GUY HOLLIS PIERCE, eyali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi ku Lwokubiri, Maaki 18, 2014 nga wa myaka 79. Ng’omu ku baganda ba Kristo, Ow’oluganda Pierce yazuukizibwa n’aweebwa empeera ye mu ggulu.—Beb. 2:10-12; 1 Peet. 3:18.

Guy Pierce yazaalibwa mu Auburn, California, Amerika, nga Noovemba 6, 1934, era yabatizibwa mu 1955. Yawasa Penny mu 1977 ne bakuliza wamu abaana. Mu butuufu, yalinga taata n’eri ab’oluganda abalala. Mu 1982, ye ne Penny baatandika okuweerereza awamu nga bapayoniya. Mu 1986, yatandika okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Amerika, era ekyo yakikola okumala emyaka 11.

Mu 1997, Guy Pierce ne Penny baatandika okuweereza ku Beseri y’omu Amerika. Ow’oluganda Pierce yatandika okukola mu Kitongole eky’Obuweereza, era mu 1998 yalondebwa okuba omuyambi ku Kakiiko Akalabirira Ababeseri akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi. Ku lukuŋŋaana lw’omwaka olwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania olwaliwo nga Okitobba 2, 1999, Ow’oluganda Pierce yalangirirwa nti yali alondeddwa okuba ku Kakiiko Akafuzi. Yaweerezaako ku Kakiiko Akalabirira Ababeseri, ku Kakiiko Akakola ku by’Okuwandiika, ku Kakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo, ne ku Kakiiko k’Abo Abakwanaganya.

Ow’oluganda Pierce yali mukwano gwa bangi olw’okuba yateranga okusaaga n’abalala era ng’akamwenyumwenyu tekamuva ku matama. Naye ekyasinga okuleetera abalala okumwagala kwe kuba nti yalina okwagala, yali mwetoowaze, yanywereranga ku misingi gya Bayibuli, era yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Guy Pierce yali mukakafu nnyo nti ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira ne kiba nti yateranga okugamba nti kyangu enjuba obutavaayo okusinga ebisuubizo bya Katonda obutatuukirira, era ekyo yayagalanga nnyo buli muntu ku nsi akimanye.

Ow’oluganda Pierce yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu, ng’azuukuka ku makya nnyo ate ng’emirundi mingi akola paka kiro nnyo. Yatuuka mu bitundu by’ensi bingi ng’agenda azzaamu bakkiriza banne amaanyi, era Ababeseri n’ab’oluganda abalala bwe baabanga baagala okunyumyako naye oba okubawa ku magezi, yabanga mwetegefu okubawa obudde bwe. Bakkiriza banne bangi bakyajjukira omwoyo ogw’okusembeza abagenyi gwe yalina, omukwano gwe yabalaga, n’amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli ge yabawanga.

Muganda waffe era mukwano gwaffe Pierce yaleka omukyala, abaana mukaaga, n’abazzukulu. Ate era yalina n’abaana ab’eby’omwoyo bangi nnyo. Emboozi ey’okujjukira Ow’oluganda Pierce yaweebwa ku Lw’omukaaga, Maaki 22, 2014, ku Beseri y’omu Brooklyn. Ow’oluganda Mark Sanderson, ali ku Kakiiko Akafuzi, ye yawa emboozi eyo. Ekimu ku bintu bye yayogerako ly’essuubi ery’okugenda mu ggulu Ow’oluganda Pierce lye yalina era n’asoma ebigambo bya Yesu bino: “Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi. . . . Bwe mba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo. Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”—Yok. 14:2-4.

Kyo kituufu nti tusaaliddwa nnyo Ow’oluganda Pierce. Wadde kiri kityo, tuli basanyufu okuba nti ‘yali amanyi ekkubo’ erimutuusa mu kifo gy’agenda okubeera emirembe n’emirembe.