Lwaki tekikkirizibwa kuteeka vidiyo oba ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa ku mikutu gya Intaneeti egy’obwannannyini oba ku mikutu emigatta bantu?

Olw’okuba ebitabo byaffe ne vidiyo ebinnyonnyola Bayibuli tubigabira ku bwereere, abamu balowooza nti basobola okubikoppa ku mukutu gwaffe ne babiteeka ku mikutu gyabwe egy’obwannanyini oba ku mikutu emirala egya Intaneeti. Naye okukola ekyo kiba kimenya amateeka n’obukwakulizo * ebikwata ku nkozesa y’omukutu gwaffe era kivuddemu ebizibu eby’amaanyi. Nga bwe kiragibwa mu Mateeka n’Obukwakulizo ebikwata ku nkozesa y’omukutu gwaffe, tewali n’omu akkirizibwa ‘kuggya bifaananyi, bitabo, bubonero, nnyimba, vidiyo, oba ebintu ebirala ku mukutu gwaffe n’abissa ku mukutu gwa Intaneeti omulala.’ Lwaki etteeka eryo lyetaagisa?

Tewali akkirizibwa kuteeka bitabo byaffe oba vidiyo ku mikutu gya Intaneeti emirala

Ebintu byonna ebiri ku mukutu gwaffe biriko obwannannyini. Bakyewaggula n’abalala abawakanya amazima oluusi bassa ebitabo byaffe ku mikutu gyabwe nga baagala okusendasenda Abajulirwa ba Yakuwa n’abantu abalala. Ku mikutu gyabwe egyo bassaako ebintu ebigendererwa okuleetera abo ababisoma okubuusabuusa amazima. (Zab. 26:4; Nge. 22:5) Abalala bakozesa ebintu okuva mu bitabo byaffe mu bulango bwabwe oba bateeka akabonero kaffe aka jw.org ku bintu bye balanga, bye batunda, oba ku apps zaabwe. Okuba n’obwannannyini mu mateeka ku bintu ebyo ne ku kabonero ako, kituyamba okubaako we tusinziira okuvunaana abo ababikozesa mu bukyamu. (Nge. 27:12) Naye bwe tukkiriza abantu, ka babe ba luganda, okuggya ebintu ku mukutu gwaffe ne babiteeka ku mikutu emirala oba okukozesa akabonero kaffe aka jw.org okutunda ebyamaguzi  byabwe, kikifuula kizibu eri abakwasisa amateeka okutuyamba okuziyiza bakyewaggula ne bannabyabusuubuzi okubikozesa obubi.

Okuwanula ebitabo byaffe ku mikutu emirala egitali mukutu gwa jw.org kya kabi. Obuvunaanyizibwa obw’okuwa abantu be emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa abukwasizza “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yekka. (Mat. 24:45) “Omuddu” oyo atutuusaako emmere ey’eby’omwoyo okuyitira mu mikutu gye emitongole gino:​—www.jw.org, tv.jw.org, ne wol.jw.org. Era akozesa apps ssatu zokka era nga ze zino:​—JW Language®, JW Library®, ne JW Library Sign Language®. Emikutu egyo tegiteekebwako bulango era tegyonooneddwa bulimba bwa nsi ya Sitaani. Singa emmere ey’eby’omwoyo tugezaako okugifunira ku mikutu emirala, tetusobola kuba bakakafu nti tekyusiddwamu oba nti teyonooneddwa.​—Zab. 18:26; 19:8.

Ate era okuteeka ebitabo oba vidiyo zaffe ku mikutu abantu kwe basobola okuwandiika ne bakubaganya ebirowoozo kiwa akakisa bakyewaggula n’abalala abawakanya amazima okuleetera abantu obuteesiga kibiina kya Yakuwa. Ab’oluganda abamu batuuse n’okutandika okuwakana n’abantu abalala okuyitira ku mikutu egyo, bwe batyo ne bongera okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Intaneeti si ngeri esaana ‘ey’okubuulira abajeemu mu bukkakkamu.’ (2 Tim. 2:23-25; 1 Tim. 6:3-5) Era kyetegerezeddwa nti emikutu emikyamu gigguddwawo mu linnya ly’ekibiina, ery’Akakiiko Akafuzi, n’ery’ab’oluganda kinnoomu abali ku Kakiiko Akafuzi. Kyokka tewali wa luganda yenna ku Kakiiko Akafuzi alina mukutu gugwe ku bubwe oba akozesa emikutu emigatta bantu.

Bwe tulagirira abantu okugenda ku mukutu gwa jw.org kiyamba mu kubunyisa ‘amawulire amalungi.’ (Mat. 24:14) Ebintu bye tukozesa mu mulimu gw’okubuulira nga tubikozeseza ku kompyuta oba ku ssimu buli lukya byeyongera okulongoosebwamu. Twagala buli omu okubiganyulwamu. N’olwekyo, nga bwe kiragibwa mu Mateeka n’Obukwakulizo, osobola okuweereza omuntu ekitabo kyaffe oba vidiyo ng’okozesa e-mail oba ng’omuweereza linki gy’asobola okukozesa okufuna ky’ayagala ku jw.org. Abantu abaagala okuyiga amazima bwe tubalagirira okugenda ku mikutu gyaffe emitongole, tuba tubayamba okufuna emmere ey’eby’omwoyo okuva ku nsibuko entuufu, ng’ono ye ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’

^ lup. 1 Okusobola okulaba amateeka n’obukwakulizo obwo genda ku jw.org/lg olabe wansi awasemba ekigambo “OBUKWAKULIZO” okinyigeko.