Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Jjuuni 2015

Omulabe wa Kristo y’Ani?

Omulabe wa Kristo y’Ani?

Firimu emu etiisa yalina omutwe ogugamba nti Omulabe wa Kristo.

Waliwo abayimbi abaafulumya akatambi k’ennyimba ne bakatuuma Omulabe wa Kristo.

Omufirosoofo ayitibwa Friedrich Nietzsche, ow’omu kyasa 19, yawandiika ekitabo ekirina omutwe, Omulabe wa Kristo.

Bakabaka n’abafuzi abalala ab’edda baateranga okuyita abo abaabaziyizanga abalabe ba Kristo.

Martin Luther, ow’omu Bugirimaani, yayitanga bappaapa Abakatuliki abalabe ba Kristo.

OKUVA bwe kiri nti ebigambo “omulabe wa Kristo” bimaze ebbanga ddene nga bikozesebwa ku bafuzi ne mu firimu, ekyo kireetawo ekibuuzo: Omulabe wa Kristo y’ani? Ddala kikulu okumumanya? Olw’okuba ebigambo “omulabe wa Kristo” bisangibwa mu Bayibuli emirundi etaano, kiba kya magezi okunoonya amakulu gaabyo mu Bayibuli.

OMULABE WA KRISTO AMANYIBWA

Omutume Yokaana ye muwandiisi wa Bayibuli yekka eyakozesa ebigambo “omulabe wa Kristo.” Biki bye yawandiika ku mulabe wa Kristo? Weetegereze ebigambo bino ebiri mu bbaluwa ye esooka: “Abaana abato, eno ye ssaawa esembayo, era nga bwe mwawulira nti omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; era nga ku kino kwe tutegeerera nti eno ye ssaawa esembayo. Baava mu ffe naye tebaali bamu ku ffe . . . Ani mulimba wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo eyeegaana Kitaffe n’Omwana.”1 Yokaana 2:18, 19, 22.

Omutume Yokaana yalaga nti omulabe wa Kristo beebo bonna abasaasaanya mu bugenderevu eby’obulimba ku Yesu Kristo ne ku njigiriza ze

Ebigambo ebyo bituyigiriza ki? Yokaana yagamba nti “abalabe ba Kristo bangi.” Ekyo kiraga nti omulabe wa Kristo, si muntu omu, naye bantu bangi. Ebibiina by’abantu oba abantu kinnoomu abayitibwa omulabe wa Kristo, basaasaanya obulimba nti Yesu si ye Kristo oba Masiya era bagamba nti Katonda ne Yesu benkana. Abo abayitibwa abalabe ba Kristo beeyita Kristo oba ababaka ba Kristo, naye olw’okuba “baava mu ffe,” baava ku njigiriza za Bayibuli entuufu. Ekibinja ky’abantu bano kyaliwo mu kiseera omutume Yokaana we yawandiikira ebbaluwa ye mu “ssaawa esembayo,” oboolyawo nga kye kiseera ng’abatume banaatera okuggwaawo.

Kiki ekirala Yokaana kye yawandiika ekikwata ku mulabe wa Kristo? Ng’ayogera ku bannabbi ab’obulimba, Yokaana yalabula nti: “Buli kigambo ekiruŋŋamiziddwa ekyatula nti Yesu Kristo yajja mu mubiri kiva eri Katonda, naye buli kigambo ekiruŋŋamiziddwa ekitayatula Yesu tekiva eri Katonda. Era kino kye kigambo ekyaluŋŋamizibwa eky’omulabe wa Kristo kye mwawulira nti kijja, era kati weekiri mu nsi.” (1 Yokaana 4:2, 3) Oluvannyuma mu bbaluwa ye ey’okubiri, Yokaana yaggumiza ensonga eno ng’agamba nti: “Abalimba bangi balabise mu nsi, abantu abatayatula nti Yesu Kristo yajja mu mubiri. Oyo akola bw’atyo ye mulimba era ye mulabe wa Kristo.” (2 Yokaana 7) Yokaana yali akimanyi nti omulabe wa Kristo beebo bonna abasaasaanya mu bugenderevu eby’obulimba ku Yesu Kristo ne ku njigiriza ze.

“BANNABBI AB’OBULIMBA” NE “OMUJEEMU”

Yesu yalabula nti bannabbi ab’obulimba bandijjidde “mu byambalo by’endiga, naye nga munda gye misege egikavvula”

Emyaka mingi emabega nga Yokaana tannawandiika ku abo abayigiriza eby’obulimba, Yesu Kristo yakubiriza bw’ati abagoberezi be: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba abajjira mu byambalo by’endiga, naye nga munda gye misege egikavvula.” (Matayo 7:15) Omutume Pawulo naye yalabula  Abakristaayo ab’omu Ssessalonika nti: “Tewabanga omuntu n’omu abasendasenda mu ngeri yonna, kubanga [olunaku lwa Yakuwa] telulijja okutuusa ng’obwewagguzi bumaze okubaawo era nga n’omujeemu, omwana ow’okuzikirizibwa amaze okulabika.”—2 Abassessaloniika 2:3.

N’olwekyo mu kyasa ekyasooka, bannabbi ab’obulimba ne bakyewaggula baaliwo era nga bafuba nnyo okunafuya ekibiina Ekikristaayo. Abo bonna abasaasaanya eby’obulimba ebikwata ku Yesu Kristo n’enjigiriza ze, beebo Yokaana be yayita “omulabe wa Kristo.” Pawulo yalaga engeri Yakuwa gy’abatwalamu bwe yabayita “omwana ow’okuzikirizibwa.”

WEEGENDEREZE OMULABE WA KRISTO LEERO

Leero, abantu n’ebibiina by’abantu ebiyitibwa omulabe wa Kristo bakyawakanya Kristo n’enjigiriza ze. Mu bugenderevu, basaasaanya eby’obulimba nga baagala okulemesa abantu okutegeera Kitaffe, Yakuwa Katonda, n’Omwana we, Yesu Kristo. Lowooza ku nsonga zino ebbiri ezandituleetedde okwewala obulimba ng’obwo.

Okumala ebyasa bingi, amadiini gasaasaanyizza enjigiriza ey’Obusatu, nga gagamba nti Kitaffe n’Omwana benkana. Mu ngeri eyo, omulabe wa Kristo abuzaabuza abantu era n’akweka ekyo kyennyini Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo kye bali. Enjigiriza ng’eyo etategeerekeka eremesa abantu ab’emitima emirungi okukoppa Yesu Kristo, n’okufuna enkolagana ennungi ne Katonda nga Bayibuli bw’ebakubiriza okukola.1 Abakkolinso 11:1; Yakobo 4:8.

Ate era amadiini mangi gabuzaabuzizza abantu nga gabakubiriza okukozesa enkyusa za Bayibuli eziggiddwamu erinnya lya Katonda, Yakuwa, so ng’ate erinnya eryo lisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka, emirundi nga 7,000. Kiki ekivuddemu? Ekyo kireetedde abantu okulowooza nti Katonda ow’amazima tategeerekeka.

Ku luuyi olulala, okumanya erinnya lya Katonda, Yakuwa, kireetedde abantu bangi abaagala okusinza Katonda mu bwesimbu okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku Richard. Bw’ajjukira ebyo Abajulirwa ba Yakuwa ababiri abaamukyalira bye baayogera, agamba nti: “Bandaga mu Bayibuli nti erinnya lya Katonda ow’amazima ye Yakuwa. Kyanneewuunyisa nnyo okukimanya nti Katonda alina erinnya.” Agattako nti: “Okumanya erinnya lya Katonda kinnyambye okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye.” Okuva Richard lwe yategeera nti Katonda alina erinnya, yakola enkyukakyuka mu bulamu bwe asobole okutuukanya enneeyisa ye n’emitindo egiri mu Bayibuli n’okusanyusa Yakuwa.

Okumala ebyasa bingi, omulabe wa Kristo aleetedde abantu bangi okubeera mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Naye bwe twekenneenya ekigambo kya Katonda, Bayibuli, tusobola okutegeera omulabe wa Kristo era ne twewala obulimba bw’asaasaanya.Yokaana 17:17.