Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Ssebutemba 2016

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okuzimba Okukkiriza Kwabwe

Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Okuzimba Okukkiriza Kwabwe

“Abalenzi n’abawala . . . ka batendereze erinnya lya Yakuwa.”ZAB. 148:12, 13.

ENNYIMBA: 88, 115

1, 2. (a) Kusoomooza ki abazadde kwe boolekagana nakwo, era kiki ekiyinza okubayamba? (b) Bintu ki ebina bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OMWAMI omu ne mukyala we ababeera mu Bufalansa baagamba nti: “Tukkiririza mu Yakuwa naye ekyo tekitegeeza nti n’abaana baffe bamukkiririzaamu. Okukkiriza tekusikirwa. Abaana baffe bagenda bakufuna mpolampola.” Ow’oluganda omu abeera mu Australia yagamba nti: “Ekimu ku bintu ebisingayo okusoomooza abazadde kwe kuyamba abaana baabwe okuba n’okukkiriza. Abazadde kiyinza okubeetaagisa okukozesa enkola ezitali zimu okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa. Oyinza okulowooza nti ozzeemu bulungi ekibuuzo omwana wo ky’akubuuzizza, kyokka ate ogenda okulaba ng’addamu akubuuza ekibuuzo kye kimu! Ebyo by’oddamu mu bibuuzo omwana wo by’aba akubuuzizza biyinza okumumatiza leero, kyokka ate enkeera n’awulira nti akyayagala okweyongera okumunnyonnyola. Kiyinza okukwetaagisa okuddamu okumunnyonnyola ebintu ebimu by’oba wamala edda okumunnyonnyola.”

2 Bw’oba oli muzadde, oluusi owulira ng’obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abaana bo okuba n’okukkiriza okunywevu bukusukkiriddeko? Kyo kituufu nti ku lwaffe tetusobola kutuukiriza buvunaanyizibwa  obwo. (Yer. 10:23) Naye tusobola okubutuukiriza bwe twesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi. Ka tulabe ebintu bina ebisobola okukuyamba okuzimba okukkiriza kw’abaana bo: (1) Okubamanya obulungi. (2) Okubayigiriza okuviira ddala ku mutima. (3) Okukozesa ebyokulabirako. (4) Okuba omugumiikiriza n’okunyiikirira okusaba.

MANYA BULUNGI ABAANA BO

3. Abazadde bayinza batya okukoppa Yesu nga bayigiriza abaana baabwe?

3 Yesu yabuuzanga abagoberezi be ebyo bye baali bakkiririzaamu. (Mat. 16:13-15) Naawe osobola okumukoppa. Osobola okubuuza abaana bo ebyo bye bakkiririzaamu ng’onyumya nabo mu biseera byammwe eby’eddembe. Oyinza okubabuuza ebintu bye babuusabuusa oba bye bawulira nti tebeekakasa. Olw’oluganda omu ow’emyaka 15 abeera mu Australia yagamba nti: “Taata atera okunyumya nange ebikwata ku nzikiriza yaffe era annyamba okufumiitiriza ku bintu ebitali bimu. Ambuuza nti: ‘Bayibuli egamba ki?’ ‘Ekyo ky’egamba okikkiriza?’ ‘Lwaki okikkiriza?’ Aba ayagala nziremu mu bigamba byange. Bwe ŋŋenze nkula, nnyongedde okugaziya ku ngeri gye nziramu ebibuuzo ebimbuuzibwa.”

4. Lwaki abazadde basaanidde okutwala ebibuuzo abaana baabwe bye babuuza nga bikulu? Waayo ekyokulabirako.

4 Omwana wo bw’aba ng’alina ekintu okuva mu Bayibuli ky’abuusabuusa tomukambuwalira. Beera mugumiikiriza era muyambe okufumiitiriza ku kintu ekyo. Taata omu agamba nti: “Ebibuuzo omwana wo by’akubuuza bitwale nga bikulu. Era omwana wo ne bw’akubuuza ekibuuzo ekikunyiiza oba ekitakwanguyira kuddamu, tokibuusa maaso.” Omwana wo bw’akubuuza ebibuuzo kitwale nti assaayo omwoyo ku by’ayiga era nti ayagala okubitegeera. Yesu bwe yali nga wa myaka 12 gyokka yabuuza ebibuuzo ebikulu. (Soma Lukka 2:46.) Omwana ow’emyaka 15 abeera mu Denmark yagamba nti: “Bwe nnagamba bazadde bange nti nnalimu okubuusabuusa obanga ddala eddiini yaffe ye ntuufu, baasigala bakkakkamu wadde ng’ekyo kiyinza okuba nga kyabeeraliikirizaamuko. Baddamu ebibuuzo bange byonna nga bakozesa Bayibuli.”

5. Wadde ng’abaana bayinza okulabika ng’abalina okukkiriza, kiki abazadde kye basaanidde okukola?

5 Fuba okumanya ebyo abaana bo bye balowooza, enneewulira zaabwe, n’ebibeeraliikiriza. Tolowooza nti abaana bo balina okukkiriza olw’okuba bajja mu nkuŋŋaana era olw’okuba bagenda naawe okubuulira. Buli lunaku yogerako n’abaana bo ku bintu eby’omwoyo. Sabira wamu n’abaana bo era basabire. Gezaako okumanya ebintu ebigezesa okukkiriza kwabwe era obayambe.

YIGIRIZA ABAANA BO OKUVIIRA DDALA KU MUTIMA

6. Amazima agali mu Bayibuli bwe gatuuka ku mitima gy’abazadde, kibayamba kitya okuba abayigiriza abalungi?

6 Yesu bwe yali ayigiriza yatuukanga ku mitima gy’abantu kubanga yali ayagala nnyo Yakuwa, Ekigambo kya Katonda, n’abantu be yali ayigiriza. (Luk. 24:32; Yok. 7:46) Mu ngeri y’emu, okwagala kujja kuyamba abazadde okutuuka ku mitima gy’abaana baabwe. (Soma Ekyamateeka 6:5-8; Lukka 6:45.) N’olwekyo abazadde mufube okwesomesa Bayibuli awamu n’ebitabo byaffe. Mwetegereze obutonde era mufube okusoma ebitundu ebikwata ku bitonde ebifulumira mu bitabo byaffe. (Mat. 6:26, 28) Bwe mukola mutyo, mujja kweyongera okufuna okumanya, mujja kweyongera okwagala Yakuwa, era kijja kubayamba okuyigiriza obulungi abaana bammwe.Luk. 6:40.

7, 8. Omuzadde bw’ayiga ekintu kyonna ekikwata ku Yakuwa, kiki ky’asaanidde okukola? Waayo ekyokulabirako.

7 Bw’oyiga ekintu kyonna ekikwata ku Yakuwa, kibuulireko ab’omu maka go. Ekyo kikole ekiseera kyonna, so si olwo lwokka lwe muba nga mweteekerateekera enkuŋŋaana oba nga muli mu kusinza kw’amaka. Ebintu eby’omwoyo bisaanidde okuba ekitundu ky’emboozi zammwe ze munyumya bulijjo. Ow’oluganda ne mukyala we ababeera mu Amerika batera okunyumya ebikwata ku Yakuwa nga balina ekitonde kye balabye ekibasanyusizza oba nga baliko kye balya. Abazadde abamu  baagamba nti: “Tutera okujjukiza abaana baffe engeri okwagala kwa Yakuwa gye kweyolekera mu bintu by’atuwa.” Omwami n’omukyala ababeera mu South Africa bwe baba mu nnimiro ne bawala baabwe ababiri, batera okwogera ku mirimu gya Yakuwa egyewuunyisa, gamba ng’engeri ensigo gye zimeramu n’engeri ebimera gye bikulamu. Bagamba nti: “Tufuba okuyamba abaana baffe okukiraba nti obulamu bwa muwendo era kyamagero.”

8 Taata omu bwe yagenda ne mutabani we ow’emyaka ekkumi mu kifo awakuumirwa ebintu eby’edda, yakozesa akakisa ako okuyamba mutabani we okunyweza okukkiriza kwe mu Katonda n’okwongera okusiima obutonde. Taata oyo agamba nti: “Twalaba ebiramu eby’edda ennyo eby’omu nnyanja ebiyitibwa ammonoid ne trilobite ebitakyaliwo kati. Kyatwewuunyisa nnyo okukiraba nti ebiramu ebyo byali birabika bulungi nnyo era nga byakula mu ngeri eyeewuunyisa. Abo abagamba nti ebintu byajjawo byokka bagamba nti ebiramu ebyasooka enkula yaabyo yali teyeewuunyisa naye nti bwe byagenda bifuukafuuka byavaamu ebiramu ebyakula mu ngeri eyewuunyisa. Kati olwo lwaki ebiramu ebyo bye twalaba ebyaliwo edda ennyo byakula mu ngeri eyeewuunyisa? Ekyo kyandaga nti ebiramu tebyajjawo byokka, era ekyo nnakibuulirako mutabani wange.”

KOZESA EBYOKULABIRAKO EBITUUKIRAWO

9. Lwaki kirungi okukozesa ebyokulabirako, era maama omu yakozesa atya ekyokulabirako?

9 Yesu yateranga okukozesa ebyokulabirako ebireetera omuntu okufumiitiriza, ebituuka ku mutima, era ebiyamba omuntu okujjukira ensonga enkulu. (Mat. 13:34, 35) Abazadde bwe bakozesa ebyokulabirako nga bayigiriza abaana baabwe, kiyamba abaana baabwe okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza. Ng’ekyokulabirako, maama omu mu Japan yalina batabani be babiri, omu nga wa myaka munaana ate omulala nga wa myaka kkumi. Yayagala okubayamba okukiraba nti Yakuwa yafaayo nnyo ng’ateeka emikka egitali gimu ku nsi. Ekyo okusobola okukikola, yawa batabani be abo amata, sukaali, ne kaawa buli omu amutabulire ekikopo kya caayi. Maama oyo agamba nti: “Buli omu ku bo yeegendereza nnyo ng’atabula caayi. Bwe nnababuuza ensonga lwaki baafuba okuba abeegendereza, baŋŋamba nti baali baagala okutabula caayi mu ngeri yennyini gye njagala. Nnabagamba nti bw’atyo ne Katonda bwe yafaayo ennyo ng’ateeka emikka egitali gimu ku nsi. Yatabula emikka egyo mu kigero ekituufu ekitusobozesa okuba abalamu.” Ekyokulabirako ekyo kyali kituukirawo ku myaka gy’abaana abo era kyabayamba okutegeera obulungi ensonga eyo mu kifo kye yandibadde agibabuulira obubuulizi. Abaana abo ensonga eyo tebaagyerabira!

Kozesa ebyokulabirako ebyangu okuyamba abaana bo okukkiriza nti Katonda gy’ali (Laba akatundu 10)

10, 11. (a) Kyakulabirako ki ky’oyinza okukozesa okuyamba omwana wo okukkiriza nti Katonda gyali? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.) (b) Byakulabirako ki by’otera okukozesa okuyamba abaana bo?

10 Kyakulabirako ki ky’oyinza okukozesa okuyamba omwana wo okukiraba nti waliyo Omutonzi? Oyinza okusalawo okufumba n’omwana wo keeki ng’ogoberera obulagirizi obuli mu kitabo obulaga engeri y’okutabulamu ebirungo. Muyambe okukiraba nti kikulu okugoberera obulagirizi obwo. Oluvannyuma kwasa omwana wo ekibala, gamba nga apo era omubuuze nti: “Okimanyi nti waliwo obulagirizi obwagobererwa, ebirungo eby’enjawulo ne byegatta wamu okusobola okuvaamu apo eno?” Oluvannyuma apo gisalemu omukwase ensigo yaayo. Oyinza okugamba omwana wo nti obulagirizi  obukwata ku ngeri ebirungo bya apo gye birina okugattibwamu busangibwa mu nsigo eyo, era obulagirizi obwo bwa kika kya waggulu nnyo okusinga obwo obuba mu bitabo ebiwandiikibwa abantu. Oyinza okumubuuza: “Bwe kiba nti waliwo eyawandiika obulagirizi bwe tugoberera nga tukola keeki, kati olwo ani yawandiika obulagirizi mu nsigo ya apo?” Omwana bw’aba omukulu ekimala, oyinza okumugamba nti obulagirizi obukwata ku nkula y’ekibala kya apo era n’omuti gwa apo gwonna bwawandiikibwa mu Ndagabutonde (DNA). Ate era muyinza n’okulaba ebifaananyi ebiri ku lupapula 10 okutuuka ku lupapula 20 mu brocuwa The Origin of Life—Five Questions Worth Asking.

11 Abazadde bangi bakozesa ekitundu ekifulumira mu Zuukuka! ekirina omutwe “Kyajjawo Kyokka?” okukubaganya ebirowoozo n’abaana baabwe. Oba oluusi bakozesa ekitundu ekyo okuyigiriza abaana baabwe ensonga enkulu ezikirimu mu ngeri ennyangu. Ng’ekyokulabirako, omwami omu ne mukyala we ababeera mu Denmark baageraageranya ennyonyi ku binyonyi. Baagamba abaana baabwe nti: “Ennyonyi zifaanana ng’ebinyonyi. Naye ennyonyi zisobola okubiika amagi ne zaalula ennyonyi ento? Ebinyonyi byetaaga ebisaawe kwe birina okugwa? Era eddoboozi ly’ennyonyi n’ery’ebinyonyi, liruwa erisinga obulungi? Kati olwo ani asinga amagezi; eyakola ennyonyi oba eyatonda ebinyonyi?” Okukozesa ebyokulabirako ng’ebyo n’ebibuuzo ebituukirawo kiyamba abaana okukulaakulanya “obusobozi bw’okulowooza,” era kibayamba okukkiriza nti Katonda gyali.Nge. 2:10-12.

12. Ebyokulabirako biyinza bitya okuyamba omwana wo okukkiririza mu Bayibuli?

12 Ebyokulabirako ebituukirawo era bisobola okuyamba omwana wo okukkiririza mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebiri mu Yobu 26:7. (Soma.) Oyinza otya okuyamba omwana wo okukiraba nti ekyawandiikibwa ekyo kyaluŋŋamizibwa? Mu kifo ky’okumugamba obugambi nti kyaluŋŋamizibwa, muyambe okukozesa obusobozi bwe obw’okulowooza. Omwana wo mutegeeze nti mu kiseera kya Yobu, waali tewabangawoko muntu yali aleese bukakafu bulaga nti ensi eri mu bbanga jjereere, kubanga mu kiseera ekyo tewaaliwo byuma bikozesebwa kulaba bintu ebiri mu bwengula. Abantu baali bakimanyi nti ebintu byonna, gamba ng’omupiira oba ejjinja, bibaako kwe bitudde oba ekibiwaniridde. N’olwekyo abantu b’omu kiseera kya Yobu tekiyinza kuba nga kyabanguyira okukkiriza nti ensi terina kigiwaniridde. Kyokka oluvannyuma kyazuulibwa nti ekyo Bayibuli ky’egamba kituufu. Ekyo kiyinza okuyamba omwana wo okukiraba nti wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, byonna by’eyogera bituufu kubanga yava eri Yakuwa.Nek. 9:6.

LAGA EMIGANYULO EGIRI MU KUKOLERA KU MISINGI GYA BAYIBULI

13, 14. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukiraba nti kya muganyulo okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli?

13 Ate era kikulu okuyamba abaana bo okulaba emiganyulo egiri mu kukolera ku misingi gya Bayibuli. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Kino oyinza okukikola mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba abaana bo okukuba akafaananyi nga bagenda okubeera ku kizinga ekitaliiko bantu era nga balina okulonda abantu abawerako be baagala okubeera nabo ku kizinga ekyo. Awo oyinza okubabuuza nti: “Bantu ba ngeri ki be mwandironze okubeera nabo, musobole okubeera mu mirembe ku kizinga ekyo?” Oluvannyuma oyinza okwogera nabo ku ebyo ebiri mu Abaggalatiya 5:19-23.

14 Ekyo kiyinza okuyamba abaana bo okuyiga ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka, okukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda kireetawo emirembe egya nnamaddala n’obumu. Eky’okubiri, ebyo Yakuwa by’atuyigiriza bituteekateeka okubeera mu nsi empya egenda okujja. (Is. 54:13; Yok. 17:3) Osobola okukkaatiriza ensonga ezo ng’okozesa ekyokulabirako okuva mu bitabo byaffe. Oyinza okukiggya mu kitundu ekirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu,” ekifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi. Oba bwe kiba nti mu kibiina kyammwe mulimu omuntu eyakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe, muyinza okumuyita n’ababuulira ku ngeri Bayibuli  gy’emuyambyemu. Ebyokulabirako ng’ebyo bisobola okuyamba abaana bammwe okukiraba nti kya muganyulo okukolera ku misingi gya Bayibuli!Beb. 4:12.

15. Kiruubirirwa ki ekikulu ky’olina okuba nakyo ng’oyigiriza abaana bo?

15 N’olwekyo, bw’oba oyigiriza abaana bo, lowooza ku byokulabirako ebisobola okubayamba okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza. Era bwe bagenda bakula, lowooza ku bintu ebitali bimu by’oyinza okukola okubayamba okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumusemberera. Taata omu yagamba nti: “Tokoowanga kulowooza ku ngeri empya gy’oyinza okuyigirizaamu abaana bo ensonga ezitali zimu, nga mw’otwalidde n’ezo ze wali obayigirizzaako.”

BA N’OKUKKIRIZA, BA MUGUMIIKIRIZA, ERA SABANGA YAKUWA

16. Lwaki abazadde balina okuba abagumiikiriza nga bayigiriza abaana baabwe? Waayo ekyokulabirako.

16 Omwoyo gwa Katonda gusobola okuyamba abaana bo okuba n’okukkiriza okunywevu. (Bag. 5:22, 23) Okufaananako ekibala, okukkiriza nakwo kutwala ekiseera okusobola okukula. N’olwekyo weetaaga okuba omugumiikiriza ng’oyigiriza abaana bo. Taata omu alina abaana ababiri abeera mu Japan yagamba nti: “Nze ne mukyala wange abaana baffe twabawanga obudde obumala. Okuviira ddala nga bakyali bato, nnabayigirizanga Bayibuli okumala eddakiika 15 buli lunaku, okuggyako ku nnaku ez’enkuŋŋaana. Eddakiika ezo tezaatukaluubirizanga era nabo tezaabakaluubirizanga.” Omulabirizi omu akyalira ebibiina yagamba nti: “Bwe nnali mu myaka egy’obutiini, nnalina ebibuuzo bingi bye nnali nneebuuza. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bingi ku bibuuzo ebyo byaddibwamu mu nkuŋŋaana, mu kusoma kw’amaka, oba nga nneesomesa. N’olwekyo kikulu abazadde obutakoowa kuyigiriza baana baabwe.”

Okusobola okuba omuyigiriza omulungi, Ekigambo kya Katonda kirina okusooka okubeera ku mutima gwo (Laba akatundu 17)

17. Lwaki kikulu abazadde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi, era ekyo abazadde abamu bakikoze batya?

17 Ate era kikulu abazadde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza. Abaana bammwe beetegereza ebyo bye mukola era birina kinene kye bibakolako. N’olwekyo, abazadde mweyongere okunyweza okukkiriza kwammwe. Abaana bammwe ka bakirabe nti Yakuwa wa ddala gye muli. Ow’oluganda omu ne mukyala we ababeera mu Bermuda bwe bafuna ebizibu, basaba Yakuwa nga bali wamu n’abaana baabwe ne bamusaba abawe obulagirizi, era bakubiriza n’abaana baabwe kinnoomu okusaba. Bagamba nti: “Tukubiriza ne muwala waffe omukulu okwesiga Yakuwa, okubuulira n’obunyiikivu, n’obuteeraliikirira kisukkiridde. Muwala waffe bw’alaba ebirungi ebivaamu, akimanya nti Yakuwa atuyamba. Kino kimuyambye nnyo okunyweza okukkiriza kwe n’okwesiga Ekigambo kya Katonda.”

18. Kintu ki abazadde kye basaanidde okumanya?

18 Abazadde musaanidde okukijjukira nti temusobola kukaka baana bammwe kuba na kukkiriza. Mmwe musiga era ne mufukirira, naye Katonda y’akuza. (1 Kol. 3:6) N’olwekyo musabe Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu era mufube okuyigiriza abaana bammwe. Bwe munaakola bwe mutyo, Yakuwa ajja kubawa emikisa.Bef. 6:4.