Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Jjulaayi 2015

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Russia

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Russia

MU 1991, Abajulirwa ba Yakuwa mu Russia baasanyuka nnyo, omulimu gwabwe ogwali gumaze emyaka emingi nga guwereddwa bwe gwaggibwako envumbo era ne gukkirizibwa mu mateeka. Mu kiseera ekyo, kyali tekisuubirwa nti omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwandyeyongedde nnyo ne gukubisaamu emirundu nga kkumi. Kati mu Russia waliyo ababuulizi nga 170,000! Mu babuulizi abo abanyiikivu mulimu n’abo abaava mu nsi endala. (Mat. 9:37, 38) Ka tulabeyo abamu ku bo.

AB’OLUGANDA ABANYIIKIVU BAYAMBA MU KUNYWEZA EBIBIINA

Omwaka omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Russia mwe gwaggibwako envumbo, Matthew okuva mu Great Britain yali wa myaka 28. Bwe baali ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu emboozi emu eyaweebwa yalaga nti mu bibiina ebiri mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba waaliyo obwetaavu bwa maanyi. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda eyawa emboozi eyo yayogera ku kibiina ekimu mu St. Petersburg, Russia, ekyalina omuweereza omu yekka ate nga tekirina mukadde n’omu. Mu kibiina ekyo ab’oluganda baalina abantu bangi be baali bayigiriza Bayibuli! Matthew agamba nti: “Oluvannyuma lw’emboozi eyo, nneeyongera okulowooza ku ky’okugenda okuweereza mu Russia. Nnasaba Yakuwa annyambe nsobole okugenda okuweereza eyo.” Matthew yaterekawo ssente era n’atunda ebintu bye ebiwerako, era mu 1992 n’agenda okuweereza mu Russia. Matthew ebintu byamugendera bitya?

Matthew

Agamba nti: “Olulimi olwogerwa mu Russia lwali luzibu nnyo, bwe kityo, kyanzibuwaliranga okwogera n’abantu.” Ekizibu ekirala kye yafuna kyali kya mayumba. Matthew agamba nti: “Sijjukira mirundi emeka gye nnalina okuva mu nnyumba emu okudda mu ndala, ate ng’emirundi egisinga mpeebwa akaseera katono okuvaamu.” Wadde nga yafuna ebizibu ebyo nga yaakatuuka mu Russia, Matthew agamba nti: “Mpulira nti okusalawo okugenda okuweereza mu Russia kye kimu ku bintu ebisingayo obulungi bye nnali nsazeewo okukola mu bulamu bwange.” Agattako nti: “Okuweereza wano kinnyambye okwongera okwesiga Yakuwa era Yakuwa annyambye nnyo.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Matthew yalondebwa okuweereza ng’omukadde mu kibiina era nga payoniya ow’enjawulo. Kati aweereza ku ofiisi y’ettabi eri okumpi ne St. Petersburg.

Mu 1999, Hiroo, nga wa myaka 25, yagenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza eryali mu Japan, era omu ku basomesa baabwe yamukubiriza okugenda  okuweereza mu nsi endala. Hiroo yali yakimanyaako nti mu Russia waliyo obwetaavu bwa maanyi era bw’atyo n’atandika okuyiga olulimi olwogerwa mu Russia. Alina n’ekintu ekirala kye yakola. Agamba nti: “Nnagenda mu Russia ne mmalayo emyezi mukaaga. Okuva bwe kiri nti mu Russia baba n’obutiti bwa maanyi, nnasalawo okugendayo mu Noovemba ndabe obanga nnaasobola okugumira obunnyogovu obuli mu nsi eyo.” Oluvannyuma lw’okuyita mu kiseera ekyo eky’obutiti, yaddayo mu Japan n’afuba okweggyako ebintu ebimu asobole okuterekawo ssente ezimala kimusobozese okugenda okubeerera ddala mu Russia.

Hiroo ne Svetlana

Hiroo kati amaze emyaka 12 mu Russia era aweerezzaako mu bibiina ebiwerako. Ebiseera ebimu ye yabanga omukadde yekka era ng’alabirira ababuulizi abasukka mu 100. Mu kibiina ekimu, yabanga alina okukubiriza ebitundu ebisinga obungi mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, okukubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, okukubiriza olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, era ng’alina n’okukubiriza Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo mu bibinja bitaano eby’enjawulo. Ate era yakyaliranga ab’oluganda bangi okubazzaamu amaanyi. Hiroo agamba nti: “Kyandeeteranga essanyu lingi okuyamba bakkiriza bannange okunywera mu by’omwoyo.” Okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako kyamukwatako kitya? Agamba nti: “Bwe nnali sinnagenda mu Russia, nnali mpeereza ng’omukadde era nga payoniya, naye okuva lwe nnagenda mu Russia, mpulira ng’enkolagana yange ne Yakuwa yeeyongedde okunywera. Nneeyongedde okwesiga Yakuwa mu buli kimu kye nkola.” Mu 2005, Hiroo yawasa Svetlana, era bombi baweereza nga bapayoniya.

Michael ne Olga nga bali ne Marina ne Matthew

Matthew, ow’emyaka 34, ne muganda we Michael, ow’emyaka 28, baali babeera mu Canada. Bombi baakyalako mu Russia era ne bakiraba nti abantu bangi baali bajja mu nkuŋŋaana naye ng’ab’oluganda abazikubiriza batono nnyo. Matthew agamba nti: “Ekibiina gye nnakuŋŋaanira twawera abantu 200, kyokka enkuŋŋaana zonna zaakubirizibwa omukadde omu eyali akaddiye awamu n’omuweereza omu eyali akyali omuto. Ekyo kyankwatako nnyo ne njagala okuyambako ab’oluganda abo.” Matthew yagenda okubeera mu Russia mu 2002.

Nga wayise emyaka ena, Michael naye yagenda mu Russia era n’asanga nga wakyaliyo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda. Olw’okuba yali muweereza, yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukola ku by’embalirira y’ekibiina, ku bitabo, n’okutegeka fayiro y’ebitundu ebibuulirwamu. Yaweebwa n’emirimu egitera okukolebwa omuwandiisi w’ekibiina, yawanga emboozi ya bonna, yayambangako mu kuteekateeka enkuŋŋaana ennene ne mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Mu butuufu, n’okutuusa leero, wakyaliwo obwetaavu bwa maanyi mu bibiina ebiri mu Russia. Wadde nga kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo bwonna, Michael, kati aweereza ng’omukadde, agamba nti: “Okuweereza bakkiriza bannange kindeetera essanyu lingi. Eyo ye ngeri esingayo obulungi gye nnyinza okukozesaamu obulamu bwange!”

Oluvannyuma, Matthew yawasa Marina, ate Michael n’awasa Olga. Matthew, Michael, bakyala baabwe, awamu n’abalala bangi beeyongera okunyweza ebibiina ebitali bimu mu Russia.

BANNYINAFFE ABANYIIKIVU BAYAMBAKO MU MULIMU GW’AMAKUNGULA

Tatyana

Mu 1994, Tatyana yalina emyaka 16, era mu kiseera ekyo waaliwo bapayoniya ab’enjawulo mukaaga abaava mu Czech Republic, Poland, ne Slovakia abajja okuweereza mu kibiina kye mu Ukraine. Ng’ayogera ku bapayoniya abo, Tatyana agamba nti: “Baali banyiikivu nnyo, nga batuukirikika, nga ba kisa nnyo, era nga bamanyi bulungi Bayibuli.” Yalaba omwoyo ogw’okwefiiriza gwe baali booleka n’engeri Yakuwa gye yali abawaamu emikisa, bw’atyo n’ayagala okubeera nga bo.

Ekyokulabirako bapayoniya abo kye baateekawo kyamukwatako nnyo, bw’atyo n’akozesanga ebiseera eby’oluwummula okugenda n’abalala okubuulira mu bitundu bya Ukraine ne Belarus eby’omu byalo, Abajulirwa ba Yakuwa gye baali batabuulirangako. Yanyumirwanga nnyo okubuulira mu bitundu ebyo era bw’atyo n’akola enteekateeka okwongera okugaziya ku buweereza bwe ng’agenda okubuulira mu Russia. Yasooka n’agenda n’amalayo akaseera katono, asobole okukyalirako mwannyinaffe eyali agenze mu Russia ng’avudde mu nsi endala era asobole okufuna omulimu ogwandimusobozesezza okweyimirizaawo ng’aweereza  nga payoniya. Oluvannyuma, mu 2000, Tatyana yagenda okuweereza mu Russia. Kyamwanguyira okukola enkyukakyuka eyo?

Tatyana agamba nti: “Okuva bwe kiri nti nnali sisobola kupangisa nnyumba nnamba, nnasalawo okupangisa ekisenge ku nnyumba abalala kwe baali babeera. Embeera eyo teyali nnyangu. Oluusi nnawuliranga nga njagala kuddayo waffe. Naye Yakuwa yannyamba okukiraba nti kyali kya magezi okugenda mu maaso n’obuweereza bwange.” Leero, Tatyana aweereza ng’omuminsani mu Russia. Agamba nti: “Mu myaka gye mmaze nga mpeereza mu nsi endala njigiddemu ebintu bingi era nfuniddemu emikwano mingi. N’ekisinga obukulu okukkiriza kwange kweyongedde okunywera.”

Masako

Masako eyava mu Japan, era nga kati ali mu myaka 50, yali ayagala nnyo okuweereza ng’omuminsani, naye olw’okuba yali alwalalwala, ekyo yali tasobola kukikola. Kyokka, embeera y’obulamu bwe bwe yatereeramu, yasalawo okugenda mu Russia okuyambako mu mulimu gw’amakungula. Wadde nga tekyali kyangu kufuna wa kusula walungi n’okufuna omulimu, yasobola okweyimirizaawo ng’aweereza nga payoniya ng’akola ogw’okusomesa abantu olulimi Olujapaani era ng’akola n’ogw’okulongoosa. Kiki ekimuyambye okweyongera okuweereza n’obunyiikivu?

Bw’alowooza ku myaka 14 gy’amaze mu Russia, Masako agamba nti: “Essanyu eringi lye nfuna mu buweereza bwange linneerabiza ebizibu byonna bye njolekagana nabyo. Okubuulira mu bitundu awali obwetaavu obusingako kireeta essanyu eritagambika.” Agattako nti: “Mu butuufu, okuba nti Yakuwa ansobozesezza okufuna emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula mu myaka gino gyonna gye mmaze nga mpeereza nkiraba ng’ekyamagero.” Ng’oggyeeko okuweereza awali obwetaavu obusingako mu Russia, Masako era ayambako mu mulimu gw’amakungula ogukolebwa mu Kyrgyzstan. Okugatta ku ekyo, yaweerezaako ne mu bibinja ebyogera Olungereza, Olukyayina, n’olulimi oluyitibwa Uighur. Mu kiseera kino, aweereza nga payoniya mu St. Petersburg.

AB’OMU MAKA AGATALI GAMU BAWAGIDDE OMULIMU GW’OKUBUULIRA ERA BAFUNYE EMIKISA

Inga ne Mikhail

Oluusi embeera y’eby’enfuna eyinza okuleetera abantu abamu awamu n’ab’omu maka gaabwe okugenda mu nsi endala okusobola okufuna ssente ezisingako. Naye okufaananako Ibulayimu ne Saala, ab’oluganda abamu awamu n’ab’omu maka gaabwe bagenda mu nsi endala  olw’okwagala okuweereza Katonda mu ngeri esingako. (Lub. 12:1-9) Lowooza ku Mikhail ne mukyala we Inga, abaava mu Ukraine ne bagenda mu Russia mu 2003. Mu kiseera kitono baali bafunye abantu bangi abaali baagala okuyiga Bayibuli.

Mikhail agamba nti: “Lumu twabuulirako mu kitundu Abajulirwa ba Yakuwa kye baali batabuulirangamuko. Twakonkona ku nnyumba emu ne muvaamu omusajja nnamukadde eyatubuuza nti, ‘Muli babuulizi?’ Bwe twamuddamu nti yee, yatugamba nti: ‘Nnakimanya nti lumu mulijja. Nkimanyi nti ebigambo Yesu bye yayogera birina okutuukirira.’ Omusajja oyo yajuliza Matayo 24:14.” Mikhail agattako nti: “Mu kitundu ekyo era twasangamu n’ekibinja ky’abakazi nga kkumi Abapolotesitante, abaali baagala ennyo okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli. Baalina akatabo Okuba Omulamu era buli wiikendi baakakozesanga okuyiga Bayibuli. Twamala essaawa eziwerako nga tuddamu ebibuuzo byabwe era twayimbira wamu nabo ennyimba z’Obwakabaka, oluvannyuma ne tuliirako wamu nabo emmere. Sisobola kwerabira bintu ebyo.” Mikhail ne Inga bagamba nti okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako kibayambye okwongera okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa, okwongera okwagala abantu, era kibaleetedde essanyu lingi nnyo. Mu kiseera kino, bakola omulimu ogw’okukyalira ebibiina.

Oksana, Aleksey, ne Yury

Mu 2007, Yury ne mukyala we Oksana, abaava mu Ukraine, nga kati bali mu myaka 30, baagenda ne mutabani waabwe Aleksey, kati ow’emyaka 13, ne bakyalako ku ofiisi y’ettabi ey’omu Russia. Bwe baali eyo beetegereza mmaapu ya Russia ne bakiraba nti ebitundu bingi byali tebirina bibiina bibibuuliramu. Oksana agamba nti: “Oluvannyuma lw’okwetegereza mmaapu eyo, twakiraba nti waaliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka mu nsi eyo. Ekyo kyatuleetera okusalawo okugenda okubeera mu Russia.” Kiki ekirala ekyabayamba okusalawo bwe batyo? Yury agamba nti: “Okusoma ebitundu ebitali bimu ebifulumira mu bitabo byaffe, gamba ng’ebyo ebyalina omutwe ‘Osobola Okuweereza mu Nsi Endala?’ kyatuyamba nnyo. * Twakyalako mu kitundu eky’omu Russia ofiisi y’ettabi gye yatugamba nti tusobola okugenda okuweerereza eyo era twanoonya ennyumba n’omulimu gwe tusobola okukola mu kitundu ekyo.” Mu 2008, baagenda okubeera mu Russia.

Mu kusooka, tekyali kyangu kufuna mulimu era emirundi mingi twalinanga okusenguka okuva mu nnyumba emu okudda mu ndala. Yury agamba nti: “Twasabanga Yakuwa atuyambe obutaggwaamu maanyi, era tweyongera okubuulira nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Twakiraba nti bwe tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe, Yakuwa tasobola kutwabulira. Okuweereza awali obwetaavu obusingako kinywezezza enkolagana yaffe ng’amaka.” (Mat. 6:22, 33) Ate okuweereza awali obwetaavu obusingako kiyambye kitya mutabani waabwe Aleksey? Oksana agamba nti: “Ekyo kiganyudde nnyo mutabani waffe. Yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa nga wa myaka mwenda. Okulaba nti waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka kikubiriza mutabani waffe okuweereza nga payoniya omuwagizi mu biseera by’oluwummula. Okulaba obunyiikivu bw’ayoleka mu mulimu gw’okubuulira kituleetera essanyu lingi.” Leero, Yury ne Oksana baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo.

“EKINTU KYOKKA KYE NNEJJUSA”

Ng’ebigambo bya bakkiriza bannaffe be tulabye mu kitundu kino bwe biraga, okusobola okugaziya ku buweereza bwo ng’ogenda okubuulira mu kitundu ekirala kyetaagisa okwesiga ennyo Yakuwa. Kyo kituufu nti abo abasalawo okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako boolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Wadde kiri kityo, bafuna essanyu lingi mu kubuulira amawulire amalungi abantu ab’emitima emirungi. Naawe osobola okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako? Bw’onookola bw’otyo, naawe osobola okuwulira nga Yury, eyasalawo okugenda okubuulira mu kitundu awali obwetaavu obusingako, eyagamba nti: “Ekintu kyokka kye nnejjusa kwe kuba nti ekyo nnalwawo okukikola.”

^ lup. 20 Laba Watchtower, eya Okitobba 15, 1999, olupapula 23-27.