Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Na. 2 2017

Abo abanaawonawo ng’enkomerero etuuse bajja kubeera mu nsi erabika obulungi

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Ddala tuli mu “nnaku ez’enkomerero”?

Wandizzeemu otya?

  • Yee

  • Nedda

  • Kirabika

Bayibuli ky’egamba

“Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” (2 Timoseewo 3:1) Obunnabi obuli mu Bayibuli n’ebiriwo mu nsi biraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.”

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli

  • Mu nnaku ez’enkomerero wandibaddewo entalo, musisi, enjala, n’endwadde ez’amaanyi.Matayo 24:3, 7; Lukka 21:11.

  • Mu nnaku ez’enkomerero, abantu bandibadde beeyisa bubi, era nga tebaagala Katonda.2 Timoseewo 3:2-5.

Ebiseera eby’omu maaso binaaba bitya?

Abantu abamu balowooza . . . nti ensi ejja kuzikirizibwa awamu n’abantu bonna abagiriko, ate abalala balowooza nti embeera ejja kutereera. Ggwe olowooza otya?

Bayibuli ky’egamba

Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”Zabbuli 37:29.

Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli