Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere

Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere

“Abatya Yakuwa be baba mikwano gye egy’oku lusegere.”—ZAB. 25:14.

ENNYIMBA: 106, 118

1-3. (a) Lwaki tuli bakakafu nti naffe tusobola okuba mikwano gya Katonda? (b) Bantu ki be tugenda okuyigako mu kitundu kino?

EMIRUNDI esatu Bayibuli egamba nti Ibulayimu yali mukwano gwa Katonda. (2 Byom. 20:7; Is. 41:8; Yak. 2:23) Omusajja oyo eyali omwesigwa ye yekka ayogerwako obutereevu mu Bayibuli nti yali mukwano gwa Yakuwa. Kati olwo tugambe nti Ibulayimu ye muntu yekka eyali mukwano gwa Yakuwa? Nedda, kubanga Bayibuli eraga nti buli omu ku ffe asobola okuba mukwano gwa Katonda.

2 Bayibuli eyogera ku basajja n’abakazi bangi abaali abeesigwa, nga batya Yakuwa, nga bamwesiga, era abaali mikwano gye egy’oku lusegere. (Soma Zabbuli 25:14.) Omutume Pawulo yayogera ku ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa,’ nga bonna baali mikwano gya Katonda. (Beb. 12:1) Yamenya abantu abawerako abali mu kibinja ekyo.

3 Mu kitundu kino tugenda kwetegerezaayo abantu basatu abaali mikwano gya Yakuwa. Tugenda kulaba (1) Luusi, nnamwandu eyava mu Mowaabu; (2) Keezeekiya, kabaka wa Yuda eyali omwesigwa; ne (3) Maliyamu, maama wa Yesu eyali omwetoowaze. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ngeri buli omu ku bo gye yafuukamu mukwano gwa Katonda?

 YAYOLEKA OKWAGALA OKUTAJJULUKUKA

4, 5. Kintu ki ekikulu ennyo Luusi kye yalina okusalawo, era lwaki ekyo tekyali kyangu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13.)

4 Kuba akafaananyi nga bannamwandu basatu batambula mu luguudo oluyita mu ddungu lya Mowaabu era ng’empewo ekunta. Bannamwandu abo ye Nawomi ne baka baana be Luusi ne Olupa. Olupa asalawo okubaleka n’addayo ewaabwe mu nsi ya Mowaabu. Nawomi mumalirivu okuddayo ku butaka mu Isirayiri. Ali wamu ne Luusi era Luusi ayolekaganye n’okusalawo okukulu ennyo mu bulamu bwe. Asobola okusalawo okuddayo mu bantu be e Mowaabu oba okusigala ne nnyazaala we Nawomi n’agenda naye e Besirekemu.Luus. 1:1-8, 14.

5 Luusi yali asobola okugamba nti maama we n’ab’eŋŋanda ze abalala abandibadde bamulabirira baali mu Mowaabu. Mowaabu ye yali ensi ye. Abantu b’e Mowaabu be baali abantu be, olulimi lwe baali boogera lwe yali ayogera, era yali amanyidde buwangwa bwayo. Ebyo Nawomi yali tasobola kubimuwa mu Besirekemu. Mu butuufu, Nawomi yakubiriza Luusi okusigala mu Mowaabu. Nawomi yagamba baka baana be nti yali tasobola kubafunira basajja ba kufumbirwa wadde amaka. Kiki Luusi kye yandikoze? Munne Olupa ye yasalawo okuddayo “eri abantu be ne bakatonda be.” (Luus. 1:9-15) Ne Luusi yali ayagala okuddayo eri bakatonda ab’obulimba abantu be be baali basinza? Nedda.

6. (a) Luusi yasalawo atya mu ngeri ey’amagezi? (b) Lwaki Bowaazi yagamba nti Luusi yaddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Yakuwa?

6 Kirabika Luusi yayiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu mwami we eyafa oba okuyitira mu Nawomi. Yakuwa teyali nga bakatonda b’e Mowaabu. Luusi yali akimanyi nti Yakuwa ye Katonda gw’agwanidde okwagala era gw’agwanidde okusinza. Kyokka okumanya obumanya ekyo kyali tekimala. Luusi yalina okusalawo. Yakuwa gwe yandironzeewo okuba Katonda we? Luusi yasalawo mu ngeri ey’amagezi. Yagamba Nawomi nti: “Abantu bo be banaaba abantu bange, ne Katonda wo y’anaaba Katonda wange.” (Luus. 1:16) Wadde nga tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku kwagala Luusi kwe yalaga Nawomi, ekisinga okutukwatako kwe kwagala Luusi kwe yalina eri Yakuwa. Bowaazi naye yasiima nnyo Luusi olw’okusalawo okuddukira wansi w’ebiwaawaatiro bya Yakuwa. (Soma Luusi 2:12.) Ekyo kituleetera okulowooza ku kanyonyi akato akanoonya obukuumi wansi w’ebiwaawaatiro bya maama waako. (Zab. 36:7; 91:1-4) Yakuwa yalinga omuzadde eri Luusi. Yakuwa yawa Luusi emikisa olw’okukkiriza kwe yayoleka era Luusi teyejjusa n’akatono olw’ekyo kye yasalawo okukola.

7. Kiki abo abalonzalonza okwewaayo eri Yakuwa kye basaanidde okumanya?

7 Abantu bangi bayiga ebikwata ku Yakuwa naye ne balemwa okusalawo okumwesiga. Tebasalawo kwewaayo gy’ali kumuweereza. Bwe kiba nti olonzalonza okwewaayo eri Yakuwa, kiki ekikulemesa? Kijjukire nti buli muntu ku nsi alina katonda gw’asinza. (Yos. 24:15) Lwaki tosalawo kuweereza Yakuwa, Katonda yekka gwe tugwanidde okuweereza? Engeri esingayo obulungi gy’oyinza okukiraga nti weesiga Yakuwa kwe kwewaayo gy’ali. Ajja kukuyamba okutuukiriza obweyamo bwo era ajja kukuyamba ng’oyolekagana n’embeera yonna enzibu eyinza okujjawo. Ekyo Katonda kye yakolera Luusi.

“YANYWERERA KU YAKUWA”

8. Keezeekiya yakulira mu mbeera ki?

8 Obutafaananako Luusi, Keezeekiya ye yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaayo eri Yakuwa. Naye tekiri nti buli Muyisirayiri yali mwesigwa eri Katonda. Taata wa Keezeekiya, Kabaka Akazi, y’omu ku bantu abataali beesigwa. Omusajja oyo omubi yaleetera abantu mu bwakabaka bwa Yuda okusinza ebifaananyi, n’atuuka n’okujolonga yeekaalu ya Yakuwa eyali  mu Yerusaalemi. Keezeekiya yakulira mu mbeera enzibu ennyo kubanga n’abamu ku baganda be battibwa mu ngeri ey’obukambwe, nga bookebwa balamu okubawaayo nga ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba!2 Bassek. 16:2-4, 10-17; 2 Byom. 28:1-3.

9, 10. (a) Lwaki Keezeekiya yali asobola okusalawo okunyiigira Yakuwa? (b) Lwaki tetusaanidde kunyiigira Katonda? (c) Lwaki kikyamu okulowooza nti embeera omuntu gy’akuliramu y’esalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe?

9 Keezeekiya yali asobola okusalawo okunyiigira Katonda n’atamuweereza. Abantu abamu abayise mu mbeera etetuuka na ya Keezeekiya buzibu basazeewo ‘okusunguwalira Yakuwa’ oba okunyiigira ekibiina kye. (Nge. 19:3) Ate abamu balowooza nti olw’okuba embeera mu maka ge baakuliramu teyali nnungi, ekyo kibawa eddembe okweyisa nga bwe baagala oba okukola ensobi ze zimu bazadde baabwe ze baakola. (Ez. 18:2, 3) Naye endowooza ng’ezo ntuufu?

10 Ebyo bye tusoma ku Keezeekiya biraga nti endowooza ng’ezo nkyamu ddala! Tewali nsonga yonna muntu gy’ayinza kwekwasa kunyiigira Yakuwa, kubanga Yakuwa si ye nsibuko y’ebintu ebibi ebituuka ku bantu mu nsi. (Yob. 34:10) Kyo kituufu nti abazadde basobola okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi oba ekibi. (Nge. 22:6; Bak. 3:21) Naye ekyo tekitegeeza nti embeera y’omu maka omuntu g’akuliramu y’esalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe. Buli omu ku ffe Yakuwa yamuwa eddembe okusalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe. (Ma. 30:19) Keezeekiya yakozesa atya eddembe eryo?

Abavubuka bangi basazeewo okuweereza Yakuwa wadde ng’amaka mwe bava tegaweereza Yakuwa (Laba akatundu 9, 10)

11. Kiki ekyafuula Keezeekiya okuba omu ku bakabaka ba Yuda abaasingayo obulungi?

11 Wadde nga Keezeekiya yali mwana w’omu ku bakabaka ba Yuda abaasingayo obubi, y’omu ku bakabaka ba Yuda abaasingayo obulungi. (Soma 2 Bassekabaka 18:5, 6.) Wadde nga kitaawe yamuteerawo ekyokulabirako ekibi ennyo, waliwo abantu abalala be yali asobola okukoppa abateekawo ekyokulabirako ekirungi. Waaliwo Isaaya, Mikka, ne Koseya, abaali baweereza nga bannabbi. Kabaka Keezeekiya ateekwa okuba nga yassangayo nnyo omwoyo ku bigambo by’abasajja abo abeesigwa era n’akolera ku kubuulirira ne ku kuwabula kwe baamuwa. Kino kyamuleetera  okufuba okutereeza ebintu ebikyamu kitaawe bye yali akoze. Yalongoosa Yeekaalu, yeegayirira Katonda asonyiwe abantu ebibi byabwe, era n’asaanyaawo ebifaananyi abantu bye baali basinza. (2 Byom. 29:1-11, 18-24; 31:1) Bwe yayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi, gamba nga mu kiseera Sennakeribu kabaka wa Bwasuli bwe yali ateekateeka okulumba Yerusaalemi, Keezeekiya yayoleka obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi. Yeesiga Katonda okumulokola era n’azzaamu abantu be amaanyi. (2 Byom. 32:7, 8) Oluvannyuma Keezeekiya bwe yayoleka amalala, yawuliriza okuwabula okwamuweebwa ne yeetoowaza era ne yeenenya. (2 Byom. 32:24-26) Tukiraba nti Keezeekiya teyakkiriza mbeera enzibu ze yayitamu mu buto okumulemesa okutambuza obulamu bwe mu ngeri esaana. Yali mukwano gwa Yakuwa era yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

12. Okufaananako Keezeekiya, bangi leero basobodde batya okubeera mikwano gya Yakuwa?

12 Olw’okuba tuli mu nsi embi ennyo era eteriimu kwagala, abaana bangi bakulira mu maka omutali kwagala era bazadde baabwe tebabafaako. (2 Tim. 3:1-5) Abakristaayo bangi leero baakulira mu maka ng’ago, naye basobodde okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Okufaananako Keezeekiya, bakiraze nti embeera embi omuntu gye yakuliramu temulemesa kutambuza bulamu bwe mu ngeri esaanidde. Ffenna Katonda yatuwa ekirabo eky’okwesalirawo, era tusobola okukozesa ekirabo ekyo obulungi ne tusalawo okunywerera ku Yakuwa n’okweyisa mu ngeri emuleetera ettendo n’ekitiibwa nga Keezeekiya bwe yakola.

YAGAMBA NTI: “LABA! NDI MUZAANA WA YAKUWA!”

13, 14. Lwaki obuvunaanyizibwa Maliyamu bwe yaweebwa tebwali bwangu, naye yagamba ki Gabulyeri?

13 Nga wayise ebyasa bingi oluvannyuma lw’ekiseera kya Keezeekiya, waliwo omuwala Omuyudaaya omwetoowaze eyali ayitibwa Maliyamu eyafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yakuwa yamuwa obuvunaanyizibwa obwali obw’enjawulo ennyo. Yali wa kuzaala Omwana wa Katonda omu yekka! Yakuwa okutuuka okuwa Maliyamu obuvunaanyizibwa ng’obwo, ateekwa okuba nga yali amwagala nnyo era ng’amwesiga. Naye Maliyamu yakwatibwako atya ng’aweereddwa obuvunaanyizibwa obwo?

“Laba! ndi muzaana wa Yakuwa!” (Laba akatundu 13, 14)

14 Kyangu okulowooza ku nkizo ey’ekitalo Maliyamu gye yafuna naye ne tutalowooza ku biki ebyali bizingirwamu. Ng’ekyokulabirako, malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti yali agenda kuba olubuto naye nga teyeegasse na musajja. Gabulyeri tayagamba Maliyamu nti yali agenda kwogerako n’ab’ewaabwe ne baliraanwa be abannyonnyole wa Maliyamu gye yaggya olubuto. Olowooza kiki abantu abo kye bandirowoozezza? Maliyamu ateekwa okuba nga yeeraliikirira nnyo nga yeebuuza engeri gye yandituukiriddemu Yusufu gwe yali agenda okufumbirwa. Yandimukakasizza atya nti wadde nga  yali lubuto yali teyeegasse na musajja yenna? Ate era, ateekwa okuba nga yalowooza ku buvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe yali agenda okufuna obw’okukuza, okulabirira, n’okutendeka Omwana w’oyo Asingayo Okuba Waggulu! Tetuyinza kumanya bintu byonna Maliyamu bye yali alowooza nga malayika Gabulyeri ayogera naye. Naye kye tumanyi kiri nti yamuddamu nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa! Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.”Luk. 1:26-38.

15. Lwaki tuyinza okugamba nti Maliyamu yalina okukkiriza okw’amaanyi?

15 Nga Maliyamu yayoleka okukkiriza okw’amaanyi! Omuzaana yabanga mwetegefu okukola kyonna mukama we kye yamugambanga. Maliyamu yeesiga Mukama we, Yakuwa, nti yali ajja kumulabirira era amukuume. Yali mwetegefu okukola ekyo kyonna Yakuwa kye yali ayagala akole. Maliyamu yasobola atya okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ng’okwo? Omuntu tazaalibwa ng’alina okukkiriza. Omuntu okusobola okuba n’okukkiriza aba alina okufuba ennyo era n’asaba Yakuwa amuyambe okukufuna. (Bag. 5:22; Bef. 2:8) Waliwo ekikakasa nti Maliyamu yafuba okuzimba okukkiriza kwe? Yee. Lowooza ku ngeri gye yawulirizangamu n’engeri gye yayogerangamu.

16. Kiki ekiraga nti Maliyamu yali awuliriza bulungi?

16 Engeri gye yawulirizangamu. Bayibuli etukubiriza ‘okuba abangu okuwuliriza n’okulwawo okwogera.’ (Yak. 1:19) Maliyamu yali awuliriza bulungi? Yee. Emirundi ebiri Enjiri ya Lukka ekiraga nti Maliyamu yawuliriza n’obwegendereza ebintu ebikulu ebyayogerwa era n’abifumiitirizaako. Yesu bwe yazaalibwa, abasumba baaliko obubaka obwabategeezebwa bamalayika era oluvannyuma abasumba abo ne babutegeeza Maliyamu. Ate Yesu bwe yali nga wa myaka 12, yayogera ebigambo ebyakwata ennyo ku Maliyamu. Ku mirundi egyo gyombi, Maliyamu yawuliriza bulungi, yajjukira ebyo ebyayogerwa, era n’abifumiitirizaako nnyo.—Soma Lukka 2:16-19, 49, 51.

17. Ebyo Maliyamu bye yayogera bitulaga ki?

17 Ebyo Maliyamu bye yayogera. Bayibuli tetubuulira bingi Maliyamu bye yayogera. Ebigambo ebisingayo obungi ebiragibwa mu Bayibuli Maliyamu bye yayogera bisangibwa mu Lukka 1:46-55. Ebigambo ebyo biraga nti Maliyamu yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa. Ebimu ku bigambo bye yayogera byali bifaananako ebyo Kaana, maama wa Samwiri, bye yayogera ng’asaba. (1 Sam. 2:1-10) Bwe yali ayogera ebigambo ebyo, Maliyamu yajuliza ebyawandiikibwa nga 20 eby’enjawulo. Kyeyoleka lwatu nti Maliyamu yali ayagala nnyo okwogera ku bintu Mukwano gwe Yakuwa bye yamuyigiriza n’ebyo bye yayiganga mu Kigambo kya Katonda.

18. Tuyinza tutya okukoppa Maliyamu?

18 Okufaananako Maliyamu, oluusi tuyinza okwesanga nga Yakuwa atukwasizza omulimu ogulabika ng’omuzibu ennyo. Nga Maliyamu bwe yakola, naffe tusaanidde okwesiga Yakuwa, nga tukimanyi nti atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi. Tusobola okukoppa Maliyamu nga tussaayo omwoyo ku bintu bye tuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, nga tubifumiitirizaako, era nga tunyiikira okubibuulirako abalala.Zab. 77:11, 12; Luk. 8:18; Bar. 10:15.

19. Nkizo ki ey’ekitalo gye tujja okufuna bwe tunaakoppa abaweereza ba Yakuwa abeesigwa?

19 Tewali kubuusabuusa nti, okufaananako Ibulayimu eyali mukwano gwa Yakuwa, Luusi, Keezeekiya, ne Maliyamu nabo baali mikwano gya Yakuwa. Abaweereza ba Katonda abo abeesigwa awamu n’abo abali mu ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa’ nga mw’otwalidde n’abaweereza ba Yakuwa abalala abazze babaawo, babadde n’enkizo ey’ekitalo ey’okuba mikwano gya Katonda. Ka tufube okukoppa abaweereza ba Katonda abo abeesigwa. (Beb. 6:11, 12) Bwe tunaakola bwe tutyo, naffe tujja kufuna enkizo ey’ekitalo ey’okubeera mikwano gya Yakuwa!