Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Ddesemba 2014

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA

Omanyi Erinnya lya Katonda era Olikozesa?

Omanyi Erinnya lya Katonda era Olikozesa?

Olinayo mukwano gwo nfiirabulago naye nga tomanyi linnya lye? Ekyo tekisoboka. Omukyala omu ayitibwa Irina abeera mu Bulgaria yagamba nti: “Tosobola kubeera mukwano gwa Katonda bw’oba tomanyi linnya lye.” Eky’essanyu, nga bwe tulabye mu kitundu ekisoose, Katonda ayagala obeere mukwano gwe. Okuyitira mu Bayibuli Katonda akubuulira erinnya lye. Agamba nti: “Erinnya lyange [nze] Yakuwa.”Yeremiya 16:21.

Okuyitira mu Bayibuli Katonda akubuulira erinnya lye. Agamba nti: “Erinnya lyange [nze] Yakuwa.”Yeremiya 16:21

Olowooza Yakuwa ayagala abantu bamanye erinnya lye era balikozese? Lowooza ku kino: Erinnya lya Katonda, eryawandiikibwanga mu nnukuta ensirifu ennya ez’Olwebbulaniya ezimanyiddwa nga Tetragrammaton, lisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Olwebbulaniya ebyasooka, emirundi nga 7,000. Lye linnya eryasinga okuwandiikibwa emirundi emingi mu Bayibuli. Obwo bukakafu obulaga nti Yakuwa ayagala tumanye erinnya lye era tulikozese. *

Abantu okufuuka ab’omukwano buli omu asooka kumanya linnya lya munne. Omanyi erinnya lya Katonda?

Kyokka ate abamu bayinza okulowooza nti olw’okuba Katonda mutukuvu era nga ye muyinza w’ebintu byonna, bwe tukozesa erinnya lye tuba tetumussizzaamu kitiibwa. Kyo kituufu nti tetusaanidde kukozesa linnya lya Katonda mu ngeri eteriweesa kitiibwa, ng’omuntu bw’atakozesa linnya lya mukwano gwe mu ngeri eteriweesa kitiibwa. Wadde kiri kityo, Yakuwa ayagala mikwano gye basse ekitiibwa mu linnya lye era balibuulireko abalala. (Zabbuli 69:30, 31; 96:2, 8) Kijjukire nti Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” Naffe tusobola okutukuza erinnya lya Katonda nga tulibuulirako abalala. Ekyo kituleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.Matayo 6:9.

Bayibuli eraga nti Katonda afaayo nnyo ku abo ‘abalowooza [ku] linnya lye.’ (Malaki 3:16) Omuntu akola bw’atyo, Yakuwa amusuubiza nti: “Kyendiva mmuwonya: ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange. Alinkaabira, nange ndimuyita; nnaabeeranga wamu naye bw’anaanakuwalanga.” (Zabbuli 91:14, 15) Bwe tuba twagala okuba mikwano gya Katonda, kikulu okumanya erinnya lye n’okulikozesa.

^ lup. 4 Eky’ennaku, enkyusa za Bayibuli nnyingi teziriimu linnya lya Katonda wadde ng’erinnya eryo lirabika emirundi mingi nnyo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, abamu bye bayita Endagaano Enkadde. Mu bifo awandibadde erinnya eryo abo abaazivvuunula baateekawo ebitiibwa, gamba nga “Mukama” oba “Katonda.” Okumanya ebisingawo, laba olupapula 195-197 ez’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.