Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Na. 4 2016

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI—YAWONA OKUSAANAWO

Lwaki Bayibuli Ekyaliwo?

Lwaki Bayibuli Ekyaliwo?

Leero osobola okufuna Bayibuli eyiyo ku bubwo era n’ogyesomera olw’okuba teyasaanyizibwawo. Ate bw’ofuna Bayibuli eyavvuunulwa obulungi, oba mukakafu nti erimu ebyo ebyali mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasookera ddala. * Naye lwaki Bayibuli ekyaliwo wadde nga yali esobola okuvunda, era nga baagezaako okugisaanyaawo n’okukyusa obubaka obugirimu? Lwaki Bayibuli kitabo kya njawulo nnyo?

“Kati ndi mukakafu nti Bayibuli gye nnina kirabo ekyava eri Katonda”

Abantu bangi abasoma Bayibuli bakkiriziganya n’omutume Pawulo eyawandiika nti: “Buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Bakkiriza nti Bayibuli ekyaliwo n’okutuusa leero olw’okuba Kigambo kya Katonda era n’olw’okuba Katonda y’akikuumye. Faizal, eyayogeddwako mu kitundu ekyasoose, yasalawo okwesomera Bayibuli asobole okukakasa obanga ebyo ebyali bimugambibwa bituufu. Bye yazuula byamwewuunyisa nnyo. Yakizuula nti enjigiriza nnyingi eziri mu madiini ageeyita ag’Ekikristaayo tezisangibwa mu Bayibuli. N’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kigendererwa kya Katonda eri ensi kyamwewuunyisa nnyo.

Faizal agamba nti, “Kati ndi mukakafu nti Bayibuli gye nnina kirabo ekyava eri Katonda. Bwe kiba nti Katonda yasobola okutonda ensi, tasobola kutuwa Bayibuli era n’agikuuma n’etasaanawo? Okugamba nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna tasobola kugikuuma, kuba kugaya maanyi ge. Nze ani agaya amaanyi ga Katonda?”—Isaaya 40:8.

^ lup. 3 Laba ekitundu ekirina omutwe “How Can You Choose a Good Bible Translation?” (“Oyinza Otya Okumanya Bayibuli Eyavvuunulwa Obulungi”) mu Watchtower eya Maayi 1, 2008.