Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Ssebutemba 2017

 EBYAFAAYO

Nfunye Enkizo Okukolera Awamu n’Abasajja Abakulu mu by’Omwoyo

Nfunye Enkizo Okukolera Awamu n’Abasajja Abakulu mu by’Omwoyo

MU MYAKA gya 1930, bazadde bange, James ne Jessie Sinclair baasengukira mu kibuga New York mu kitundu ekiyitibwa Bronx. Omu ku bantu be baasooka okumanya mu kitundu ekyo yali Willie Sneddon, naye eyali yava mu Scotland nga bo. Bwe baali baakasisinkana, baatandika okwogera ebikwata ku b’eŋŋanda zaabwe. Ebyo byaliwo ng’ebula emyaka mitono nzaalibwe.

Maama yagamba Willie nti Ssematalo I bwe yali anaatera okutandika, taata we ne mwannyina baafiira mu nnyanja oluvannyuma lw’eryato mwe baali okutomera bbomu eyali etegeddwa mu mazzi. Willie yamugamba nti, “Taata wo ali mu hell!” * Willie yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era eyo ye ngeri gye yatandikamu okwogera ne maama ebikwata ku Bayibuli.

Willie ne Liz Sneddon

Ekyo Willie kye yayogera kyanyiiza nnyo maama kubanga maama yali akimanyi nti taata we yali musajja mulungi. Naye Willie yabuuza maama nti, “Kinaakunyiiza singa nkugamba nti ne Yesu yagenda mu hell?” Mu kiseera ekyo maama yajjukira essaala gye baasabanga mu kkanisa ng’egamba nti Yesu yakka mu hell era ku lunaku olw’okusatu n’azuukira. Maama yeebuuza, ‘Bwe kiba nti hell kifo awali omuliro ogutazikira ababi gye babonyaabonyezebwa, lwaki Yesu yagendayo?’ Bw’atyo maama bwe yatandika okwagala okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana mu kibiina ky’e Bronx era n’abatizibwa mu 1940.

Nga ndi ne maama, era nga ndi ne taata

Mu kiseera ekyo, abazadde Abakristaayo tebaakubirizibwanga nnyo kuyigiriza baana baabwe Bayibuli. Bwe nnali nkyali muto, taata yasigalanga nange nga maama agenze mu nkuŋŋaana oba ng’agenze okubuulira. Nga wayise emyaka mitono, nze ne taata twatandika okugendanga ne maama mu nkuŋŋaana. Maama yali munyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira era yalina abayizi ba Bayibuli bangi. Mu butuufu, abamu ku bayizi be abaabanga baliranaganye, yabayigiririzanga wamu. Bwe nnabanga mu luwummula nnagendanga naye okubuulira. Ekyo kyannyamba okuyiga ebintu bingi ebiri mu Bayibuli era nnayiga n’engeri y’okuyigirizaamu abantu Bayibuli.

Kya nnaku nti bwe nnali nkyali muto, nnali saagala nnyo mazima. Nnali sigatwala ng’ekikulu. Naye bwe nnaweza emyaka nga 12,  nnafuuka omubuulizi era okuva olwo mbadde mbuulira obutayosa. Bwe nnali wa myaka 16, nneewaayo eri Yakuwa ne mbatizibwa nga Jjulaayi 24, 1954, ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Toronto, mu Canada.

MPEEREZA KU BESERI

Ekibiina kye twalimu kyalimu ab’oluganda abaali baweereza ku Beseri n’abo abaali baaweerezaayoko. Ab’oluganda abo bannyamba nnyo. Engeri gye baayigirizangamu amazima agali mu Bayibuli yankwatako nnyo. Wadde ng’abasomesa ku ssomero baali baagala ŋŋende ku yunivasite, ekigendererwa kyange kyali kya kuweereza ku Beseri. N’olwekyo, ku lukuŋŋaana olwo lwennyini olwali mu Toronto, nnajjuzaamu foomu ya Beseri. Nnaddamu ne nzijuza foomu eyo mu 1955 ku lukuŋŋaana olunene olwali mu kisaawe ky’e Yankee, mu kibuga New York. Nga wayise ekiseera kitono nnayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Brooklyn nga Ssebutemba 19, 1955. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 17. Ku lunaku olw’okubiri nga ntandise okuweereza ku Beseri, nnasindikibwa okukola mu kitongole ekigatta awamu empapula z’ebitabo n’okubissaako amaliba. Nga wayise ekiseera kitono nnatandika okukola ku kyuma ekisengeka empapula z’ebitabo nga tezinnaba kusindikibwa ku kyuma kirala kutungibwa.

Nnatandika okuweereza ku Beseri y’e Brooklyn nga nnina emyaka 17

Nga wayise omwezi nga gumu nga nkola mu kitongole ekyo, nnasindikibwa okukola mu kitongole kya magazini kubanga nnali mmanyi okukuba tayipu. Mu kiseera ekyo, waabangawo ab’oluganda ne bannyinaffe abaakubanga tayipu ku bubaati obw’enjawulo nga bateekako endagiriro z’abantu abaabanga balagirizza magazini ya Watchtower ne Awake! Oluvannyuma lw’emyezi mitono nnatandika okukola mu kitongole ekitambuza ebitabo. Ow’oluganda Klaus Jensen, eyali akulira ekitongole ekyo yambuuza obanga nnali mwetegefu okugendanga n’ow’oluganda eyavuganga ebitabo n’abitwala ku mwalo okubitikka ku mmeeri bitwalibwe mu bitundu by’ensi ebitali  bimu. Era twalina n’okutwala ebisawo n’ebisawo bya magazini ku posita bisobole okutuusibwa mu bibiina eby’enjawulo mu Amerika. Ow’oluganda Jensen yaŋŋamba nti omulimu gw’okusitula ebitabo gwandinnyambye. Mu kiseera ekyo nnali nzitowa kiro 57 zokka era nga nninga oluti. Okutwala ebitabo ku mwalo ne ku posita kyannyamba okufuna ku mubiri. Ow’oluganda Jensen ddala yali amanyi ekyo ekyandinnyambye!

Ekitongole kya magazini era kye kyakolanga ne ku foomu ebibiina kwe byasabiranga magazini. Bwe kityo okukola mu kitongole ekyo kyansobozesa okumanya omuwendo gw’ennimi magazini zaffe ezaali zikubibwa mu Brooklyn mwe zaali. Nnyingi ku nnimi ezo nnali siziwulirangako naye kyansanyusa nnyo okukimanya nti nnyingi ku magazini ze twali tukuba zaatwalibwanga mu nsi nnyingi ezeesudde. Mu kiseera ekyo nnali simanyi nti ekiseera kyandituuse n’enfuna akakisa okutuukako kumpi mu nsi ezo zonna.

Nga ndi ne Robert Wallen, Charles Molohan, ne Don Adams

Mu 1961, nnatandika okuweereza mu kitongole ky’eby’embalirira ekyali kirabirirwa Ow’olugand Grant Suiter. Nga wayise emyaka mitono, nnayitibwa mu ofiisi y’Ow’oluganda Nathan Knorr, mu kiseera ekyo eyali alabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Yaŋŋamba nti omu ku b’oluganda abaali bakola mu ofiisi ye yali agenda mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka, era nti oluvannyuma ow’oluganda oyo yali agenda kukola mu Kitongole ky’Obuweereza. Nnalondebwa okudda mu kifo kye nga nkolera wamu n’Ow’oluganda Don Adams. Ekyewuunyisa kiri nti Don ye w’oluganda gwe nnakwasa foomu yange eya Beseri ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1955. Mu ofiisi eyo mwalimu n’ab’oluganda abalala babiri, Robert Wallen ne Charles Molohan. Ffenna abana twakolera wamu okumala emyaka egisukka mu 50. Ebadde nkizo ya maanyi okukolera awamu n’ab’oluganda abo abakulu mu by’omwoyo era abeesigwa!​—Zab. 133:1.

Nga ndi mu Venezuela, mu 1970 ku lukyala lwange olwa zooni olwasooka

 Okuva mu 1970, nnakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okukyaliranga amatabi ga Watch Tower Society buli mwaka oba buli luvannyuma lw’emyaka ebiri, mu lukyala olwali luyitibwa olukyala lwa zooni. Ekyo kyazingirangamu okukyalira amaka ga Beseri n’abaminsani mu nsi ezitali zimu, okusobola okubazzaamu amaanyi mu by’omwoyo n’okukebera ebiwandiiko by’oku ofiisi z’amatabi. Kyansanyusanga okusisinkananga abaminsani abaali bamaze emyaka nga bavudde mu ssomero lya Gireyaadi naye nga bakyaweereza n’obwesigwa mu nsi gye baasindikibwa! Ekiseera kye nnamala nga nkola omulimu ogwo nnatuuka mu nsi ezisukka mu 90.

Kyansanyusa nnyo okukyalira ab’oluganda mu nsi ezisukka mu 90!

NFUNA OMUKYALA OMWESIGWA

Ffenna ku Beseri y’e Brooklyn twali tuweerereza mu bibiina ebitali bimu ebiri mu New York. Nze nnali mpeerereza mu kibiina ky’omu Bronx. Ekibiina ekyasooka mu kitundu ekyo kyali kikuze ne kyawulwamu. Ekibiina ekyasooka kyatandika okuyitibwa Upper Bronx era ekyo kye kibiina kye nnalimu.

Awo nga mu mwaka gwa 1965, ab’omu maka agamu agaava mu Latvia abaayiga amazima nga bali mu kitundu ky’e Bronx eky’ebukiikaddyo bajja mu kibiina kyaffe. Livija, omuwala omukulu mu maka ago, yafuuka payoniya owa bulijjo nga yaakamaliriza siniya. Nga wayise emyezi mitono, yagenda e Massachusetts okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingawo. Nnatandika okumuwandiikira amabaluwa nga mmubuulira ebifa mu kibiina kyaffe, era nga naye ampandiikira n’ambuulira ebirungi bye yali afuna mu buweereza bwe mu kitundu ky’e Boston.

Nga ndi ne Livija

Nga wayise emyaka mitono, Livija yalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Livija yali ayagala okukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa, bw’atyo yajjuzaamu foomu ya Beseri era n’ayitibwa okuweereza ku Beseri mu 1971. Ekyo Yakuwa yalinga akitukoledde! Twafumbiriganwa nga Okitobba 27, 1973, era Ow’oluganda Knorr ye yawa emboozi nga tugattibwa. Engero 18:22 wagamba nti: “Oyo afuna omukyala omulungi aba afunye ekintu ekirungi, era Yakuwa amusiima.” Nze ne Livija kati tumaze emyaka egisukka mu 40 nga tuweerereza wamu ku Beseri. Era tukyaweerereza mu kibiina ekimu ekiri mu Bronx.

OKUWEEREREZA AWAMU NE BAGANDA BA KRISTO

Nnanyumirwa nnyo okukolera awamu n’Ow’oluganda Knorr. Knorr yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu era yafangayo nnyo ku baminsani mu nsi yonna. Bangi ku baminsani abo be Bajulirwa ba Yakuwa abaasooka mu nsi ze baasindikibwamu. Mu 1976 kyannakuwaza nnyo okulaba ng’Ow’oluganda Knorr alumwa kookolo. Lumu obulwadde bwe bwali bumusudde wansi, yansaba mmusomere ebimu ku bintu ebyali bigenda okukubibwa mu kyapa. Yaŋŋamba mpite n’Ow’oluganda Frederick Franz naye ajje awulirize bye nsoma. Oluvannyuma nnakimanya nti olw’okuba Ow’oluganda Franz yali takyalaba bulungi, Ow’oluganda Knorr yamalanga obudde obuwerako ng’amusomera ebintu ng’ebyo.

Ku lukyala lwa zooni nga tuli ne Daniel ne Marina Sydlik mu 1977

Ow’oluganda Knorr yafa mu 1977, naye abo abaali bamumanyi era nga bamwagala baabudaabudibwa nnyo okukimanya nti yali amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi nga  mwesigwa. (Kub. 2:10) Oluvannyuma obuvunaanyizibwa obw’okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna bwakwasibwa Ow’oluganda Franz.

Mu kiseera ekyo nnali nkola ng’omuwandiisi w’Ow’oluganda Milton Henschel eyali amaze emyaka mingi ng’akolera wamu n’Ow’oluganda Knorr. Ow’oluganda Henschel yaŋŋamba nti kati omulimu omukulu gwe nnali ŋŋenda okukola ku Beseri kwe kuyamba Ow’oluganda Franz mu ngeri yonna eyali yeetaagisa. Nnamusomeranga ebintu ebyabanga bitannaba kukubibwa mu kyapa. Ow’oluganda Franz yali ajjukira nnyo era ng’agoberera bulungi nga waliwo by’omusomera. Nnafuna enkizo okumuyamba mu ngeri eyo okutuusiza ddala bwe yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi mu Ddesemba 1992!

Ekizimbe 124 Columbia Heights, kye nnakoleramu okumala emyaka mingi

Emyaka 61 gye tumaze nga tuweereza ku Beseri giyise mangu. Bazadde bange bombi baafa beesigwa eri Yakuwa era nneesunga okuddamu okubalaba mu nsi empya. (Yok. 5:28, 29) Tewali kintu kyonna mu nsi eno kisobola kugeraageeranyizibwa na nkizo ey’okukolera awamu n’abasajja n’abakazi abeesigwa okuweereza abantu ba Katonda mu nsi yonna. Nze ne Livija emyaka gye tumaze nga tuli mu buweereza obw’ekiseera kyonna ‘essanyu lya Yakuwa libadde kigo kyaffe.’​—Nek. 8:10.

Tewali muntu atali wa mugaso mu kibiina kya Yakuwa, era omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka gugenda mu maaso. Ebadde nkizo ya maanyi okukolerako awamu n’ab’oluganda ne bannyinaffe abeesigwa okumala emyaka egyo gyonna. Abasinga obungi ku baafukibwako amafuta be nnakolerako awamu nabo tebakyali ku nsi. Naye ndi musanyufu nnyo okuba nti nnakolerako wamu n’abaweereza ba Yakuwa abo abakulu mu by’omwoyo.

^ lup. 5 Bayibuli nnyingi ez’Olungereza zikozesa ekigambo “hell” okuvvuunula ekigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza amagombe. Amadiini mangi gayigiriza nti ekigambo ky’Olungereza “hell” kitegeeza omuliro ogutazikira.