Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Janwali 2017

Ebintu Bino “Bitegeeze Abasajja Abeesigwa”

Ebintu Bino “Bitegeeze Abasajja Abeesigwa”

“[Ebintu bino] bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.”2 TIM. 2:2.

ENNYIMBA: 123, 53

1, 2. Ndowooza ki bangi gye balina ku mirimu gye bakola?

ABANTU abasinga obungi beetwala okuba ab’omuwendo oba abatali ba muwendo okusinziira ku mirimu gye bakola. Mu mawanga agamu, ekimu ku bibuuzo omuntu by’asooka okukubuuza ng’akusanze kiri nti, “Okola mulimu ki?”

2 Oluusi Bayibuli eyogera ku bantu n’eraga n’emirimu gye baakolanga. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti ‘Matayo yali musolooza wa musolo’; ‘Simooni yali muwazi w’amaliba’; era nti ‘Lukka yali musawo omwagalwa.’ (Mat. 10:3; Bik. 10:6; Bak. 4:14) Ate era oluusi Bayibuli eyogera ku bantu n’eraga n’emirimu Katonda gye yabawa. Ng’ekyokulabirako, eraga nti Dawudi yali kabaka, Eriya yali nnabbi, era nti Pawulo yali mutume. Abasajja abo baali batwala emirimu Katonda gye yabawa nga mikulu nnyo. Naffe bwe tuba n’obuvunaanyizibwa mu kibiina tusaanidde okubutwala nga bukulu nnyo.

3. Lwaki kikulu ab’oluganda abakuze mu myaka okutendeka abato? (Laba ekifaananyi waggulu.)

3 Bangi ku ffe tunyumirwa emirimu gye tukola mu kibiina kya Yakuwa era twandyagadde okweyongera okugikola. Naye eky’ennaku, okuva Adamu bwe yayonoona, abantu bazzenga bakaddiwa, ne kiba nti omulembe ogumu guvaawo ate omulala ne guddawo. (Mub. 1:4) Leero, kino kireeseewo okusoomooza kwa maanyi mu  kibiina kya Yakuwa. Omulimu gw’okubuulira abantu ba Yakuwa gwe bakola gweyongedde obunene, era ekibiina kya Yakuwa kikozesa tekinologiya ali ku mulembe okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Kyokka oluusi bakkiriza bannaffe abakaddiye kibazibuwalira okutuukana n’enkyukakyuka ng’ezo eziba zizzeewo. (Luk. 5:39) Okugatta ku ekyo, ab’oluganda abato baba n’amaanyi mangi okusinga ku b’oluganda abakuze mu myaka. (Nge. 20:29) N’olwekyo, kiba kya magezi ab’oluganda abakuze mu myaka okutendeka abo abakyali abato okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina.Soma Zabbuli 71:18.

4. Lwaki abamu kibazibuwalira okukwasa abalala obuvunaanyizibwa? (Laba akasanduuko “Lwaki Abamu Tebakwasa Balala Buvunaanyizibwa.”)

4 Abamu ku b’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina bayinza okukisanga nga kizibu okukwasa abo abakyali abato obuvunaanyizibwa. Abamu ku bo kibanakuwaza bwe balowooza ku ky’okulekera awo okukola omulimu ogumu ogw’enjawulo gwe babadde banyumirwa okukola. Abalala batya nti ab’oluganda abato tebasobola kukola bintu bulungi nga bo bwe babikola. Ate abalala bagamba nti tebalina budde kutendeka balala. Kyokka ab’oluganda abato basaanidde okwewala obutaba bagumiikiriza singa bawulira nti baluddewo okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina.

5. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

5 Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebibiri: Ekisooka, ‘Ab’oluganda abakulu bayinza batya okuyamba abato okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina, era ekyo lwaki kikulu?’ (2 Tim. 2:2) Eky’okubiri, ‘Lwaki kikulu abato okuba n’endowooza ennuŋŋamu nga bakolera wamu n’ab’oluganda abakaddiye, era lwaki basaanidde okubayigirako? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tusooke tulabe engeri Kabaka Dawudi gye yayambamu mutabani we okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi.

DAWUDI YATEEKATEEKA SULEMAANI ERA N’AMUWAGIRA

6. Kiki Kabaka Dawudi kye yali ayagala okukola, naye kiki Yakuwa kye yamugamba?

6 Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi ng’abundabunda, Dawudi yafuuka kabaka  n’atandika okubeera mu nnyumba erabika obulungi ennyo. Kyokka, kyamunakuwaza nnyo okulaba nti tewaali “nnyumba,” oba yeekaalu, yali ezimbiddwa era n’eweebwayo eri Yakuwa. Bwe kityo yagamba nnabbi Nasani nti: “Laba, nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolokyo naye essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa eri mu weema.” Nasani yamuddamu nti: “Kola kyonna ekiri mu mutima gwo, kubanga Katonda ow’amazima ali naawe.” Naye ekyo Yakuwa si kye yali ayagala. Yagamba Nasani agambe Dawudi nti: “Si ggwe ojja okunzimbira ennyumba ey’okubeeramu.” Wadde nga Yakuwa yalaga nti yandyeyongedde okuwa Dawudi emikisa, Yakuwa yagamba nti Sulemaani, mutabani wa Dawudi, ye yali agenda okumuzimbira yeekaalu. Kiki Dawudi kye yakola?1 Byom. 17:1-4, 8, 11, 12; 29:1.

7. Dawudi yakola ki nga Yakuwa amugaanye okuzimba yeekaalu?

7 Dawudi yali ayagala nnyo okuzimbira Yakuwa ennyumba, era okuba nti yali tagenda kugizimba kiteekwa okuba nga kyamunakuwaza nnyo. Wadde kyali kityo, yawagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu mutabani we Sulemaani gwe yali agenda okukola. Dawudi yateekateeka abakozi, era n’akuŋŋaanya zzaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, n’emiti ebyali bigenda okukozesebwa. Dawudi teyadda awo kulowooza ku ani eyandiweereddwa ekitiibwa olw’okuzimba yeekaalu. Mu butuufu yeekaalu eyo yayitibwa yeekaalu ya Sulemaani, so si yeekaalu ya Dawudi. Wadde kyali kityo, Dawudi yagamba Sulemaani nti: “Kaakano mwana wange, Yakuwa k’abeere naawe era buli kimu kikugendere bulungi ozimbe ennyumba ya Yakuwa Katonda wo nga bwe yakwogerako.”1 Byom. 22:11, 14-16.

8. Lwaki Dawudi yali asobola okulowooza nti Sulemaani yali tagwana kuzimba yeekaalu, naye kiki kye yakola?

8 Soma 1 Ebyomumirembe 22:5. Dawudi yali asobola okulowooza nti Sulemaani yali tagwana kukola mulimu ogwo ogwali omukulu ennyo. Yeekaalu eyali egenda okuzimbibwa yali egenda kuba “matiribona,” kyokka ng’ate mu kiseera ekyo Sulemaani yali ‘akyali muto era nga talina bumanyirivu.’ Naye, Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yandiyambye Sulemaani okukola omulimu gwe yali amukwasizza. Bwe kityo, essira Dawudi yalissa ku kubaako ky’akolawo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu. Dawudi yakuŋŋaanya mu bungi ebintu ebyali bigenda okukozesebwa mu kuzimba.

FUNA ESSANYU ERIVA MU KUTENDEKA ABALALA

Kisanyusa okulaba ab’oluganda abato nga beetisse obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina (Laba akatundu 9)

9. Kiki ekiyinza okuyamba ab’oluganda abakaddiye okuba abeetegefu okukwasa ab’oluganda abato obuvunaanyizibwa? Waayo ekyokulabirako.

9 Ab’oluganda abakaddiye tebasaanidde kuggwaamu maanyi ng’ekiseera kituuse okukwasa ab’oluganda abato obuvunaanyizibwa bwe babadde balina. Mu butuufu, abato bwe batendekebwa, kiyamba omulimu Yakuwa gw’atukwasizza okutambula obulungi. Abakadde mu kibiina kyandibasanyusizza nnyo okulaba ng’ab’oluganda be baatendeka bakola emirimu gye baakolanga. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku taata ayigiriza mutabani we okuvuga emmotoka. Mutabani we bw’aba akyali muto, atunuulira butunuulizi engeri kitaawe  gy’avugamu emmotoka. Omulenzi oyo bw’agenda akula, taata we amunnyonnyola ekyo ky’akola. Omulenzi oyo bw’aweza emyaka nga 18, taata we atandika okumuyigiriza okuvuga emmotoka. Bw’ayiga okuvuga emmotoka, ebiseera ebimu taata we amuleka n’amuvuga. Taata we bw’agenda akaddiwa, emirundi egisinga aleka mutabani we okumuvuga, si na kindi okumulekera ddala n’amuvuga. Taata omulungi, asanyuka nnyo okulaba nga mutabani we amuvuga. Mu ngeri y’emu, ab’oluganda abakaddiye kibasanyusa nnyo okulaba ng’abato be baatendeka bakola emirimu gye baakolanga.

10. Musa yali atwala atya ebitiibwa n’obuyinza?

10 Ab’oluganda abakaddiye basaanidde okwewala okukwatirwa abalala obuggya. Lowooza ku ngeri Musa gye yeeyisaamu abalala mu lusiisira lwa Isirayiri bwe baatandika okweyisa nga bannabbi. (Soma Okubala 11:24-29.) Yoswa yali ayagala okubakomako. Naye Musa yamugamba nti: “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Tokwatibwa buggya ku lwange; nnandyagadde abantu ba Yakuwa bonna babeere bannabbi era Yakuwa abawe omwoyo gwe!” Musa yali akimanyi nti omulimu gwe baali bakola gwali gwa Yakuwa. Mu kifo ky’okwenoonyeza obukulu n’ebitiibwa, Musa yali ayagala abaweereza ba Yakuwa bonna baweebwe obuvunaanyizibwa mu kibiina. Okufaananako Musa, naffe tusanyuka abalala bwe baweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina?

11. Ow’oluganda omu yayogera ki ku ky’okukwasa abalala obuvunaanyizibwa?

11 Leero, waliwo ab’oluganda bangi abaweerezza Yakuwa n’obunyiikivu okumala emyaka mingi era ne batendeka n’abalala okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Ow’oluganda Peter yamala emyaka 74 mu buweereza obw’ekiseera kyonna, nga 35 ku ggyo yagimala ng’aweereza ku ofiisi y’ettabi mu nsi emu ey’omu Bulaaya. Okumala emyaka mingi, ye yali omulabirizi w’Ekitongole eky’Obuweereza ku Beseri eyo. Naye kati obuvunaanyizibwa obwo bwaweebwa ow’oluganda omuto mu myaka ayitibwa Paul, Peter gwe yatendeka. Ow’oluganda Peter bwe yabuuzibwa engeri gye yali awuliramu ng’obuvunaanyizibwa bwe yalina bukwasiddwa omuntu omulala, yagamba nti, “Ndi musanyufu nnyo okuba nti waliwo ab’oluganda abatendekeddwa okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina.”

AB’OLUGANDA ABAKADDIYE MUBATWALE NGA BA MUWENDO

12. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Lekobowaamu?

12 Sulemaani bwe yamala okufa, mutabani we Lekobowaamu yafuuka kabaka. Lekobowaamu bwe yali anoonya amagezi ku ngeri y’okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwe, yasooka ne yeebuuza ku basajja abakadde. Naye Lekobowaamu teyakolera ku magezi ge baamuwa! Mu kifo ky’ekyo, yakolera ku magezi bavubuka banne be yakula nabo ge baamuwa. Ebyavaamu tebyali birungi n’akamu. (2 Byom. 10:6-11, 19) Ekyo kituyigiriza ki? Kikulu ab’oluganda abato okwebuuza ku b’oluganda abakuze mu myaka era abalina obumanyirivu. Wadde ng’ab’oluganda abato tebasaanidde kupikirizibwa kukola bintu nga bwe byakolebwanga edda, tebasaanidde kwanguyiriza kusambajja magezi ab’oluganda abakaddiye ge babawa.

13. Ab’oluganda abato bayinza batya okukolera awamu n’ab’oluganda abakaddiye?

13 Ebiseera ebimu ab’oluganda abato baweebwa obuvunaanyizibwa okulabirira emirimu egikolebwa ab’oluganda abatali bamu nga mw’otwalidde n’abakuze mu myaka. Kiba kirungi ab’oluganda abato okuyigira ku b’oluganda abakaddiye. Paul, ayogeddwako waggulu, eyadda mu kifo kya Peter n’afuuka omulabirizi w’Ekitongole ky’Obuweereza, yagamba nti, “Nneebuuzanga ku Peter, era nnakubiriza n’abalala mu kitongole ekyo okumwebuuzangako.”

14. Kiki kye tuyigira ku ngeri Pawulo ne Timoseewo gye baakolera awamu?

 14 Timoseewo eyali omuto ku mutume Pawulo yakolera wamu n’omutume Pawulo okumala emyaka mingi. (Soma Abafiripi 2:20-22.) Pawulo yawandiikira Abakkolinso n’abagamba nti: “Mbatumira Timoseewo omwana wange omwagalwa era omwesigwa mu Mukama waffe. Ajja kubajjukiza engeri gye nkolamu ebintu nga mpeereza Kristo Yesu, nga bwe njigiriza buli wamu mu buli kibiina.” (1 Kol. 4:17) Ebigambo ebyo biraga nti Pawulo ne Timoseewo baakoleranga wamu. Pawulo yayigiriza Timoseewo ‘engeri gye yakolangamu ebintu ng’aweereza Kristo.’ Timoseewo yayiga bulungi engeri Pawulo gye yakolangamu ebintu era Pawulo yamwagala nnyo. Pawulo yali mukakafu nti Timoseewo yandisobodde okulabirira obulungi ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolinso. Abakadde mu kibiina basaanidde okukoppa Pawulo nga batendeka abalala okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina.

BULI OMU KU FFE ALINA OBUVUNAANYIZIBWA BW’ALINA OKUTUUKIRIZA

15. Ebyo Pawulo bye yagamba Abakristaayo mu Rooma bituyamba bitya nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwaffe?

15 Ebiseera bye tulimu bikulu nnyo. Leero, wabaddewo enkyukakyuka ezitali zimu mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa, era wajja kweyongera okubaawo enkyukakyuka. Singa enkyukakyuka ezo ziba zizzeewo, tusaanidde okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala so si ebyo ffe bye twagala. Ekyo kijja kutuyamba okuba obumu. Pawulo yawandiikira Abakristaayo mu Rooma n’abagamba nti: “Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde. Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi ku mubiri ogumu, naye nga tebikola mulimu gwe gumu, era naffe wadde tuli bangi, tuli omubiri gumu mu Kristo.”Bar. 12:3-5.

16. Kiki ab’oluganda abakulu n’abato awamu ne bakyala baabwe kye basaanidde okukola okusobola okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina kya Yakuwa?

16 Abantu ba Yakuwa ffenna, tusaanidde okuwagira mu bujjuvu Obwakabaka bwa Yakuwa. Ab’oluganda abakuze mu myaka basaanidde okutendeka abato okukola emirimu gye bakola. Ab’oluganda abato basaanidde okukkiriza obuvunaanyizibwa obuba bubakwasiddwa, okuba abeetoowaze, n’okussa ekitiibwa mu abo abakuze mu myaka. Ate n’abakyala basaanidde okukoppa Pulisikira mukyala wa Akula, eyakolera awamu n’omwami we mu mbeera ezitali zimu.Bik. 18:2.

17. Bwesige ki Yesu bwe yalina mu bayigirizwa be, era yabatendeka kukola ki?

17 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kutendeka abalala okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Yesu yali akimanyi nti ekiseera kyandituuse n’addayo mu ggulu, era nti kyandyetaagisizza abalala okweyongera okukola omulimu gwe yali akola. Wadde ng’abayigirizwa be baali tebatuukiridde, Yesu yabeesiga era n’agamba nti bandikoze emirimu egisinga ku egyo gye yakola. (Yok. 14:12) Yabatendeka bulungi, era baabunyisa amawulire amalungi “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”Bak. 1:23.

18. Ssuubi ki lye tulina, era kiki kye tusaanidde okukola kati?

18 Yesu bwe yattibwa oluvannyuma n’azuukizibwa, yagenda mu ggulu era n’aweebwa obuyinza bungi okusinga ‘buli gavumenti, amaanyi, n’obwami.’ (Bef. 1:19-21) Bwe tufa nga tuli beesigwa, Yakuwa ajja kutuzuukiza tubeere mu nsi empya ey’obutuukirivu, era tujja kuweebwa emirimu mingi egy’okukola egituleetera essanyu. Naye ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, buli omu ku ffe alina enkizo okwenyigira mu mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. N’olwekyo, ka ffenna, abato n’abakulu, tube “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”1 Kol. 15:58.