Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Ddesemba 2016

 EBYAFAAYO

Nfuuka “Byonna eri Abantu aba Buli Ngeri”

Nfuuka “Byonna eri Abantu aba Buli Ngeri”

Mu mwaka gwa 1941 taata yagamba maama nti: “Bw’obatizibwa, nja kukulekawo!” Wadde nga taata yagamba maama ebigambo ebyo, maama yeewaayo eri Yakuwa Katonda era n’abatizibwa. Nga taata bwe yali agambye, yalekawo maama n’agenda. Mu kiseera ekyo, nnalina emyaka munaana gyokka.

MAAMA yali amaze ekiseera ng’asoma ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli era nange nnayagalanga nnyo okubisoma. Ebifaananyi ebyali mu bitabo ebyo byansanyusanga nnyo. Taata teyayagalanga maama ambuulire ku ebyo bye yabanga ayize mu Bayibuli. Naye nnayagalanga nnyo okumanya era nnabuuzanga maama ebibuuzo. Bwe kityo, taata bwe yabanga tali waka, maama yanjigirizanga Bayibuli. N’ekyavaamu, nange nnasalawo okwewaayo eri Yakuwa. Nnabatizibwa mu 1943 mu kibuga Blackpool ekya Bungereza nga ndi wa myaka kkumi.

NTANDIKA OKUWEEREZA YAKUWA

Nnatera kubuuliranga ne maama. Bwe twabanga tubuulira, twakozesanga gramufomu. Gramufomu ezo zaali zizitowa era nga buli emu ezitowa kiro nga nnya n’ekitundu. Olw’okuba nnali muto, gramufomu ezo zanzitoowereranga nnyo!

Bwe nnaweza emyaka 14, nnayagala okutandika okuweereza nga payoniya. Maama yaŋŋamba nti njogereko n’omulabirizi w’ekitundu. Bwe nnayogerako n’omulabirizi w’ekitundu, yaŋŋamba nti nsooke mbeeko omulimu gwe njiga,  ogwandinnyambye okweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya. Ekyo nnakikola. Oluvannyuma lw’okukolera emyaka ebiri, nnayogerako n’omulabirizi w’ekitundu omulala ne mmubuuza obanga nnali nsobola okutandika okuweereza nga payoniya. Yaŋŋamba nti, “Tandika okuweereza nga payoniya!”

Bwe kityo, mu Apuli 1949, nze ne maama tweggyako ebintu ebitali bimu bye twalina mu nnyumba gye twali tupangisa ne tusengukira mu kibuga Middleton, ekiri okumpi n’ekibuga Manchester, ne tutandika okuweereza nga bapayoniya. Nga wayise emyezi ena, waliwo ow’oluganda eyali payoniya eyanneegattako ne tuweerereza wamu naye. Ofiisi y’ettabi yatusaba okugenda okuweerereza mu kibiina ekipya ekyali kyakatandikibwawo mu Irlam. Maama yatandika okubuulira ne mwannyinaffe eyali abeera mu kibiina ekirala eyali aweereza nga payoniya.

Wadde nga nnalina emyaka 17 gyokka, nze n’ow’oluganda gwe nnali naye baatukwasa obuvunaanyizibwa obw’okukubiriza enkuŋŋaana mu kibiina ekyo ekipya, kubanga tewaaliwo ba luganda bamala kwetikka buvunaanyizibwa mu kibiina. Oluvannyuma nnasabibwa okugenda okuweerereza mu kibiina ky’e Buxton, ekyalimu ababuulizi abatono ennyo era nga kyetaaga obuyambi. Embeera eyo gye twayitamu yannyamba okweteekerateekera obuvunaanyizibwa obwampeebwa oluvannyuma.

Nga tuyita abantu okujja okuwuliriza emboozi ya bonna mu Rochester, New York, mu 1953

Mu 1951, nnajuza foomu ne nsaba okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Naye mu Ddesemba 1952, nnayitibwa okugenda mu magye. Nnasaba nneme kuyingira magye olw’okuba nnali mubuulizi  ow’ekiseera kyonna, kyokka nnasindikibwa mu kkomera mmaleyo emyezi mukaaga. Bwe nnali mu kkomera, nnayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 22. Era mu Jjulaayi 1953, nnasimbula ne ŋŋenda mu New York, era emmeeri gye nnagenderamu baali bagiyita Georgic.

Bwe nnatuuka mu New York, nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu mwaka ogwo ogwa 1953. Oluvannyuma nnagenda mu South Lansing, New York, awaali wagenda okubeera essomero. Olw’okuba nnali nnaakava mu kkomera, nnalina obusente butono. Bwe nnava mu ggaali y’omukka, nnalinnya bbaasi era ssente ze nnasasula mu bbaasi nnazeewola ku musaabaze.

NSINDIKIBWA OKUWEEREZA MU NSI ENDALA

Essomero lya Gireyaadi lyatutendeka ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri’ nga tuweereza ng’abaminsani. (1 Kol. 9:22) Nze, Paul Bruun, ne Raymond Leach, twasindikibwa okuweereza mu Philippines. Twalwawo okufuna viza zaffe era bwe twazifuna, twatandikirawo olugendo lwaffe nga tukozesa emmeeri, ne tuyita e Rotterdam, ku Guyanja Meditereniyani, mu mukutu gw’e Suez, ku Guyanja oguyitibwa Indian Ocean, mu Malaysia, ne mu Hong Kong. Twamala ennaku 47 mu mmeeri era oluvannyuma twatuuka mu kibuga Manila mu Noovemba 19, 1954.

Nze ne muminsani munnange Raymond Leach twamala ennaku 47 ku mmeeri nga tugenda e Philippines

Twalina okukola enkyukakyuka ezitali zimu okutuukana n’abantu ab’omu kitundu ekipya gye twali tugenze, era twalina okuyiga olulimi lwabwe. Kyokka nze ne bannange ababiri twasooka kusindikibwa kuweerereza mu kibiina ky’e Quezon, era abantu bangi mu kibuga ekyo baali boogera Lungereza. N’olwekyo, mu myezi mukaaga, twali tuyize ebigambo bitono nnyo eby’olulimi Olutagalogo. Naye obuvunaanyizibwa obulala obwali bugenda okutuweebwa bwali bugenda kutuyamba okuyiga Olutagalogo.

Lumu mu Maayi 1955 nze n’Ow’oluganda Leach bwe twatuuka awaka nga tuva okubuulira twasanga amabaluwa mu nnyumba yaffe. Amabaluwa ago gaali galaga nti twali tulondeddwa okutandika okuweereza ng’abalabirizi abakyalira ebibiina. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 22 gyokka naye obuvunaanyizibwa obwo obupya bwatuwa akakisa ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri.’

Nga mpa emboozi ya bonna ku lukuŋŋaana olunene olwali mu lulimi oluyitibwa Bicol

Ng’ekyokulabirako, emboozi gye nnasooka okuwa nga mpeereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina nnagiweera mu maaso g’edduuka. Ab’oluganda mu Philippines baali bakitwala nti emboozi ya bonna erina kuweebwa mu bifo ebya lukale abantu bonna we basobola okugiwulirira! Bwe nnakyaliranga ebibiina, nnaweeranga emboozi ya bonna mu bifo ebya lukale abantu we baawummuliranga, mu butale, mu bifo we bazannyira emizannyo, mu paaka, ne ku nguudo. Lumu bwe nnali mu kibuga San Pablo, enkuba ey’amaanyi yatonnya ne sisobola kuweera mboozi ya bonna mu katale, bwe kityo ne ŋŋamba ab’oluganda abaali batwala obukulembeze nti ngiweere mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bwe nnamala okuwa emboozi eyo, ab’oluganda bambuuza obanga emboozi eyo baali basobola okugitwala ng’emboozi ya bonna okuva bwe kiri nti saagiweera mu kifo ekya lukale!

Nnasulanga mu maka ga ba luganda. Wadde ng’ab’oluganda tebaali bagagga, amaka gaabwe gaabanga mayonjo. Nnateranga kwebaka ku mukeeka. Ebinaabiro tebyabanga bizimbe bulungi ne kiba nti omuntu yabanga asobola okukulingiza ng’onaaba. Bwe kityo, nnayiga okuba omwegendereza nga nnaaba. Nnatambuliranga mu jipu, mu bbaasi, era emirundi egimu nnakozesanga n’eryato okugenda ku bizinga. Ekiseera kyonna kye mmaze nga mpeereza, sibeerangako na mmotoka yange ku bwange.

Okubuulira n’okukyalira ebibiina kyannyamba okuyiga Olutagalogo. Saagenda mu ssomero kuyiga lulimi olwo naye nnaluyiga nga mpuliriza bakkiriza bannange, nga tubuulira oba nga tuli mu nkuŋŋaana. Bakkiriza bannange bannyamba nnyo nga njiga olulimi olwo. Baali bagumiikiriza gye ndi era banzizangamu nnyo amaanyi.

 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, obuvunaanyizibwa obutali bumu bwe nnaweebwa bwannyamba okukola enkyukakyuka endala. Mu 1956, Ow’oluganda Nathan Knorr bwe yakyala mu Philippines, nnakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okukwanaganya emirimu egitali gimu. Saalina bumanyirivu mu mirimu egyo naye bakkiriza bannange bannyamba. Bwe waali tewannayita na mwaka, olukuŋŋaana olulala lwategekebwa, era Ow’oluganda Frederick Franz eyali avudde ku kitebe kyaffe ekikulu yakyala mu Philippines. Okuweereza ng’omulabirizi w’olukuŋŋaana olwo kyannyamba okubaako kye njigira ku w’Oluganda Franz eyafuba okutuukana n’embeera z’abantu b’omu Philippines. Ab’oluganda baasanyuka nnyo okulaba Ow’oluganda Franz ng’ayambadde ekyambalo ky’omu Philippines ekiyitibwa barong Tagalog ng’awa emboozi ya bonna.

Bwe nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti, nnalina okukola enkyukakyuka endala. Mu kiseera ekyo, twalaganga firimu eyitibwa The Happiness of the New World Society, ng’emirundi mingi tugiragira wabweru mu bifo ebya lukalu. Ebiseera ebimu obuwuka bwatutawaanyanga. Obuwuka bungi bwajjanga ku kitaala kye twakozesanga. Gwalinga mulimu gwa maanyi okuyonja ekitaala ekyo buli luvannyuma lw’okukikozesa. Tekyalinga kyangu kulaga bantu firimu eyo naye kyatusanyusanga nnyo okulaba engeri abantu gye baakwatibwangako nga bayize ebikwata ku kibiina kya Yakuwa.

Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki baagambanga ab’obuyinza abamu obutatukkiriza kukuba  nkuŋŋaana nnene. Ate bwe twakubanga enkuŋŋaana okumpi n’amasinzizo gaabwe, baakubanga ebide by’omu masinzizo gaabwe basobole okutaataaganya enkuŋŋaana ezo. Wadde kyali kityo, omulimu gwaffe gwagenda mu maaso era abantu bangi mu bitundu ebyo baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

NNAWEEBWA OBUVUNAANYIZIBWA OBULALA OBWANDEETERA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA ENDALA

Mu 1959, nnayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi. Obuvunaanyizibwa obwo obupya bwansobozesa okuyiga ebintu ebirala bingi. Nga wayise ekiseera, nnatandika okusindikibwanga okukyalira ensi ezitali zimu. Lumu bwe nnali nkyadde mu Thailand, nnasisinkana Janet Dumond eyali aweereza ng’omuminsani mu nsi eyo. Twawuliziganya okumala ekiseera era oluvannyuma ne tufumbiriganwa. Kati tumaze emyaka 51 nga tuweerereza wamu Yakuwa.

Nze ne Janet ku kizinga ekimu eky’omu Philippines

Okutwalira awamu, nkyalidde abaweereza ba Yakuwa mu nsi 33. Ndi musanyufu nnyo okuba nti obuvunaanyizibwa obuzze bumpeebwa mu kibiina kya Yakuwa bunnyambye okuyiga okukolagana n’abantu aba buli ngeri! Okukyalira ab’oluganda mu nsi ezitali zimu kinnyambye okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okukiraba nti Yakuwa ayagala abantu aba buli ngeri.Bik. 10:34, 35.

Tufuba okubuulira obutayosa

NKYEYONGERA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA

Kituleetedde essanyu lingi okuweerereza awamu ne baganda baffe ab’omu Philippines. Kati omuwendo gw’ababuulizi gweyongedde era gukubisaamu emirundi kkumi omuwendo gw’ababuulizi abaaliwo we nnatandikira okuweereza mu Philippines. Nze ne Janet tukyaweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Philippines mu kibuga Quezon. Wadde nga mmaze emyaka egisukka mu 60 nga mpeereza mu Philippines, nkyetaaga okubaako enkyukakyuka ze nkola. Enkyukakyuka ezigenda mu maaso mu kibiina kya Yakuwa zitwetaagisa okuba abeetegefu okukola enkyukakyuka tusobole okutambulira awamu n’ekibiina kye.

Okweyongerayongera kw’Abajulirwa ba Yakuwa kutuleetera essanyu lingi

Olw’okuba tufubye okutuukana n’ekigendererwa kya Yakuwa, kituleetedde essanyu lingi. Era tufubye okukola enkyukakyuka ezitali zimu okusobola okuweereza baganda baffe. Mu butuufu, tuli beetegefu ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri.’

Tukyaweereza ku ofiisi y’ettabi mu kibuga Quezon