Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi—Ogw'Okusoma mu Kibiina  |  Maaki 2017

Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?

Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?

“Ebintu bino . . . byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu.”1 KOL. 10:11.

ENNYIMBA: 11, 61

1, 2. Lwaki tugenda kwekenneenya ebikwata ku bakabaka ba Yuda abana?

WATYA singa olaba omuntu ng’atambula n’aseerera n’agwa. Kiki kye wandikoze? Kya lwatu nti wandibadde mwegendereza ng’oyita w’abadde atambulira. Mu ngeri y’emu, bwe tumanya ensobi abalala ze baakola, kisobola okutuyamba okwewala okukola ensobi ze zimu. N’olwekyo, tulina bye tusobola okuyigira ku nsobi abalala ze baakola, nga mw’otwalidde n’abo aboogerwako mu Bayibuli.

2 Bakabaka ba Yuda be twalaba mu kitundu ekyayita baaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Wadde kyali kityo, balina ensobi ez’amaanyi ze baakola. Kiki kye tuyigira ku nsobi ze baakola, era tuyinza tutya okwewala okukola ensozi ng’ezo? Okufumiitiriza ku ebyo Bayibuli by’eboogerako, kisobola okutuyamba okuganyulwa mu bintu ebyawandiikibwa edda okutuyigiriza.Soma Abaruumi 15:4.

OKWESIGAMA KU MAGEZI G’ABANTU KIVAAMU EMITAWAANA

3-5. (a) Wadde nga Asa yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, nsobi ki gye yakola? (b) Baasa bwe yalumba Yuda, kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Asa okwesiga abantu?

3 Ka tusooke tulabe ebikwata ku Asa. Eggye ly’Abeesiyopiya  eddene bwe lyalumba Yuda, Asa yeesiga Yakuwa. Kyokka teyeesiga Yakuwa, Baasa kabaka wa Isirayiri bwe yatandika okuzimba Laama, ekibuga ekyali ku nsalo y’obwakabaka bwa Yuda ne Isirayiri. (2 Byom. 16:1-3) Ku mulundi ogwo, Asa yeesigama ku magezi ge n’awa Beni-kadadi kabaka wa Busuuli ssente alumbe Baasa. Ekyo Asa kye yakola kyamuyamba? Bayibuli egamba nti: “Baasa olwakiwulira n’alekera awo okuzimba Laama, n’ayimiriza omulimu.” (2 Byom. 16:5) Mu ndaba ey’obuntu, amagezi ga Asa gaalabika ng’agaali gakoze.

4 Naye ekyo Asa kye yakola Yakuwa yakitwala atya? Yakuwa yatuma Kanani okunenya Asa olw’obuteesiga Yakuwa. (Soma 2 Ebyomumirembe 16:7-9.) Kanani yagamba Asa nti: “Okuva kati ojja kubeeranga n’entalo.” Wadde nga Baasa yalekera awo okuzimba Laama, okuva olwo Asa n’abantu be baabeeranga n’entalo.

5 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Katonda yakebera omutima gwa Asa n’akiraba nti Asa yali amuweereza n’omutima gwe gwonna. (1 Bassek. 15:14) Asa yali asiimibwa mu maaso ga Katonda. Wadde kyali kityo, Asa yalina okwolekagana n’ebyava mu kusalawo kwe okubi. Baasa bwe yatandika okuzimba Laama, lwaki Asa yasalawo okwesigama ku magezi ge n’okwesiga abantu abalala, mu kifo ky’okwesiga Yakuwa? Kyandiba nti yalowooza nti okukozesa obukodyo bw’ekijaasi kyandimusobozesezza okuwangula Baasa? Oba kyandiba nti waliwo abalala abaamuwa amagezi ago amabi?

6. Kiki kye tuyigira ku nsobi Asa gye yakola? Waayo ekyokulabirako.

6 Kiki kye tuyigira ku Asa? Bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi ennyo, kiyinza okutwanguyira okukiraba nti twetaaga obuyambi bwa Yakuwa. Naye watya singa tufuna ebizibu ebirala ebitali bya maanyi nnyo? Tusalawo okwesigama ku magezi g’abantu okusobola okubigonjoola? Oba kyandiba nti tunoonya obulagirizi okuva mu Bayibuli era ne tufuba okubukolerako, mu ngeri eyo ne tulaga nti twesiga Yakuwa? Ng’ekyokulabirako, ab’eŋŋanda zo bayinza okuba nga tebaagala ogende mu nkuŋŋaana ennene oba entono, era nga bakola kyonna ekisoboka okukulemesa okugenda. Mu mbeera eyo, osaanidde okusaba Yakuwa akuyambe okumanya eky’okukola. Oba watya singa ofiirwa omulimu gwo era nga kikuzibuwalidde okufuna omulala? Singa wabaawo omuntu gw’osuubira okukuwa omulimu, wandimutegeezezza nti olina okugendanga mu nkuŋŋaana ezibaawo wakati mu wiiki? Ka tube nga twolekagana na mbeera ki, ffenna tusaanidde okukolera ku bigambo bino omuwandiisi wa Zabbuli bye yayogera: “Amakubo go gakwasenga Yakuwa; mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.”Zab. 37:5.

KIKI EKIYINZA OKUTUTUUKAKO SINGA TULONDA EMIKWANO EMIBI?

7, 8. Nsobi ki Yekosafaati ze yakola, era biki ebyavaamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)

7 Kati ate ka tulowooze ku Yekosafaati mutabani wa Asa. Yekosafaati yayoleka engeri ennungi ezitali zimu. Yeesiganga Yakuwa era yakola ebintu ebirungi bingi. Wadde kyali kityo, ebiseera ebimu Yekosafaati yasalangawo mu ngeri eteri ya magezi. Ng’ekyokulabirako, yakola enteekateeka mutabani we n’awasa muwala wa Kabaka Akabu eyali omubi. Ate era Yekosafaati yeegatta ku Akabu okulwanyisa Abasuuli, wadde nga nnabbi Mikaaya yali abalaze nti olutalo olwo terwandivuddemu kalungi. Mu lutalo olwo, Yekosafaati yabulako katono okuttibwa. Oluvannyuma yaddayo e Yerusaalemi. (2 Byom. 18:1-32) Nnabbi Yeeku yamubuuza nti: “Ababi b’osaanidde okuyamba, era abo abakyawa Yakuwa b’osaanidde okwagala?”Soma 2 Ebyomumirembe 19:1-3.

 8 Yekosafaati yayigira ku nsobi ye eyo? Wadde nga yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, kirabika teyayigira ku nsobi eyo era teyassaayo mwoyo ku kulabula Yeeku kwe yamuwa. Yekosafaati yaddamu okukola omukwano n’omulabe wa Yakuwa omulala, ng’ono ye yali Kabaka Akaziya mutabani wa Akabu. Yekosafaati ne Akaziya baazimba ebyombo naye oluvannyuma ne bimenyekamenyeka, ekigendererwa kyabwe ne kitatuukirira.2 Byom. 20:35-37.

9. Biki ebiyinza okuvaamu singa tulonda emikwano emibi?

9 Ebyo bye tusoma ku Yekosafaati bisaanidde okutukubiriza okwekebera. Mu ngeri ki? Okutwalira awamu Yekosafaati yali kabaka mulungi. Yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa era yamunoonya “n’omutima gwe gwonna.” (2 Byom. 22:9) Wadde kyali kityo, yafuna emikwano emibi era ekyo kyamuviiramu ebizibu bingi. Bayibuli egamba nti: “Omuntu atambula n’ab’amagezi naye ajja kuba wa magezi, naye oyo akolagana n’abasirusiru ajja kugwa mu mitawaana.” (Nge. 13:20) Wadde nga twagala okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa, tusaanidde okukijjukira nti kya kabi okukola omukwano ogw’okulusegere n’abantu abatasinza Yakuwa.

10. (a) Kiki Omukristaayo ayagala okuwasa oba okufumbirwa ky’ayinza okuyigira ku Yekosafaati? (b) Kiki kye tusaanidde okujjukira singa tuba tupikirizibwa okufuna emikwano emibi?

10 Kiki kye tuyigira ku Yekosafaati? Omukristaayo ayinza okutandika okwegwanyiza omuntu atali muweereza wa Yakuwa, ng’agamba nti si kyangu kufuna wa kuwasa oba wa kufumbira mu kibiina Ekikristaayo. Oba ab’eŋŋanda z’Omukristaayo abatasinza Yakuwa bayinza okuba nga bamupikiriza okuwasa oba okufumbirwa nga bamugamba nti akuliridde. Kyo kituufu nti Yakuwa yatutonda nga twagala okwagalibwa era nga tusobola okulaga abalala okwagala. Naye watya singa Omukristaayo abulwa omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa mu kibiina? Kiki ky’asaanidde okukola? Okufumiitiriza ku ekyo ekyatuuka ku Yekosafaati kisobola okumuyamba. Yekosafaati yateranga okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa. (2 Byom. 18:4-6) Naye Yekosafaati bwe yakola omukwano ku Akabu, omusajja eyali tayagala Yakuwa, yabuusa amaaso  okulabula okwava eri Yakuwa. Yekosafaati yandibadde akijjukira nti “amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Yakuwa ategeera bulungi embeera yaffe era atwagala. Bwe kiba nti oyagala okuwasa oba okufumbirwa, okikkiriza nti Yakuwa amanyi bulungi ekyo kye weetaaga era nti ajja kukuyamba okukifuna mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu!

Weewale okukola omukwano ogw’oku lusegere n’abantu abatasinza Yakuwa (Laba akatundu 10)

WEEKUUME OLEME OKUFUNA AMALALA

11, 12. (a) Keezeekiya yalaga atya ekyo ekyali mu mutima gwe? (b) Lwaki Katonda yasonyiwa Keezeekiya?

11 Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Keezeekiya? Yakuwa, Oyo akebera emitima, yayoleka ekyo ekyali mu mutima gwa Keezeekiya. (Soma 2 Ebyomumirembe 32:31.) Keezeekiya bwe yalwala ennyo, Katonda yamuwa akabonero akaali kalaga nti yali ajja kuwona. Akabonero ako kyali kisiikirize ekyadda emabega. Kirabika oluvannyuma abaami b’e Babulooni baasindika ababaka eri Keezeekiya nga baagala okumanya ebikwata ku kabonero ako. (2 Bassek. 20:8-13; 2 Byom. 32:24) Yakuwa teyabuulira Keezeekiya ngeri ya kuyisaamu babaka abo. Bayibuli egamba nti “yamuleka” alabe kye yandikoze. Keezeekiya yalaga ababaka abo “ennyumba ye yonna omwali eby’obugagga.” Ekikolwa ekyo ekitaali kya magezi, kyayoleka “byonna ebyali mu mutima” gwa Keezeekiya.

12 Bayibuli tetubuulira kyaviirako Keezeekiya kufuna malala. Kyandiba nti kyava ku kuba nti yali awangudde Abaasuli, oba kyandiba nti kyava ku kuba nti Katonda yali amuwonyezza mu ngeri ey’ekyamagero? Oba kyandiba nti kyava ku bugagga obungi n’ekitiibwa bye yalina? Ka kibe ki ekyamuleetera okufuna amalala, Keezeekiya “teyalaga nti yali asiimye ebirungi byonna ebyamukolerwa.” Ng’ekyo kyali kibi nnyo! Wadde nga yasaba Yakuwa n’amugamba nti yali amuweerezza n’omutima gwe gwonna, waliwo ekiseera Keezeekiya lwe yakola ebitasanyusa Yakuwa. Kyokka oluvannyuma “Keezeekiya yatoowaza omutima gwe,” era Katonda n’amusonyiwa.2 Byom. 32:25-27; Zab. 138:6.

13, 14. (a) Ddi Yakuwa lw’ayinza okutuleka okulaba ekyo ekiri mu mutima gwaffe? (b) Kiki kye tusaanidde okukola abalala bwe batutendereza olw’ebyo bye tuba tukoze?

13 Tuganyulwa tutya bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku ebyo ebikwata ku Keezeekiya? Kijjukire nti Keezeekiya yayoleka amalala oluvannyuma lwa Yakuwa okumuyamba okuwangula Sennakeribu n’okumuwonya obulwadde obwali obw’amaanyi. Naffe bwe tubaako ekintu ekirungi kye tukoze, kyandiba nti Yakuwa atuleka okulaba ekyo ekiri mu mitima gyaffe? Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okuba ng’afubye okutegeka obulungi emboozi era n’agiwa mu ngeri ennungi. Bangi bayinza okumutendereza olw’emboozi eyo gy’aba awadde. Ow’oluganda oyo aneeyisa atya?

14 Singa abalala batutendereza olw’ebirungi bye tuba tukoze, tusaanidde okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Bwe muba nga mukoze ebintu byonna ebiba bibalagiddwa, mugambe nti, ‘Tuli baddu abatalina mugaso. Kye tukoze kye tubadde tuteekeddwa okukola.’” (Luk. 17:10) Tusaanidde okukijjukira nti Keezeekiya bwe yafuna amalala, “teyalaga nti yali asiimye ebirungi byonna ebyamukolerwa.” Bwe tufumiitiriza ku bintu ebingi Katonda by’atukoledde kijja kutuyamba obutafuna malala. Tujja kubuulira abalala ebimukwatako n’ebirungi by’atukoledde. Yakuwa y’atuwa omwoyo omutukuvu n’Ekigambo kye ebitusobozesa okukola ebintu ebirungi.

 WEEGENDEREZE NG’OLIKO KY’OSALAWO

15, 16. Kiki ekyaviirako Yosiya okuttibwa?

15 Kati ate kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Kabaka Yosiya eyali omulungi? Lowooza ku ekyo ekyamuviirako okufa. (Soma 2 Ebyomumirembe 35:20-22.) Yosiya yalumba Kabaka Neeko owa Misiri wadde nga kabaka oyo yali agambye Yosiya nti yali tazze kulwanyisa ye. Bayibuli egamba nti ebigambo bya Neeko byali bivudde “mu kamwa ka Katonda.” Kati olwo lwaki Yosiya yamulumba? Ekyo Bayibuli tekitubuulira.

16 Yosiya yanditegedde atya obanga ebigambo bya Neeko byali bivudde eri Yakuwa? Yali asobola okubuuza nnabbi Yeremiya amubuulire. (2 Byom. 35:23, 25) Naye Bayibuli teraga nti ekyo yakikola. Neeko yali tazze kulwanyisa Yerusaalemi, wabula yali agenda Kalukemisi ‘kulwanyisa ggwanga ddala.’ Ate era erinnya lya Katonda lyali terizingirwamu kubanga Neeko yali tasoomooza Yakuwa wadde abantu be. N’olwekyo, tekyali kya magezi Yosiya okulumba Neeko. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe twolekagana n’ekizibu, tusaanidde okufuba okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole mu mbeera eyo.

17. Bwe twolekagana n’embeera enzibu, kiki ekiyinza okutuyamba obutakola nsobi ng’eyo Yosiya gye yakola?

17 Singa twolekagana n’embeera enzibu, tusaanidde okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli era ne tugikolerako nga tetugudde lubege. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwebuuza ku bakadde mu kibiina. Tuyinza n’okuba nga tulowoozezza ku ebyo bye tumanyi ku mbeera gye twolekagana nayo era tuyinza n’okuba nga tuginoonyerezzaako mu bitabo byaffe. Naye wayinza okubaawo emisingi gya Bayibuli emirala abakadde gye basobola okutuyamba okufumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe akimanyi nti alina okubuulira amawulire amalungi. (Bik. 4:20) Kyokka lumu bw’aba ateekateeka okugenda okubuulira, omwami we atali mukkiriza amugamba nti asigale awaka. Amugamba nti baludde nga tebafuna kadde ka kubeerako wamu, era nti ku olwo yandyagadde asigaleko awaka babeereko wamu. Mwannyinaffe oyo ayinza okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebitali bimu gamba ng’ebyo ebitukubiriza okugondera Katonda n’ebyo ebitukubiriza okubuulira. (Mat. 28:19, 20; Bik. 5:29) Naye era aba lina okulowooza ku byawandiikibwa ebigamba abakyala okugondera abaami baabwe, n’ebyo ebitukubiriza obutaba bakakanyavu. (Bef. 5:22-24; Baf. 4:5) Omwami we amugaanidde ddala okuddamu okubuulira, oba amugamba okusigala awaka ku olwo lwokka? Twetaaga obutagwa lubege nga tufuba okukola Katonda by’ayagala.

WEEREZA YAKUWA N’OMUTIMA GWO GWONNA OFUNE ESSANYU

18. Okufumiitiriza ku ebyo ebyogerwa ku bakabaka abana aboogeddwako mu kitundu kino kikuganyula kitya?

18 Olw’okuba tetutuukiridde naffe tuyinza okwesanga nga tukoze ezimu ku nsobi ng’ezo bakabaka abo abana ze baakola. Tuyinza okwesanga nga (1) twesigamye ku magezi g’abantu, (2) nga tufunye emikwano emibi, (3) nga tufunye amalala, oba (4) nga tusazzeewo nga tetusoose kumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala. Nga kituzzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa atunoonyaamu ebirungi nga bwe yabinoonya mu bakabaka abo abana! Yakuwa era alaba engeri gye tumwagalamu n’engeri gye tufuba okumuweereza. Atuwadde ebyokulabirako mu Bayibuli bituyambe okwewala okukola ensobi ez’amaanyi. N’olwekyo ka tufumiitirizenga ku byokulabirako ebyo kubanga Yakuwa yabituwa okutulabula!