Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Abaana Bo Osaanidde Kubakangavvula Otya?

Abaana Bo Osaanidde Kubakangavvula Otya?

“Nnawuliranga buli mmotoka eyayitangawo. Guno gwali mulundi gwa kusatu nga Jordan asussa mu ssaawa z’alina okukomerawo awaka. Nnali nneebuuza nti, ‘Ali ludda wa? Afunye ekizibu? Akimanyi nti tuli beeraliikirivu?’ We yakomerawo, obusungu bwali bujula kunzita.”GEORGE.

“Muwala wange yaleekaana nnyo ne ntya. Nnagenda okulaba ng’akute ku mutwe era ng’akaaba. Mwannyina ow’emyaka ena yali amukubye.”NICOLE.

“‘Empeta saagibbye, nnagironze bulonzi!’ bw’atyo Natalie, muwala waffe ow’emyaka omukaaga bwe yayogera nga yeegaana. Kyatuyisa bubi nnyo n’amaziga ne gatuyitamu, kubanga twali tukimanyi nti alimba.”STEPHEN.

BW’OBA oli muzadde, wali obaddeko mu mbeera ng’ezo? Bwe weesanga mu mbeera ng’ezo oyinza okwebuuza engeri gy’oyinza okukangavvulamu omwana wo. Kikyamu okukangavvula abaana?

OKUKANGAVVULA KYE KI?

Mu Bayibuli, ekigambo “okukangavvula” tekitegeeza kubonereza bubonereza, kuvuma, oba kukambuwala; kizingiramu okuyigiriza n’okutereeza.Engero 4:1, 2.

Okukangavvula abaana kuyinza okugeraageranyizibwa ku kulima. Omulimi ateekateeka ennimiro ye, afukirira ebirime, abikoola, era abifuuyira bireme kuliibwa biwuka. Ebirime bwe bigenda bikula, omulimi ayinza okubisalira bisobole okukula obulungi. Omulimi akola ebintu ebiwerako ebirime bye bisobole okukula obulungi. Mu ngeri y’emu, abazadde balina ebintu bingi bye bakola okusobola okukuza obulungi abaana baabwe. Naye ng’omulimi bw’asalira ebirime bye, n’abazadde basaanidde okukangavvula abaana baabwe basobole okukula nga ba mpisa nnungi. Kyokka omulimi bw’ataba mwegendereza ng’asalira ebirime bye, biyinza okufa. Mu ngeri y’emu, abazadde basaanidde okukangavvula abaana baabwe mu ngeri ey’okwagala.

Yakuwa Katonda ateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku kukangavvula. Yakuwa akangavvula abaweereza be mu ngeri ennungi era ey’okwagala ne kiba nti batuuka ‘n’okwagala’ okukangavvulwa. (Engero 12:1) ‘Banyweza okuyigirizibwa’ era ‘tebakuta.’ (Engero 4:13) Okusobola okukangavvula obulungi abaana bo osaanidde okukola ebintu bisatu Katonda by’akola ng’akangavvula abaweereza be: (1) alaga okwagala, (2) akangavvula mu ngeri esaanira, era (3) anywerera ku ekyo ky’aba asazeewo.

OKUKANGAVVULA MU NGERI EY’OKWAGALA

Okwagala kwe kukubiriza Yakuwa okukangavvula abaweereza be. Bayibuli egamba nti: “Kubanga  Mukama gw’ayagala gw’anenya; Era nga [taata bw’anenya] omwana we gw’asanyukira.” (Engero 3:12) Ate era, Yakuwa ‘Katonda ajjudde okusaasira, wa kisa, era alwawo okusunguwala.’ (Okuva 34:6) Yakuwa si mukambwe, tanenya baweereza be buli kiseera, era takozesa bigambo bibi era ebirumya, ebiyinza ‘okufumita ng’ekitala.’Engero 12:18.

MUWULIRIZE

Ekituufu kiri nti olw’okuba abazadde tebatuukiridde, tebasobola kukoppa bugumiikiriza bwa Yakuwa mu bujjuvu. Ebiseera ebimu oyinza okuwulira nga tokyayinza kugumiikiriza, naye kijjukire nti okubonereza omwana ng’oli munyiivu kiyinza okukuviirako okumulumya ennyo, era tekivaamu kalungi konna. Ate era, okwo tekuba kumukangavvula.

Ku luuyi olulala, omuzadde bw’akangavvula omwana mu ngeri ey’okwagala era nga mugumiikiriza, kivaamu ebirungi bingi. Lowooza ku ebyo George ne Nicole, abazadde be twayogeddeko ku ntandikwa bye baakola.

SABIRA WAMU NAYE

“Jordan we yakomerawo, nze ne mukyala wange twali banyiivu nnyo, naye twefuga ne tumuwuliriza ng’atunnyonnyola ekyali kimulwisizzaayo. Olw’okuba obudde bwali buyise, twasalawo ensonga eyo tugyogereko enkeera. Twasooka kusabira wamu ne tulyoka twebaka. Enkeera, twayogera ne mutabani waffe nga ffembi tuli bakkakkamu. Yategeera ensobi gye yali akoze era n’amanya ensonga lwaki twamuteerawo obudde bw’alina okukomerawo awaka. Omuntu bw’akola ekintu nga munyiivu, temuvaamu kalungi konna. Olw’okuba twawuliriza bulungi mutabani waffe, twasobola okumuyamba.”George.

MUBUULIRIRE

“Mutabani wange bwe yakuba mwannyina kyannyiiza nnyo. Olw’okuba nnali munyiivu nnyo, nnamugamba asooke agende mu kisenge kye. Bwe nnakkakkana, nnamunnyonnyola nti okulwana kibi nnyo era ne mmulaga engeri gye yali alumizzaamu mwannyina. Ekyo kyavaamu ebirungi, kubanga yeetondera mwannyina era n’amugwa mu kifuba.”Nicole.

Okukangavvula omwana ne bwe kuba kuzingiramu okumubonereza, kulina okukolebwa mu ngeri ey’okwagala.

OKUKANGAVVULA MU NGERI ESAANIRA

Yakuwa akangavvula ku kigero ekisaanira. (Yeremiya 30:11; 46:28) Alowooza ku buli kimu ekizingirwamu. Abazadde bayinza batya  okukoppa Yakuwa mu nsonga eno? Stephen, gwe twayogeddeko ku ntandikwa, yagamba nti: “Wadde nga kyatuluma nnyo okulaba nga muwala waffe Natalie yeegaana nti yali tabbye mpeta, twalowooza ku myaka gye n’engeri gy’ategeeramu.”

Robert, omwami wa Nicole, naye afuba okulowooza ku ebyo byonna ebizingirwamu. Abaana bwe bakola ekintu ekibi, yeebuuza: ‘Guno gwe mulundi gwe basoose okukikola, oba gufuuse muze? Omwana ono mukoowu, oba teyeewulira bulungi? Ekintu kino ky’akoze kiraga nti alina ekizibu ekirala?’

Abazadde abakangavvula abaana baabwe mu ngeri esaanira era ey’amagezi bakimanyi nti abaana tebaba nga bantu bakulu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto.” (1 Abakkolinso 13:11) Robert agamba nti: “Ekimu ku bintu ebinnyamba obutanyiiga nnyo kwe kulowooza ku bintu bye nnakolanga nga nkyali muto.”

Tosuubira baana bo kukola buli kimu nga bw’oyagala. Wadde kiri kityo, tosaanidde kubawolereza oba kubaleka bulesi bwe baba balina ebintu ebibi bye bakola. Bw’onoolowooza ku busobozi bw’abaana bo, obunafu bwabwe, n’embeera endala ezizingirwamu, ojja kusobola okubakangavvula mu ngeri esaanira era ey’amagezi.

OKUNYWERERA KU EKYO KYE MUBA MUSAZEEWO

Malaki 3:6 wagamba nti: “Nze Mukama [sikyuka].” Olw’okuba emitindo gya Yakuwa tegikyuka, abaweereza be bagyesiga era bagikolerako. Abaana nabo bwe mubakangavvula nga munywerera ku ekyo kye muba musazeewo baganyulwa nnyo. Bwe mutanywerera ku ekyo kye muba musazeewo, abaana bammwe bajja kubuzaabuzibwa era tabajja kuganyulwa.

Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga nedda.” Abazadde nabo basaanidde okukolera ku bigambo ebyo. (Matayo 5:37) Bw’olabula omwana wo nti bwe yeeyisa obubi ojja kumubonereza, kituukirize.

Abazadde bwe baba ab’okukangavvula obulungi abaana baabwe, basaanidde okuba n’empuliziganya ennungi. Robert agamba nti: “Abaana baffe bwe baŋŋamba mbakkirize okukola ekintu maama waabwe ky’abagaanye, mbagamba bakole nga maama waabwe bw’abagambye.” Abazadde bwe baba tebakkiriziganya ku ngeri y’okukangavvulamu abaana baabwe, kiba kirungi ne boogera ku nsonga ezo nga bali bokka era ne basalawo eky’okukola.

KIKULU NNYO OKUKANGAVVULA ABAANA

Bwe munaakoppa engeri Yakuwa gy’akangavvulamu, mujja kusobola okukangavvula obulungi abaana bammwe, era bajja kukula nga ba buvunaanyizibwa. Bayibuli egamba nti: “Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.”Engero 22:6.