Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Maayi 2017

Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola

Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola

“Olw’okweyongera kw’obujeemu, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”MAT. 24:12.

ENNYIMBA: 60, 135

1, 2. (a) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:12 okusookera ddala byali bikwata ku baani? (b) Ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume biraga bitya nti Abakristaayo abasinga obungi mu kyasa ekyasooka tebakkiriza kwagala kwabwe kuwola? (Laba ekifaananyi waggulu.)

EKIMU ku bintu Yesu bye yayogerako mu kabonero akandiraze “amafundikira g’enteekateeka y’ebintu” kwe kuba nti ‘okwagala kw’abasinga obungi kwandiwoze.’ (Mat. 24:3, 12) Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaali bagamba nti baali basinza Katonda bakkiriza okwagala kwe baalina eri Katonda okuwola.

2 Ku luuyi olulala, Abakristaayo abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo baanyiikirira “okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo” era baakiraga nti baali baagala Katonda ne bakkiriza bannaabwe awamu n’abantu abalala. (Bik. 2:44-47; 5:42) Kyokka, abamu ku bagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo bakkiriza okwagala kwabwe okuwola.

3. Kiki ekiyinza okuba nga kyaviirako okwagala kw’Abakristaayo abamu okuwola?

3 Bwe yali ayogera eri Abakristaayo b’omu Efeso abaaliwo mu  kyasa ekyasooka, Yesu yagamba nti: “Nnina kye nkuvunaana: waleka okwagala kwe walina olubereberye.” (Kub. 2:4) Kiki ekiyinza okuba nga kyaviirako okwagala kw’Abakristaayo abo okuwola? Abakristaayo abo bayinza okuba nga baali batwaliriziddwa endowooza z’abantu abaali babeetoolodde. (Bef. 2:2, 3) Okufaananako ebibuga bingi leero, ekibuga kya Efeso mu kyasa ekyasooka kyalimu abantu bangi abaali beeyisa obubi. Ekibuga ekyo kyali kigagga nnyo era ng’abantu baamu baagala nnyo eby’amasanyu, okwejalabya, n’okubeera mu bulamu obutaliimu kukakaalukana. Abantu abasinga obungi baalina omwoyo ogw’okwerowoozaako mu kifo ky’okwoleka okwagala okwetaagisa abantu okwefiiriza. Okugatta ku ekyo, ebikolwa eby’obugwagwa n’eby’obugwenyufu byali bibunye buli wamu.

4. (a) Okwagala kw’abasinga obungi kuwoze kutya leero? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Obunnabbi Yesu bwe yayogera obulaga nti okwagala kw’abantu kwandiwoze bukwata ne ku kiseera kyaffe. Abantu abasinga obungi leero tebaagala Katonda. Bangi tebakyesiga Katonda era essuubi lyabwe balitadde mu bibiina by’abantu nga balowooza nti bye bijja okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi. Mu butuufu, buli lukya, okwagala kw’abantu abatasinza Yakuwa Katonda kweyongera kuwola. Kyokka nga bwe kyali mu kibiina kya Efeso mu kyasa ekyasooka, ne leero Abakristaayo bwe bateegendereza, okwagala kwabwe kuyinza okuwola. Mu kitundu kino tugenda kulaba okwagala kwa mirundi esatu kwe tulina okukuuma kuleme okuwola: (1) Okwagala Yakuwa, (2) okwagala amazima agali mu Bayibuli, (3) n’okwagala bakkiriza bannaffe.

OKWAGALA YAKUWA

5. Lwaki tulina okwagala Katonda?

5 Ku lunaku Yesu lwe yayogera ku kwagala kw’abasinga obungi okuwola, yayogera ne ku kwagala okusingayo obukulu kwe tusaanidde okwoleka. Yagamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka.” (Mat. 22:37, 38) Bwe twagala Katonda kituyamba okukwata ebiragiro bye, okugumiikiriza, n’okukyawa ebibi. (Soma Zabbuli 97:10.) Naye Sitaani n’ensi ye bagezaako okutuleetera okulekera awo okwagala Katonda.

6. Biki ebivaamu omuntu bw’atayagala Katonda?

6 Abantu abasinga obungi leero balina endowooza enkyamu ku kwagala. Mu kifo ky’okwagala Katonda, abantu “beeyagala bokka.” (2 Tim. 3:2) Ensi eno efugibwa Sitaani ekulaakulanya “okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu.” (1 Yok. 2:16) Omutume Pawulo yalabula Abakristaayo ng’agamba nti: “Okulowooza eby’omubiri kivaamu okufa . . . kubanga okulowooza eby’omubiri kireetera omuntu okuba omulabe wa Katonda.” (Bar. 8:6, 7) Abo abamala obulamu bwabwe nga banoonya bya bugagga oba nga beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, beereetako obulumi bungi era bejjusa.1 Kol. 6:18; 1 Tim. 6:9, 10.

7. Bintu ki eby’obulabe Abakristaayo leero bye basaanidde okwekuuma?

7 Mu nsi ezimu, abantu abatakkiriza nti Katonda gy’ali, n’abo abagamba nti Katonda tatufaako, awamu n’abo abagamba nti ebintu byajjawo byokka, bafuba okuleetera abantu okulekera awo okwagala Katonda n’okumukkiririzaamu. Baleetedde bangi okulowooza nti abo abakkiririza mu Katonda baba tebalina magezi era tebategeera. Ate era leero abantu bangi bassa nnyo ekitiibwa mu bannassaayansi, ne kiba nti ebirowoozo byabwe babiggye ku Katonda ne babizza ku bannassaayansi abo. (Bar. 1:25) Bwe tuwuliriza endowooza z’abantu abo, kisobola okutuggya ku Yakuwa, era ne kiviirako okwagala kwaffe okuwola.Beb. 3:12.

8. (a) Ebimu ku bintu ebimalamu abaweereza ba Yakuwa amaanyi bye biruwa? (b) Ebigambo ebiri mu Zabbuli 136 bituzzaamu bitya amaanyi?

 8 Bwe twolekagana n’ebintu ebitumalamu amaanyi, kisobola okunafuya okukkiriza kwaffe ne kiviirako okwagala kwe tulina eri Katonda okuwola. Mu nsi eno efugibwa Sitaani, oluusi n’oluusi buli omu ku ffe ayolekagana n’embeera ezimalamu amaanyi. (1 Yok. 5:19) Oboolyawo oyinza okuba ng’oyolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’okukaddiwa, oba ng’otawaanyizibwa obulwadde, oba ng’onyigirizibwa embeera y’eby’enfuna. Oba oyinza okuba ng’owulira nti totuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwo, oba nga waliwo bye wali osuubira ne bitatuukirira, oba ng’olina obunafu obukumazeeko emirembe. Ebintu ng’ebyo tetusaanidde kubikkiriza kutuleetera kulowooza nti Yakuwa takyatwagala. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebitukakasa nti Yakuwa akyatwagala. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 136:23, wagamba nti: “Yatujjukira bwe twali nga tufeebezeddwa, kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.” Mu butuufu, okwagala Yakuwa kw’alina eri abaweereza be tekuggwaawo. Yakuwa awulira ‘okuwanjaga kwaffe’ era abaako ky’akolawo okutuyamba.Zab. 116:1; 136:24-26.

9. Kiki ekyayamba Pawulo okusigala ng’ayagala Yakuwa?

9 Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, okufumiitiriza ku buyambi Yakuwa bw’awa abantu be kyayamba Pawulo obutaggwaamu maanyi. Pawulo yawandiika nti: “Yakuwa ye muyambi wange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” (Beb. 13:6) Okuba nti Pawulo yali yeesiga nnyo Yakuwa, kyamuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu. Teyakkiriza bizibu kumumalamu maanyi. Mu butuufu, bwe yali mu kkomera, Pawulo yawandiika amabaluwa mangi okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi. (Bef. 4:1; Baf. 1:7; Fir. 1) Pawulo ne bwe yali ayolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo, teyakkiriza kwagala kwe yalina eri Katonda kuwola. Kiki ekyamuyamba? Yeeyongera okwesiga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Kol. 1:3, 4) Tuyinza tutya okukoppa Pawulo, okwagala kwe tulina eri Yakuwa kuleme kuwola?

Yagala Yakuwa (Laba akatundu 10)

10. Tuyinza tutya okukuuma okwagala kwe tulina eri Yakuwa nga kunywevu?

10 Pawulo yalaga ekimu ku bintu ebisobola okutuyamba okukuuma okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne kutawola. Yagamba nti: “Musabenga obutayosa.” Era yagamba nti: “Munyiikirenga okusaba.” (1 Bas. 5:17; Bar. 12:12) Okwogera ne Katonda okuyitira mu kusaba kye kimu ku bintu ebikulu ennyo ebituyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Zab. 86:3) Bwe twogera ne Yakuwa ne tumubuulira ebituli ku mutima, kituyamba okwongera okusemberera Kitaffe oyo ow’omu ggulu, “awulira okusaba.” (Zab. 65:2) Ate era bwe tulaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwaffe nakyo kituleetera okwongera okumwagala. Tweyongera okukiraba nti “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola.” (Zab. 145:18) Obwesige obwo bwe tufuna mu Yakuwa butuyamba okwaŋŋanga embeera endala ezigezesa okukkiriza kwaffe.

OKWAGALA AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI

11, 12. Kiki ekiyinza okutuyamba okwagala ennyo amazima agali mu Bayibuli?

11 Abakristaayo twagala nnyo amazima era tugatwala nga ga muwendo. Ekigambo kya Katonda ye nsibuko y’amazima. Yesu bwe yali asaba Kitaawe yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yok. 17:17) N’olwekyo, bwe tuba ab’okwagala amazima tulina okusooka okufuna okumanya okutuufu okukwata ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. (Bak. 1:10) Naye tetulina kukoma ku kumanya bumanya ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Omuwandiisi wa Zabbuli 119 atuyamba okumanya kye kitegeeza okwagala amazima agali mu Bayibuli. (Soma Zabbuli  119:97-100.) Bulijjo tuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku Byawandiikibwa? Bwe tufumiitiriza ku ngeri gye tuganyulwa mu kukolera ku mazima agali mu Bayibuli kituleetera okwongera okugaagala.

12 Omuwandiisi wa zabbuli era yagamba nti: “Akamwa kange nga kawoomerwa nnyo ebigambo byo, n’okusinga bwe kawoomerwa omubisi gw’enjuki!” (Zab. 119:103) Naffe tusobola okuwoomerwa emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa okuyitira mu kibiina kye. Bwe tuwoomerwa emmere eyo ey’eby’omwoyo kisobola okutuyamba okujjukira “ebigambo [eby’amazima] ebisanyusa” era ne tubikozesa okuyamba abalala.Mub. 12:10.

13. Kiki ekyayamba Yeremiya okwagala ennyo amazima agali mu Byawandiikibwa, era ekyo kyamukwatako kitya?

13 Nnabbi Yeremiya yali ayagala nnyo amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Ekigambo kya Katonda kyamukwatako kitya? Yagamba nti: “Ebigambo byo nnabifuna ne mbirya; era ekigambo kyo kyafuuka gye ndi okusanyuka n’okujaguza mu mutima gwange, kubanga mpitiddwa erinnya lyo, Ai Yakuwa Katonda ow’eggye.” (Yer. 15:16) Yeremiya yasoma era n’afumiitiriza ku Kigambo kya Katonda. Ekyo kyamuleetera okukiraba nti yali nkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Katonda. Naffe okwagala kwe tulina eri amazima agali mu Bayibuli kutuyambye okukiraba nti tulina enkizo ya maanyi okuyitibwa erinnya lya Katonda n’okulangirira Obwakabaka bwe mu nnaku zino ez’enkomerero?

Yagala amazima agali mu Bayibuli (Laba akatundu 14)

14. Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okwagala amazima agali mu Bayibuli?

14 Ng’oggyeeko okusoma Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, kiki ekirala ekisobola okutuyamba okwongera okwagala amazima agali mu Bayibuli? Okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa kisobola okutuyamba okwongera okwagala amazima. Leero okusingira ddala Yakuwa atuyigiriza amazima agali mu Bayibuli okuyitira mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi gye tusoma buli wiiki. Okusobola okutegeera obulungi ensonga eba eyogerwako mu Omunaala gw’Omukuumi, tulina okutegeka obulungi. Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu kwe kwekenneenya ebyawandiikibwa byonna ebiba biteereddwamu. Leero, Omunaala gw’Omukuumi omuntu asobola okuguwanula ku mukutu gwaffe ogwa jw.org oba okugusomera ku JW Library  mu nnimi nnyingi. Omunaala bwe tuba tugusomera ku kompyuta oba ku ssimu kiba kyangu nnyo okukebera ebyawandiikibwa. Ka tube nga tukozesa kompyuta oba butabo, kikulu nnyo okusoma n’okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebyo, kubanga ekyo kijja kutuyamba okwongera okwagala amazima agali mu Kigambo kya Katonda.Soma Zabbuli 1:2.

OKWAGALA BAKKIRIZA BANNAFFE

15, 16. (a) Okusinziira ku Yokaana 13:34, 35, kiki kye tulina okukola? (b) Kakwate akaliwo wakati w’okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe n’okwagala kwe tulina eri Katonda n’Ekigambo kye?

15 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.”Yok. 13:34, 35.

16 Waliwo akakwate wakati w’okwagala bakkiriza bannaffe n’okwagala Yakuwa. Tetusobola kugamba nti twagala Yakuwa kyokka nga tetwagala bakkiriza bannaffe. Omutume Yokaana yagamba nti: “Oyo atayagala muganda we gw’alabako tayinza kwagala Katonda gw’atalabangako.” (1 Yok. 4:20) Ate era waliwo akakwate wakati w’okwagala Yakuwa ne bakkiriza bannaffe n’okwagala kwe tulina eri Ekigambo kya Katonda, Bayibuli. Lwaki tugamba tutyo? Kubanga okwagala kwe tulina eri amazima agali mu Bayibuli kutukubiriza okugondera etteeka eriri mu Bayibuli eritulagira okwagala Katonda ne bakkiriza bannaffe.1 Peet. 1:22; 1 Yok. 4:21.

Yagala bakkiriza banno (Laba akatundu 17)

17. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti twagala bakkiriza bannaffe bye biruwa?

17 Soma 1 Abassessalonika 4:9, 10. Ebimu ku bintu bye tuyinza okukola okulaga nti twagala bakkiriza bannaffe bye biruwa? Ow’oluganda oba mwannyinaffe akaddiye ayinza okuba nga yeetaaga okumutwalako mu nkuŋŋaana. Nnamwandu ayinza okuba nga yeetaaga okumuyambako mu kuddaabiriza ennyumba ye. (Yak. 1:27) Tusaanidde okuzzaamu amaanyi n’okubudaabuda bakkiriza bannaffe abennyamivu oba abaweddemu amaanyi oba aboolekagana n’ebizibu ebirala, ka babe bato oba bakulu. (Nge. 12:25; Bak. 4:11) Tukiraga nti twagala bakkiriza bannaffe nga tukyoleka mu bigambo ne mu bikolwa nti tubafaako.Bag. 6:10.

18. Kiki ekinaatuyamba okugonjoola obutakkaanya bwe tufuna ne bakkiriza bannaffe?

18 Obunnabbi bw’omu Bayibuli bulaga nti mu “nnaku ez’enkomerero” abantu abasinga obungi bandibadde beefaako bokka era nga ba mululu. (2 Tim. 3:1, 2) N’olwekyo, ffenna Abakristaayo tulina okufuba ennyo okweyongera okwagala Katonda, amazima agali mu Bayibuli, ne bakkiriza bannaffe. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu tuyinza okufuna obutakkaanya ne bakkiriza bannaffe. Naye kiba kirungi singa bulijjo tufuba okugonjoola obutakkaanya mu ngeri ey’okwagala! (Bef. 4:32; Bak. 3:14) Ffenna ka tukole kyonna ekisoboka obutakkiriza kwagala kwaffe kuwola! Mu kifo ky’ekyo, ka tweyongera okwagala ennyo Yakuwa, Ekigambo kye, ne bakkiriza bannaffe.