-22.

Abakristaayo ab’amazima balaga abalala “okwagala . . . okutaliimu bukuusa.”1 TIMOSEEWO 1:5

Ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., kyasobozesa amazima n’obwesigwa okweyongera. Abakristaayo ab’amazima baakola kyonna ekisoboka okwewala obunnanfuusi. Ng’ekyokulabirako, Peetero, omu ku batume 12, yakubiriza Abakristaayo ‘okugondera amazima era ekyo kyandibaviiriddeko okuba n’okwagala okutaliimu bukuusa.’ (1 Peetero 1:22) Omutume Pawulo naye yakubiriza Bakristaayo banne okuba “n’okwagala . . . okutaliimu bukuusa.”1 Timoseewo 1:5.

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA MAANYI

Ebyo Yesu n’abatume bye baayigiriza ebiri mu Bayibuli, bikyali bya mugaso ne mu kiseera kino. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi, era kyogi okusinga ekitala ekiriko obwogi ku njuyi zaakyo zombi, era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Abebbulaniya 4:12) Okumanya ebyo Bayibuli by’eyigiriza n’okufuba okubikolerako kiyambye bangi okwewala obunnanfuusi ne bafuuka abeesigwa era ab’amazima. Lowooza ku bantu  abasatu aboogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino.

“Nnalaba abantu abafaayo ku bannaabwe era abaagalana.” —PANAYIOTA

Panayiota bwe yagenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, bye yalaba byamuyamba okukyusa obulamu bwe. Teyasangayo bantu bakola bintu olw’okwagala okulabibwa abalala. Agamba nti: “Nnalaba abantu abafaayo ku bannaabwe era abaagalana. Ekyo nnali sikirabangako mu myaka gyonna gye nnamala nga ndi mu by’obufuzi.”

Panayiota yatandika okuyiga Bayibuli n’abatizibwa, era kati wayiseewo emyaka 30. Ate era agamba nti: “Nnamanya ekigendererwa ky’obulamu, nnatandika okubuulira nnyumba ku nnyumba nga njogera ku Bwakabaka bwa Katonda obugenda okuleetawo obwenkanya mu nsi, mu kifo ky’okutambula nnyumba ku nnyumba nga njogera ku by’obufuzi.”

“Nnali saagala kwefuula kye siri nga bannanfuusi bwe bakola.”—DANIEL

Daniel naye yeeyongera okuyiga Bayibuli era oluvannyuma n’aweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe waayitawo emyaka mitono, yakola ekibi era omutima gwe ne gutandika okumulumiriza. Agamba nti: “Bwe nnajjukiranga ebikolwa eby’obunnanfuusi bye nnalaba mu makanisa, nnasalawo okuleka obuvunaanyizibwa bwe nnalina. Nnali saagala kwefuula kye siri nga bannanfuusi bwe bakola.”

Oluvannyuma lw’ekiseera, Daniel ng’amaze okukola enkyukakyuka ezeetaagisa, yaddamu okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina era n’aweereza ng’omutima gwe tegumulumiriza. Abo abaweereza Katonda mu mazima be booleka obwesimbu ng’obwo. ‘Baggya ekisiki’ mu liiso lyabwe nga ‘tebannaggya kasubi’ mu liiso lya baganda baabwe.

‘Waliwo ebintu ebimu bye nnali sikyasobola kukola gamba ng’okulimba nsobole okufuna kontulakiti. Endowooza yange yali ekyuse.’—JEFFERY

Jeffery, eyamala emyaka mingi ng’akola nga kitunzi, yagamba nti: “Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, nnakiraba nti waliwo ebintu ebimu bye nnali sikyasobola kukola gamba ng’okulimba nsobole okufuna kontulakiti. Ebyawandiikibwa gamba nga Engero 11:1, ekigamba nti ‘minzaani ey’obulimba ya muzizo eri Mukama,’ byakyusa endowooza yange.” Mu butuufu, obutafaananako abo abaabuuza Yesu ekibuuzo ekikwata ku kusasula omusolo, Jeffery yayiga obutaba munnanfuusi ng’akolagana n’abantu bonna.

Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bafuba okukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Bakola kyonna ekisoboka “okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Abeefeso 4:24) Tukukubiriza okwongera okumanya ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa, enzikiriza zaabwe, n’engeri gye bayinza okukuyamba okumanya ebikwata ku nsi empya Katonda gye yasuubiza. Mu nsi eyo “obutuukirivu mwe bulibeera” era temuliba bunnanfuusi bwonna.2 Peetero 3:13.