Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Ssebutemba 2014

 EBYAFAAYO

Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Katonda

Nfunye Emikisa Mingi mu Kuweereza Katonda

Okuviira ddala mu buto, nnawuliranga bubi olw’obusosoze mu langi, nnali ntya okulemererwa nga nnina kye nkola, era nnali wa nsonyi. Nnali nkimanyi nti Bayibuli esobola okunnyamba, era nnagenda ku Kkereziya eyali mu kitundu kyaffe nsobole okuyambibwa okuyiga ebiri mu Bayibuli. Olw’okuba saayambibwa, nnatandika okwemalira ku by’emizannyo.

Nga wayise ekiseera kitono, nnatandika okusitula obuzito nsobole okufuuka kanyama. Oluvannyuma nnatandikawo ekibanda ky’abasituzi b’obuzito mu kibuga San Leandro ekiri mu ssaza lya California mu Amerika, era abantu abawerako bajjanga mu kibanda kyange nga mw’otwalidde n’oyo eyawangula engule ya Mr. America. Wadde nga nnali nfuuse kanyama, muli nnali mpulira nga siri mumativu.

NZUULA KYE NNALI NNOONYA

Lumu omu ku abo abajjanga mu kibanda kyange bwe yakimanya nti nnali njagala nnyo okutegeera ebiri mu Bayibuli, yaŋŋamba nti waliwo omuntu gwe yali amanyi eyali asobola okunnyamba. Enkeera, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yajja ewange. Twamala essaawa nnya nnamba ng’addamu ebibuuzo byange ng’akozesa Bayibuli. Nnamusaba akomewo olweggulo, era twakubaganya ebirowoozo ku Bayibuli okutuusa ssaawa mukaaga ez’ekiro. Bye nnayiga byansanyusa nnyo era nnamusaba ŋŋende naye enkeera, ndabe engeri gy’abuuliramu. Nneewuunya nnyo olw’engeri gye yakozesangamu Bayibuli okuddamu ebibuuzo abantu bye baamubuuzanga, era nange nnasalawo okutandika okubuulira.

Bwe kityo nnaleka omulimu gwange ne ntandika okubuulira ne payoniya oyo (Abajulirwa ba Yakuwa ababuulira ekiseera kyonna bayitibwa bapayoniya). Mu Maayi 1948, nnabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kifo ekiyitibwa Cow Palace Arena ekiri mu San Francisco, mu ssaza ly’e California. Mu mwaka ogwo gwennyini, nange nnafuuka payoniya era twali tubuulira essaawa 100 n’okusingawo buli mwezi.

Mu kiseera ekyo, nnasaba Abajulirwa ba Yakuwa bagende bayambe maama okutegeera ebikwata ku Katonda. Bye baamuyigiriza byamusanyusa nnyo era oluvannyuma lw’ekiseera kitono naye yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Wadde ng’ab’ewaabwe baamuyigganya, yasigala mwesiga eri Katonda okutuusiza ddala lwe yafa. Mu maka gaffe tewali mulala eyafuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

NSISINKANA OYO EYAFUUKA MUKYALA WANGE

Mu 1950, nnasengukira mu kibuga Grand Junction, ekiri mu ssaza ly’e Colorado, era eyo gye nnasisinkanira Billie oluvannyuma eyafuuka mukyala wange. Yazaalibwa mu 1928, era maama we eyali ayitibwa Minnie, yamusomeranga Bayibuli buli kiro ng’akozesa tadooba. Billie we yawereza emyaka ena, yali asobola okusoma era ng’amanyi ebintu bingi ebiri mu Bayibuli. Maama we bwe yali ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa mu myaka gya 1940, yakitegeera nti ggeyeena si kifo abantu gye babonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. (Omubuulizi 9:5, 10) Minnie n’omwami we baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Mu 1949, Billie yakomawo okuva mu ttendekero e Boston n’addamu okuyiga Bayibuli. Mu kifo ky’okunoonya omulimu ogw’obusomesa, yasalawo okukozesa  ebiseera bye okuweereza Katonda. Yabatizibwa mu 1950 ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’ensi yonna olwali mu kisaawe ekiyitibwa Yankee Stadium mu kibuga New York. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twafumbiriganwa, era ne tufuuka ababuulizi ab’ekiseera kyonna.

Twatandikira mu kibuga Eugene, ekiri mu ssaza ly’e Oregon, era twafunayo emikwano mingi. Mu 1953 twagenda okuyambako ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekyali mu kibuga Grants Pass, nga nakyo kiri mu Oregon. Mu mwaka ogwo gwennyini, twayitibwa okutendekebwa mu ssomero ly’Abajulirwa ba Yakuwa eritendeka abaminsani ery’omulundi ogwa 23. Essomero eryo liyitibwa Gireyaadi era mu kiseera ekyo lyali mu South Lansing, ekyesudde ekibuga New York mayiro nga 250.

TUTANDIKA OKUWEEREZA NG’ABAMINSANI MU BRAZIL

Mu Ddesemba 1954, nga wayiseewo emyezi etaano nga tuvudde mu ssomero lya Gireyaadi, nze ne mukyala wange twalinnya ennyonyi tusobole okugenda e Brazil. Nga twakamala essaawa emu mu bbanga, ennyonyi yalemererwa naye twasobola okukka e Bermuda nga tetufunye kizibu kyonna. Era yaddamu okulemererwa ne tukka e Cuba, naye oluvannyuma twatuuka e Brazil ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu kibuga Rio de Janeiro. Olugendo lwonna lwatutwalira essaawa 36.

Ekizimbe ky’Obwakabaka ekyasookera ddala mu Bauru, mu 1955—kyali kifo kipangise nga kiriko ekipande kye nnakola

Awo twamalawo ekiseera kitono, oluvannyuma nze ne mukyala wange awamu n’abaminsani abalala babiri ne tugenda e Bauru mu kibuga São Paulo. Kyalimu abantu abasukka mu 50,000, era ffe Bajulirwa ba Yakuwa abaasooka mu kibuga ekyo.

Twatandika okubuulira abantu nnyumba ku nnyumba, naye amangu ddala omusaserodooti ow’omu kitundu ekyo yatandika okutuziyiza. Yatugobereranga nga bw’agamba abantu obutatuwuliriza. Naye mu wiiki ntono nnyo, waaliwo amaka agaalimu abantu abangi abaasiima bye twali tubayigiriza era oluvannyuma ne babatizibwa. Abantu abalala nabo baatandika okuyiga Bayibuli.

Omu ku b’eŋŋanda z’abo be twayigiriza Bayibuli ne babatizibwa yali akulira akakiiko akaali kaddukanya ekifo ekyali kitegekerwamu emikolo. Nnakola enteekateeka tusobole okuba n’olukuŋŋaana olunene mu kifo ekyo. Omusaserodooti yali ayagala nnyo olukuŋŋaana lwaffe lusazibwemu, naye eyali akulira akakiiko akaali kaddukanya ekifo ekyo yagamba banne nti: “Bwe mulusazaamu, ŋŋenda kulekulira!” Olukuŋŋaana lwaffe terwasazibwamu.

Mu mwaka ogwaddirira, mu 1956, twayitibwa okugenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’ennaku essatu e Santos, mu kibuga São Paulo. Abantu ng’amakumi ana ab’omu kibiina kyaffe twalinnya eggaali y’omukka ne tugenda ku lukuŋŋaana olwo. Bwe twakomawo e Bauru, nnafuna ebbaluwa eyali eraga nti nnali mpeereddwa obuvunaanyizibwa obw’okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnatambula mu bitundu ebisinga obungi ebya Brazil nga nkyalira ebibiina okumala emyaka 25.

Mu mwaka gumu gwokka, twafuna ababuulizi abanyiikivu bangi mu Bauru

TWOLEKAGANA N’OKUSOOMOOZEBWA OKW’AMAANYI

Eby’entambula byali bizibu nnyo mu kiseera ekyo. Twatambula kumpi mu nsi eyo yonna nga tukozesa bbaasi, eggaali y’omukka, ebigaali ebisikibwa embalaasi, akagaali, era oluusi twatambuzanga bigere. Ekimu ku bibuga bye twasooka okukyalamu kyali kiyitibwa Jaú, eky’omu São Paulo. Twasangayo omusaserodooti eyatugamba nti,

“Temujja kubuulira ‘ndiga zange!’”

Twamuddamu nti: “Endiga si zizo, za Katonda.”

Twakola enteekateeka ey’okulaga firimu ekwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, eyalina omutwe ogugamba nti The New World Society in Action, naye omusaserodooti oyo yakunga abantu batulemese. Twategeerezaawo poliisi era omusaserodooti n’abantu be baagenda okutuuka we twali, baasanga  abasirikale ba poliisi abawerako bayimiridde ku mulyango era nga bali bulindaala n’emmundu zaabwe. Abantu abangi abaalaba firimu eyo baanyumirwa nnyo.

Kumpi mu buli kitundu kye twagendangamu, abakulembeze b’amadiini baatuyiganyanga. Ng’ekyokulabirako, mu kibuga Brusque, eky’omu ssaza ly’e Santa Catarina, twasanga bapayoniya babiri abaali bayigganyizibwa ennyo. Naye obugumiikiriza bwabwe bwavaamu ebirungi. Mu myaka 50 egyakayitawo, mu kitundu ekyo kati mulimu ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 60 n’ekizimbe ekinene omubeera enkuŋŋaana ennene ekiri mu kibuga ekiriraanyeewo ekiyitibwa Itajaí.

Ekimu ku byasinga okutunyumira mu buweereza bwaffe kwe kuteekateeka enkuŋŋaana ennene nga tuli wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala. Mu myaka gya 1970, nnafuna enkizo ey’okuba omulabirizi w’olukuŋŋaana olunene olwali mu kisaawe ekinene ekiri mu disitulikiti y’e Morumbi. Twasaba ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa nga kikumi ebyali biriraanyeewo biweereze abantu kkumi kkumi tusobole okuyonja ekisaawe mu kiro ekyali kikeesa olunaku lw’olukuŋŋaana.

Abazannyi b’omupiira bwe baali baakava mu kisaawe ekiro ekyo, waliwo abaatusekerera nga bagamba nti, “Laba obukazi obukutte enjeyo n’ebisiimuula! Bunaasobola okuyonja ekisaawe kino kyonna?” Kyokka essaawa zaagenda okuwera omukaaga ogw’ekiro, ekisaawe kyonna kyali kitemagana! Maneja w’ekisaawe ekyo yagamba nti, “Mmwe Abajulirwa ba Yakuwa kye mukoze mu ssaawa entono ennyo, abakozi baffe kyandibatwalidde wiiki nnamba!”

TUDDAYO MU AMERIKA

Mu 1980 taata yafa, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono twaddayo mu Fremont, eky’omu California tusobole okulabirira maama. Twafuna omulimu gw’okuyonja ebizimbe mu budde obw’ekiro, era tweyongera okubuulira ekiseera kyonna n’okuyamba abantu aboogera Olupotugo abaali mu kitundu ekyo. Oluvannyuma twasengukira okumpi n’ekitundu ekiyitibwa San Joaquin Valley, ekirimu abantu bangi aboogera Olupotugo. Kati mu California mulimu ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebiwerera ddala kkumi ebikozesa Olupotugo.

Maama bwe yafa mu 1995, twasengukira e Florida ne tulabirira ssezaala wange okutuusa lwe yafa. Nnyazaala wange ye yali yafa dda mu 1975. Mu 2000 twasengukira mu kitundu eky’eddungu ekiri mu Colorado ne tuyigiriza abantu baayo Bayibuli. Eky’ennaku, mukyala wange Billie yafa mu Febwali 2014.

Nsanyuka nnyo buli lwe nzijukira Omujulirwa wa Yakuwa eyaddamu ebibuuzo byange byonna ng’akozesa Bayibuli, emyaka 65 egiyise! Ekirala ekinsanyusa kwe kuba nti nnakeberanga mu Bayibuli okukakasa nti ebyo bye yali anjigiriza bituufu. Okukolera ku ebyo bye yanjigiriza kinsobozesezza okufuna emikisa mingi mu kuweereza Katonda.