Yesu bwe yali ku nsi, yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi.” (Matayo 6:10) Leero abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi yonna basaba essaala eyo era bakkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okumalawo ebizibu byabwe.

Kyokka, wadde ng’abantu bangi baagala nnyo Obwakabaka bwa Katonda, amadiini agasinga obungi tegayigiriza bikwata ku Bwakabaka obwo. Munnabyafaayo ayitibwa H. G. Wells yawandiika nti Yesu “yassa nnyo essira ku njigiriza gye yayitanga Obwakabaka obw’Omu Ggulu” era yagattako nti enjigiriza eno “tetwalibwa ng’enkulu . . . mu madiini g’Ekikristaayo agasinga obungi.”

Obutafaananako amadiini ago, Abajulirwa ba Yakuwa bassa nnyo essira ku Bwakabaka bwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, akatabo kano k’osoma ke tusinga okukozesa, era kati kali mu nnimi 220. Buli mwezi tufulumya kopi z’akatabo kano ezikunukkiriza mu bukadde 46, era nga ke kakyasinze okubunyisibwa mu nsi yonna. Bubaka ki obukulu obuba mu katabo kano? Weetegereze omutwe oguli kungulu: Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa.  *

Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tussa nnyo essira ku kulangirira Obwakabaka bwa Katonda? Kubanga tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda gwe mulamwa gwa Bayibuli, ekitabo ekisinga okuba eky’omugaso mu nsi yonna. Okugatta ku ekyo, tukkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu by’abantu.

Abajulirwa ba Yakuwa bassa essira ku Bwakabaka bwa Katonda olw’okuba ne Yesu bw’atyo bwe yakolanga. Yesu bwe yali ku nsi, Obwakabaka bwa Katonda bwe yali akulembeza mu bulamu bwe, era bwe yasinganga okwogerako ng’ayigiriza. (Lukka 4:43) Lwaki Yesu yali abutwala nga bukulu nnyo? Obwakabaka bwa Katonda bunaakuganyula butya? Soma ebitundu ebiddako olabe engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebyo.

^ par. 5 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.