“Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala.”ZAB. 40:8.

ENNYIMBA: 51, 58

1, 2. (a) Lwaki okubatizibwa kintu kikulu nnyo? (b) Kiki omuntu ky’alina okusooka okukakasa nga tannabatizibwa?

OLI mwana era ng’olowooza ku ky’okubatizibwa? Bwe kiba kityo, oluubirira ekintu eky’omuwendo ennyo. Naye nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, okubatizibwa kintu kikulu nnyo. Kabonero akalaga nti weewaayo eri Yakuwa, kwe kugamba, nti wasuubiza Yakuwa okumuweereza emirembe gyonna ng’okulembeza by’ayagala mu bulamu bwo. N’olwekyo kikulu okubatizibwa nga ddala otuuse okusalawo okuweereza Yakuwa, ng’oyagala okumuweereza, era ng’otegeera kye kitegeeza okwewaayo eri Yakuwa.

2 Watya singa teweekakasa nti otuuse okubatizibwa? Oba watya singa oyagala okubatizibwa naye ate nga bazadde bo bagamba nti ogira olindako, oboolyawo osooke okweyongera okutegeera ebizingirwa mu kuba Omukristaayo? Singa weesanga mu mbeera ng’ezo, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, kozesa akakisa ako okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo, kikuyambe okweteekerateekera  okubatizibwa. Lowooza ku ebyo by’oyinza okukola bwe kituuka (1) ku bintu by’okkiriza, (2) ku bikolwa byo, ne (3) ku kusiima ebintu Yakuwa by’akukoledde.

EBINTU BY’OKKIRIZA

3, 4. Kiki abaana kye bayinza okuyigira ku Timoseewo?

3 Wandizzeemu otya ebibuuzo bino: Kiki ekinkakasa nti Katonda gy’ali? Kiki ekinkakasa nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda? Lwaki nzikiriza nti okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gya Yakuwa kya muganyulo okusinga okubutambuliza ku mitindo gy’ensi? Ekigendererwa ky’ebibuuzo ebyo si kya kukuleetera kubuusabusa, wabula bisobola okukuyamba okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Naye lwaki Abakristaayo ab’omu Rooma baali beetaaga bo bennyini okukakasa ebintu bye baali bakkiriza edda?

4 Lowooza ku Timoseewo. Yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa kubanga “okuva mu buwere” maama we ne jjajjaawe baali bafubye okumuyigiriza Ebyawandiikibwa ebitukuvu. Wadde kyali kityo, Pawulo yakubiriza Timoseewo nti: “Weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu.” (2 Tim. 3:14, 15) Ekitabo ekimu kigamba nti ekigambo eky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga “bye wakkiriza” kirina amakulu “ag’okuba omukakafu ddala nti ekyo ky’okkiririzaamu kituufu.” Timoseewo yali afudde amazima agage. Teyakkiriza mazima olw’okuba maama we ne jjajjaawe baali bamugambye okugakkiriza, wabula yagakkiriza olw’okuba ye kennyini yali akakasizza nti ge mazima.Soma Abaruumi 12:1.

5, 6. Lwaki kikulu okuyiga okukozesa ‘obusobozi bwo obw’okulowooza’ ng’okyali muto?

5 Ate ggwe? Oyinza okuba ng’okuva mu buto obadde owulira amazima agali mu Bayibuli era ng’ogamanyi. Bwe kiba kityo, lwaki tofuba okufumiitiriza ku nsonga lwaki okkiririza mu bintu ebiri mu Bayibuli? Ekyo kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu, era kijja kukuyamba obutamala gatwalirizibwa enneeyisa embi eya bayizi banno, ppokopoko w’ensi, oba endowooza zo.

6 Bw’oyiga okukozesa ‘obusobozi bwo obw’okulowooza’ ng’okyali muto, ojja kusobola okuddamu banno abakubuuza ebibuuzo nga bino: ‘Okakasiza ku ki nti Katonda gy’ali? Bwe kiba nti Katonda atwagala, lwaki taggyawo bintu bibi? Kisoboka kitya okuba nti Katonda taliiko ntandikwa?’ Bw’oba weeteeseteese bulungi, ebibuuzo ng’ebyo tebijja kunafuya kukkiriza kwo, wabula bijja kukukubiriza okwongera okwesomesa.

7-9. Ekitundu “What Does the Bible Really Teach?” ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti kiyinza kitya okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo?

7 Bw’onyiikira okwesomesa kijja kukuyamba okuddamu ebibuuzo bye bakubuuza, ojja kuggwamu okubuusabuusa kwonna kw’oyinza okuba nakwo, era ojja kuba mukakafu nti ebyo by’okkiriza bituufu. (Bik. 17:11) Waliwo ebintu bingi bye tulina mu kibiina kya Yakuwa ebisobola okukuyamba mu kwesomesa. Bangi baganyuddwa nnyo mu kwekenneenya akatabo The Origin of Life—Five Questions Worth Asking n’akatabo Is There a Creator Who Cares About You? Ate era abavubuka bangi baganyuddwa nnyo mu kusoma ebyo ebiri mu kitundu ekigamba nti “What Does the Bible Really Teach?” ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Ekitundu ekyo kisangibwa wansi w’omutwe BIBLE TEACHINGS. Ebyo byonna ebiri wansi w’ekitundu ekyo bitegekeddwa okukuyamba okwongera okukkiririza mu ebyo ebiri mu Bayibuli.

8 Okuva bwe kiri nti omanyi bingi ebiri mu Bayibuli, ebimu ku bibuuzo ebiri wansi w’ekitundu ekyo biyinza okukwanguyira okuddamu. Naye kiki ekikukakasa nti ebyo by’oddamu ddala bituufu? Ebibuuzo ebiri wansi w’ekitundu ekyo  bikuyamba okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebitali bimu era waliwo w’owandiika ekyo ky’olowooza ku byawandiikibwa ebyo. Bisobola okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okuddamu abo abakubuuza ku ebyo by’okkiririzaamu. Ekitundu ekyo “What Does the Bible Really Teach?” ekiri ku Intaneeti kiyambye abaana bangi okweyongera okuba abakakafu nti ebyo bye bakkiririzaamu bituufu. Bwe kiba nti osobola okufuna ebyo ebiri mu kitundu ekyo, lwaki tobiteeka mu programu yo ey’okwesomesa?

9 Bwe weeyongera okukakasa nti ebyo by’okkiriza bituufu, kikuyamba okweteekerateekera obulungi okubatizibwa. Mwannyinaffe omu omutiini yagamba nti: “Bwe nnali sinnasalawo kubatizibwa, nnasooka kwekenneenya Bayibuli ne nkakasa nti eno ye ddiini ey’amazima. Era buli lukya nneeyongera okuba omukakafu nti eno ye ddiini ey’amazima.”

EBIKOLWA BYO

10. Lwaki kisuubirwa nti engeri omuntu omubatize gye yeeyisaamu erina okwoleka nti alina okukkiriza?

10 Bayibuli egamba nti: “Okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.” (Yak. 2:17) N’olwekyo, bw’oba n’okukkiriza okw’amaanyi ekyo kijja kweyolekera mu bikolwa byo. Bikolwa ki? Bayibuli eyogera ku ‘mpisa entukuvu n’ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.’Soma 2 Peetero 3:11.

11. Ebigambo “empisa entukuvu” birina makulu ki?

11 Okusobola okwoleka “empisa entukuvu,” olina okuba nga weeyisa bulungi. Ddala weeyisa bulungi? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gy’obadde weeyisaamu mu myezi omukaaga egiyise. Okyolese otya nti ‘obusobozi bwo obw’okutegeera’ butendekeddwa okwawulawo ekituufu n’ekikyamu? (Beb. 5:14) Olinayo embeera gy’ojjukira mwe waziyiza ekikemo oba bwe wagaana okwekkiriranya ng’opikirizibwa banno okukola ekikyamu? Ku ssomero omanyiddwa ng’omwana eyeeyisa obulungi? Onywerera ku ekyo ky’omanyi nti kituufu mu kifo ky’okukoppa enneeyisa ya bayizi banno baleme okukusekerera? (1 Peet. 4:3, 4) Kyo kituufu nti ffenna tetutuukiridde. N’abaweereza ba Yakuwa abamu abamaze ebbanga eddene nga bamuweereza oluusi batya okulwanirira enzikiriza yaabwe mu lujjudde. Naye omuntu eyeewaayo eri Yakuwa aba yeenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda era ekyo akyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu.

12. Ebimu ku ‘bikolwa eby’okwemalira ku Katonda’ bye biruwa, era ebikolwa ebyo twandibitutte tutya?

12 Ate byo “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda” bizingiramu ki? Bizingiramu ebintu gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Era bizingiramu n’ebintu ebimu abalala bye batalaba, gamba ng’essaala z’osaba awamu n’okwesomesa. Omuntu eyeewaayo eri Yakuwa ebintu ebyo tabikola kutuusa butuusa luwalo. Mu kifo ky’ekyo, aba n’endowooza ng’eya Kabaka Dawudi eyagamba nti: “Ai Katonda wange, nsanyukira okukola by’oyagala, era amateeka go gali munda mu nze.”Zab. 40:8.

13, 14. Kintu ki ekisobola okukuyamba okukola “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda,” era abaana abamu baganyuddwa batya mu kintu ekyo?

13 Okusobola okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa, laba ekipande ekiri lupapula 308 okutuuka ku lupapula 309 mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2. Ekipande ekyo kiriko ebibuuzo nga, “Bw’oba osaba Yakuwa, omutegeereza ddala ekyo ekikuli ku mutima? Essaala zo ziraga nti oyagala nnyo Yakuwa?” “Bintu ki by’osomako nga weesomesa?” “Ogenda okubuulira bazadde bo ne bwe baba nga tebagenda?” Ekipande ekyo kirina n’amabanga w’osobola okuwandiika ebiruubirirwa by’olina ebikwata ku kusaba, okwesomesa, n’okubuulira.

14 Waliwo abaana bangi abalowooza ku ky’okubatizibwa abaganyuddwa mu kipande ekyo.  Mwannyinaffe omuto ayitibwa Tilda yagamba nti: “Ekipande ekyo kyannyamba okweteerawo ebiruubirirwa. Mpolampola nnagenda ntuuka ku biruubirirwa ebyo era mu mwaka gumu nnali mwetegefu okubatizibwa.” Ow’oluganda omuto ayitibwa Patrick naye yaganyulwa mu kipande ekyo. Yagamba nti: “Nnali nneeteerawo dda ebiruubirirwa naye bwe nnabiwandiika kyannyamba okuba omumalirivu okubituukako.”

Oneeyongera okuweereza Yakuwa ne bwe kiba nti bazadde bo tebamuweereza? (Laba akatundu 15)

15. Lwaki olina okwesalirawo ku lulwo okwewaayo eri Yakuwa?

15 Ekimu ku bibuuzo ebikulu ennyo ebiri ku kipande ekyo kye kino: “Oneeyongera okuweereza Yakuwa ne bwe kiba nti bazadde bo oba mikwano gyo balekedde awo okumuweereza?” Kijjukire nti bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, ojja kuba ovunaanyizibwa kinnoomu mu maaso ge. Olina okuweereza Yakuwa ku lulwo nga tosinziira ku muntu yenna, k’abe muzadde wo. Bw’oba n’empisa entukuvu era ng’okola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda kiba kiraga nti amazima ogafudde gago era nti oyolekedde okubatizibwa.

OKUSIIMA EBYO YAKUWA BY’AKUKOLEDDE

16, 17. (a) Kiki ekyandikubirizza omuntu okufuuka omugoberezi wa Kristo? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki kikulu okusiima Yakuwa olw’ekirabo ky’ekinunulo.

16 Lumu omusajja eyali amanyi obulungi amateeka yabuuza Yesu nti: “Tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” Yesu yamuddamu nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Mat. 22:35-37) Mu bigambo ebyo Yesu yakiraga nti ebintu byonna omuntu by’akola mu kuweereza Yakuwa, okwagala kw’alina eri Yakuwa kwe kwandibadde kumukubiriza okubikola, era ng’okubatizibwa kye kimu ku bintu ebyo. Ekimu ku bintu ebinaakuyamba okukulaakulanya okwagala kw’olina eri Yakuwa kwe kufumiitiriza ku kirabo eky’ekinunulo Yakuwa kye yawa abantu. (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15; 1 Yokaana 4:9, 19.) Bw’ofumiitiriza ku kirabo ekyo eky’ekinunulo n’emiganyulo gye tufuna olw’ekirabo ekyo kijja kukuleetera okubaako ky’okolawo.

17 Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti obadde obbira mu nnyanja omuntu n’ajja n’akutaasa. Bwe wandituuse ku lukalu wandibadde weesiimuulako bwesiimuzi mazzi n’otambula n’ogenda ne weerabira omuntu oyo akutaasizza? Kya lwatu nedda. Wandibadde osiima nnyo omuntu oyo akuyambye, kubanga aba akuwonyezza okufa. Kyokka ekyo Yakuwa ne Yesu kye baatukolera kisingira wala ekyo omuntu oyo ky’aba akukoledde. Singa Yakuwa teyawaayo kinunulo ky’Omwana we ku lwaffe, ffenna twandibadde mu buddu bw’ekibi n’okufa.  Naye olw’ekinunulo ekyo, tulina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna!

18, 19. (a) Lwaki tewanditidde kwewaayo eri Yakuwa? (b) Okuweereza Yakuwa kikusobozesa kitya okuba n’obulamu obw’amakulu?

18 Osiima ekyo Yakuwa kye yakukolera? Bwe kiba kityo, kiba kirungi ne weewaayo gy’ali era n’obatizibwa. Kijjukire nti okwewaayo eri Yakuwa kitegeeza okweyama okumuweereza emirembe gyonna ka kibe ki ekibaawo. Wanditidde okwewaayo eri Yakuwa? Nedda! Kijjukire nti Yakuwa akwagaliza birungi byokka era ‘awa empeera abo abafuba okumunoonya.’ (Beb. 11:6) Bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa ekyo tekikumalaako ssanyu, wabula kikusobozesa okuba n’obulamu obw’amakulu. Ow’oluganda omu alina emyaka 24 eyabatizibwa ng’akyali mutiini agamba nti: “Singa nnabatizibwa nga ndi mukuluko oboolyawo bye nnandibadde mmanyi byandibadde bingiko, naye okusalawo okwewaayo eri Yakuwa mu kiseera ekyo, kyankuuma ne sitwalirizibwa nsi.”

19 Nga Yakuwa wa njawulo nnyo ku Sitaani atalina kalungi konna k’akwagaliza! Sitaani talina birungi bya lubeera by’awa abo abamugoberera. Mu butuufu tasobola kubibawa kubanga naye kennyini talina kirungi kyonna ky’asuubira mu biseera bya mu maaso wabula akabi akamworekedde. Tasobola kukuwa kintu ky’atalina. Tasobola kukusuubiza biseera bya mu maaso birungi kubanga naye kennyini tabirina!Kub. 20:10.

20. Kiki omwana ky’asobola okukola okukulaakulana n’atuuka okwewaayo n’okubatizibwa? (Laba n’akasanduuko “ Ebinaakuyamba Okukula mu by’Omwoyo.”)

20 Bwe weewaayo eri Yakuwa oba okoze ekintu ekisingayo obulungi. Oli mwetegefu okwewaayo eri Yakuwa? Bwe kiba kityo, tolonzalonza. Kyokka bw’owulira nti tonnatuusa, kolera ku magezi agaweereddwa mu kitundu kino osobole okweyongera okukulaakulana. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Firipi nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.” (Baf. 3:16) Bw’onookolera ku kubuulirira okwo, mu kiseera kitono ojja kuwulira ng’oyagala okwewaayo eri Yakuwa era obatizibwe.