NNAMWANDU omwavu agwa mu kifuba kya mutabani we omu yekka. Tayinza kukikkiriza nti mutabani we oyo abadde afudde azzeemu okuba omulamu. Omugenyi amukyalidde azuukizza mutabani we, era ekyo kimuleetedde essanyu lingi.

Ekyo kyaliwo emyaka nga 3,000 emabega era osobola okukisomako mu 1 Bassekabaka essuula 17. Omugenyi eyali akyalidde nnamwandu ye Eriya, nnabbi wa Katonda. Bayibuli tetubuulira linnya lya nnamwandu oyo, naye eraga nti yali abeera mu kabuga akayitibwa Zalefaasi. Okuzuukira kwa mutabani we kye kimu ku bintu ebyasinga okunyweza okukkiriza kwe. Waliwo ebintu bingi bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku nnamwandu oyo.

ERIYA AGENDA EWA NNAMWANDU EYALINA OKUKKIRIZA

Yakuwa yagamba nti waali wagenda kubaawo ekyeya ekiwanvu mu bwakabaka bwa Akabu, kabaka wa Isiraeri eyali omubi. Oluvannyuma lwa Eriya okulangirira ekyeya ekyo, Katonda yamukweka Kabaka Akabu aleme okumutuusaako akabi. Katonda yatumanga nnamuŋŋoona ne zitwalira Eriya emigaati n’ennyama. Oluvannyuma Yakuwa yagamba Eriya nti: “Golokoka ogende e Zalefaasi ekya Sidoni, obeere eyo: laba, [nja kulagira] omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga.”1 Bassek. 17:1-9.

Eriya bwe yatuuka e Zalefaasi, yasisinkana nnamwandu eyali omwavu ng’alonda enku. Ddala nnamwandu oyo ye yandiriisizza Eriya? Ekyo yandisobodde atya okukikola ng’ate mwavu? Ka kibe ki Eriya kye yalowooza mu kiseera ekyo, yatandika okunyumya ne nnamwandu oyo. Yamugamba nti: “Nkimira otuzzi mu kibya, nnywe.” Bwe yali agenda okumufunira amazzi anywe, Eriya yamugamba nti: “Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo.” (1 Bassek. 17:10, 11) Nnamwandu oyo tekyamuzibuwalira kuwa  Eriya mazzi, naye kyamuzibuwalira okumuwa emmere.

Nnamwandu yagamba Eriya nti: “Nga Mukama Katonda wo bw’ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw’obutta mu ppipa n’otufuta mu kasumbi: era, laba, nsennya enku bbiri nnyingire nneefumbire nze n’omwana wange, tubulye tufe.” (1 Bassek. 17:12) Ebigambo ebyo biraga ki?

Nnamwandu oyo yakitegeera nti Eriya yali musajja atya Katonda. Ekyo kyeyolekera mu bigambo nnamwandu oyo bye yayogera. Yagamba nti: “Nga Mukama Katonda wo bw’ali omulamu.” Wadde nga nnamwandu oyo yali alina ky’amanyi ku Katonda w’Abaisiraeri, yali tannatandika kumutwala nga Katonda we. Yali abeera mu kabuga Zalefaasi, akaali okumpi n’ekibuga Sidoni ekya Foyiniikiya. Kirabika nti abantu abaali babeera mu kabuga Zalefaasi baali basinza Bbaali. Wadde kyali kityo, Yakuwa yali alina ekintu ekirungi ky’alabye mu nnamwandu oyo.

Wadde nga nnamwandu w’e Zalefaasi yali abeera mu bantu abasinza ebifaananyi, yayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Yakuwa okutuma Eriya eri nnamwandu oyo, kyandiganyudde nnamwandu oyo era ne kiganyula ne Eriya. Ekyo kituyigiriza ki?

Abantu bonna abaali babeera mu Zalefaasi tebaali babi. Yakuwa okusindika Eriya eri nnamwandu oyo kituyigiriza nti Yakuwa afaayo ku bantu ab’emitima emirungi abatannatandika kumuweereza. Mu butuufu, “mu buli ggwanga omuntu [atya Katonda] n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”Bik. 10:35.

Mu kitundu mw’obuulira mulimu abantu abalinga nnamwandu w’e Zalefaasi? Wadde ng’abantu abo bali mu madiini ag’obulimba, bayinza okuba nga baagala okuyiga amazima. Bayinza okuba nga bamanyi kitono ku Yakuwa oba nga tebalina kye bamumanyiiko ne kiba nti beetaaga okuyambibwa basobole okwegatta ku kusinza okw’amazima. Ofuba okunoonya abantu ng’abo era n’obayamba?

‘SOOKA ONFUMBIRE AKAGAATI’

Lowooza ku ekyo Eriya kye yagamba nnamwandu okukola. Nnamwandu yali yaakagamba Eriya nti yali agenda kufumba akamere akatono akaali kasigaddewo, ye ne mutabani we bakalye oluvannyuma baffe. Naye Eriya yamugamba nti: “Totya; genda okole nga bw’oyogedde: naye sooka [onfumbire] akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n’omwana wo. Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey’obutta terikendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.”1 Bassek. 17:11-14.

Singa ggwe wali mu mbeera eyo, wandikoze ki? Wandiwadde Eriya ku kamere ko akatono k’osigazzaawo? Kiki nnamwandu oyo kye yakola? Wadde nga yali tamanyi nnyo Yakuwa, yakola ekyo Eriya kye yamugamba okukola. Nnamwandu oyo yayoleka okukkiriza okw’amaanyi era n’asalawo mu ngeri ey’amagezi.

Olw’okuba yakkiririza mu Yakuwa, Katonda wa Eriya, nnamwandu w’e Zalefaasi ne mutabani we baawonawo

Katonda teyayabulira nnamwandu oyo eyali omwavu. Nga Eriya bwe yagamba, Yakuwa yalabirira Eriya, nnamwandu, ne mutabani we okutuusa ekyeya lwe kyaggwaako. Bayibuli egamba nti: “Eppipa ey’obutta teyakendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaggwaawo ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.” (1 Bassek. 17:16; 18:1) Singa nnamwandu oyo teyakola ekyo Eriya kye yamugamba okukola akamere ke ako kandiweddewo.  Naye yayoleka okukkiriza, ne yeesiga Yakuwa, era n’asooka awa Eriya emmere.

Kye tuyigira ku kyokulabirako kya nnamwandu oyo kiri nti Katonda awa emikisa abo abooleka okukkiriza. Bw’onooyoleka okukkiriza ng’oli mu mbeera enzibu, Yakuwa ajja kukuyamba. Ajja kukulabirira, ajja kukukuuma, era nga Mukwano gwo, ajja kukuyamba okugumira ebizibu.Kuv. 3:13-15.

Mu 1898, magazini ya Zion’s Watch Tower yagamba nti: “Mukama waffe okusobola okuwa nnamwandu emikisa ng’ayitira mu nnabbi Eriya nnamwandu oyo yali alina okwoleka okukkiriza, naye bw’atandyolese kukkiriza, oboolyawo Mukama waffe yandironzeeyo nnamwandu omulala. Bwe kityo bwe kiri ne ku ffe. Ebiseera ebimu, Mukama waffe aleka okukkiriza kwaffe ne kugezesebwa. Bwe twoleka okukkiriza nga tugezesebwa, atuwa emikisa mingi, naye bwe tutayoleka kukkiriza, emikisa egyo tetugifuna.”

Bwe twolekagana n’okugezesebwa, tusaanidde okunoonya obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Bwe tufuna obulagirizi obwo, tusaanidde okubukolerako wadde ng’oluusi ekyo kiyinza obutaba kyangu. Katonda ajja kutuwa emikisa singa tukolera ku bigambo bino: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”Nge. 3:5, 6.

‘WAJJA GYE NDI OKUTTA OMWANA WANGE?’

Waliwo ekintu ekirala ekyali kigenda okugezesa okukkiriza kwa nnamwandu. Bayibuli egamba nti: “Oluvannyuma lw’ebyo omwana w’omukazi oyo nnyini nnyumba n’alwala; n’endwadde ye n’enyiikira bw’eti n’atabaamu nate na mukka.” Nga yeebuuza ekyali kiviiriddeko mutabani we oyo okufa, nnamwandu yagamba Eriya nti: “Nfaayo ki eri ggwe, ggwe omusajja wa Katonda? Wajja gye ndi okunjijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange!” (1 Bassek. 17:17, 18) Lwaki nnamwandu oyo yayogera ebigambo ebyo?

Kyandiba nti nnamwandu oyo alina ekibi kye yali yakola ekyali kiviirako omuntu we ow’omunda okumulumiriza? Oba kyandiba nti yali alowooza nti okufa kwa mutabani we kyali kibonerezo okuva eri Katonda, era nti Katonda yali akozesezza Eriya okutta omwana we? Ekyo Bayibuli tekyogerako, naye kye tumanyi kiri nti: Nnamwandu oyo teyanenya Katonda olw’ekyo ekyamutuukako.

Eriya ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba nga mutabani wa nnamwandu oyo afudde era n’okuba nti nnamwandu yali alowooza nti okufa kwa mutabani we kwali kuvudde ku ye. Oluvannyuma lw’okutwala omulambo gw’omulenzi mu kisenge ekya waggulu gye yasulanga, Eriya yakaabira Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng’otta omwana we?” Eriya teyayagala kufa kwa mutabani wa nnamwandu oyo kuleete kivume ku linnya lya Katonda. Bwe kityo, yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw’omwana ono bumuddemu nate.”1 Bassek. 17:20, 21.

“LABA, OMWANA WO MULAMU”

Yakuwa yawulira okusaba kwa Eriya. Nnamwandu oyo yali alabiridde nnabbi we era yali ayolese okukkiriza okw’amaanyi. Kiyinzika okuba nti Katonda yaleka obulwadde okutta mutabani wa nnamwandu oyo ng’akimanyi nti yali agenda kumuzuukiza. Okwo kwe kuzuukira okwasooka okwogerwako mu Byawandiikibwa, era kwandiyambye abantu bangi okufuna essuubi. Eriya bwe yasaba Yakuwa okuzuukiza omwana oyo, Yakuwa yawulira essaala ye era n’amuzuukiza. Lowooza ku ssanyu nnamwandu oyo lye yawulira Eriya bwe yamugamba nti: “Laba, omwana wo mulamu”! Nnamwandu yagamba Eriya nti: “Kaakano mmanyi ng’oli musajja wa Katonda, era ng’ekigambo kya [Yakuwa] mu kamwa ko ge mazima.”1 Bassek. 17:22-24.

Essuula 17 ey’ekitabo kya Bassekabaka Ekisooka tetubuulira bisingawo bikwata ku nnamwandu w’e Zalefaasi. Kyokka, okuva bwe kiri nti Yesu yamwogerako bulungi, kirabika we yafiira yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa. (Luk. 4:25, 26) Ebyo ebikwata ku nnamwandu oyo biraga nti Katonda awa emikisa abo abakolera abaweereza be ebintu ebirungi. (Mat. 25:34-40) Era biraga nti Katonda alabirira abaweereza be abeesigwa, ne bwe baba mu mbeera enzibu ennyo. (Mat. 6:25-34) Ate era biraga nti Yakuwa asobola okuzuukiza abo abaafa. (Bik. 24:15) Mu butuufu, ebintu ebyo bituleetera okujjukira nnamwandu w’e Zalefaasi.