Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Na. 5 2017

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAMALAYIKA​—DDALA GYEBALI? LWAKI KIKULU OKUMANYA EBIBAKWATAKO?

Olina Malayika Akukuuma?

Olina Malayika Akukuuma?

Bayibuli tegamba nti buli muntu alina malayika amukuuma. Kyo kituufu Yesu yagamba nti: “Mukakase nti temunyooma omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe abali mu ggulu bulijjo babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” (Matayo 18:10) Kyokka Yesu yali tategeeza nti buli muntu alina malayika amukuuma, wabula yali ategeeza nti bamalayika bafaayo ku buli omu ku bagoberezi be. N’olwekyo, abaweereza ba Katonda tebakola bintu biyinza kussa bulamu bwabwe mu kabi nga balowooza nti bamalayika ba Katonda bajja kubakuuma baleme kutuukibwako kabi.

Naye ekyo tekitegeeza nti bamalayika tebayamba bantu. (Zabbuli 91:11) Abantu abamu bawulira nti ebintu ebimu ebibaddewo mu bulamu bwabwe biraga nti Katonda yatuma malayika we n’abayamba. Kenneth gwe twogeddeko ku ntandikwa y’omu ku bo. Abajulirwa ba Yakuwa emirundi mingi bakirabye nti bamalayika babayamba mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Naye olw’okuba bamalayika tetusobola kubalaba, tetuyinza kumanyira ddala ngeri Katonda gy’abakozesaamu okuyamba abantu mu nsonga ezitali zimu. Wadde kiri kityo, tetuba bakyamu bwe twebaza Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna olw’engeri yonna gy’aba atuyambyemu.​—Abakkolosaayi 3:15; Yakobo 1:17, 18.