Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Na. 1 2018

Bayibuli by’Eyigiriza Bikola Ekiseera Kyonna

Bayibuli by’Eyigiriza Bikola Ekiseera Kyonna

LOWOOZA KU KINO: Olambula mu kizimbe omukuumirwa ebintu eby’edda. Ebisinga obungi bigenda byonooneka, ate ebirala ebitundu ebimu byavaako. Naye mulimu ekibumbe ekikyalabika obulungi era ng’ebitundu byakyo byonna kwebiri. Obuuza akulambuza nti: “Kino kye kisingayo obupya ku birala?” Akuddamu nti, “Nedda. Kye kisingayo obukadde, era tekiddaabirizibwangako.” Weeyongera okumubuuza nti: “Kibadde kikuumibwa mu kifo eky’enjawulo?” Akuddamu nti “Nedda. Kye kikyasinze okukubibwa enkuba. Era bangi bagezezzaako okukyonoona.” Oyinza okwewuunya era ne weebuuza nti, ‘Kyakolebwa mu ki?’

Bayibuli nayo eringa ekibumbe ekyo. Yawandiikibwa dda nnyo, era nkadde nnyo okusinga ebitabo ebisinga obungi. Kyo kituufu waliwo ebitabo bingi ebyawandiikibwa edda. Naye okufaananako ebibumbe eby’edda ebyayonooneka, n’ebitabo ebyo ebisinga obungi byava ku mulembe ekiseera bwe kyagenda kiyitawo. Ng’ekyokulabirako, bye byogera ku bya ssaayansi tebikwatagana n’ebipya ebizuuliddwa. Amagezi ge biwa ku by’obujjanjabi emirundi egisinga tegeesigika. Ate era ebisinga obungi tebikyali nga bwe byali; ebitundu ebimu byabula oba byayonooneka.

Naye Bayibuli yo ya njawulo. Yawandiikibwa emyaka egisukka mu 3,500 egiyise, naye ekyali nga bwe yawandiikibwa. Wadde nga emirundi mingi bagezezzaako okugisaanyaawo, ekyaliwo era obubaka obugirimu tebukyukanga. Bayibuli by’eyigiriza bikola ekiseera kyonna wadde nga waliwo  abawi b’amagezi bangi.​—Laba akasanduuko “Bayibuli Yava Ku Mulembe?

AMAGEZI GE TWETAAGA LEERO

Oyinza okwebuuza nti, ‘Ddala Bayibuli by’eyigiriza bya mugaso leero?’ Okusobola okufuna eky’okuddamu, weebuuze nti: ‘Bizibu ki abantu bye bafuna leero? Biriwa ebisinga okuba eby’amaanyi?’ Oyinza okuba ng’olowoozezza ku ntalo, okwonoonebwa kw’obutonde, obumenyi bw’amateeka, oba obulyi bw’enguzi. Kati ka twetegereze agamu ku magezi agali mu Bayibuli. Bw’oba ogeetegereza weebuuze nti, ‘Singa abantu bakolera ku magezi gano, ensi teyandibadde bulungi?’

OKWAGALA EMIREMBE

“Balina essanyu abaleetawo emirembe, kubanga baliyitibwa baana ba Katonda.” (Matayo 5:9) “Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.”​—Abaruumi 12:18.

OKUBA ABASAASIZI, N’OKUSONYIWA

“Balina essanyu abo abasaasira abalala, kubanga nabo balisaasirwa.” (Matayo 5:7) “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa * bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”​—Abakkolosaayi 3:13.

OBUTASOSOLA MU MAWANGA

Katonda “yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu okubeera ku nsi yonna.” (Ebikolwa 17:26) “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

OKUKUUMA OBUTONDE

“Yakuwa Katonda n’atwala omuntu n’amuteeka mu lusuku Edeni okululimanga n’okululabiriranga.” (Olubereberye 2:15) Katonda ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’​—Okubikkulirwa 11:18.

OKUKYAWA EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU N’OMULULU

“Mwekuume okwegomba okwa buli ngeri, kubanga omuntu ne bw’aba n’ebintu ebingi, ebintu ebingi by’aba nabyo si bye bimuwa obulamu.” (Lukka 12:15) “Ebikolwa eby’obugwenyufu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri n’omululu tebirina na kwogerwako mu mmwe, nga bwe kigwanira abantu abatukuvu.”​—Abeefeso 5:3.

OBWESIGWA, N’OKUBA ABAKOZI

“Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Abebbulaniya 13:18) “Omubbi alekere awo okubba, wabula afube okukola emirimu.”​—Abeefeso 4:28.

OKUYAMBA ABALI MU BWETAAVU

“Okubudaabuda abennyamivu, okuyamba abanafu, n’okugumiikiriza bonna.” (1 Abassessalonika 5:14) “Okulabirira bamulekwa ne bannamwandu mu nnaku yaabwe.”​—Yakobo 1:27.

Bayibuli tetuwa buwi lukalala lwa byawandiikibwa ebyo. Era tetubuulira bubuulizi bya kukola, naye etubuulira n’engeri y’okubikolerako mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Singa abantu bagoberera amagezi agali mu byawandiikibwa ebyo, ebizibu  ebisinga obungi tebyandibaddewo. Mu butuufu, amagezi agali mu Bayibuli gakola ekiseera kyonna. Naye, Bayibuli by’eyigiriza biyinza bitya okukuyamba kati?

ENGERI ENJIGIRIZA ZA BAYIBULI GYE ZIYINZA OKUKUYAMBAMU KATI

Lumu Yesu yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Matayo 11:19) Bwe kityo si bwe kiri? Ebintu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi. Oyinza okwebuuza nti, ‘Amagezi agali mu Bayibuli bwe gaba nga ddala gakola, gasobola okunnyamba mu bulamu bwange? Gayinza gatya okunnyamba mu bizibu bye nnina kati?’ Lowooza ku kyokulabirako kino.

Omukyala ayitibwa Delphine, * yalina omulimu omulungi era ng’ebintu bimugendera bulungi. Naye yafuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa embeera n’eyonooneka. Yafiirwa muwala we, omwami we yamulekawo, era n’eby’enfuna ne bigootaanira ddala. Agamba nti: “Nnali sikyetegeera​—muwala wange afudde, omwami andeseewo, sirina wa kubeera. Nnawulira nga mpeddemu amaanyi era nga sikyalina mugaso.”

 Embeera Delphine gye yayitamu yamujjukiza ebigambo bino: “Tuwangaala emyaka 70, oba 80, omuntu bw’aba omugumu ennyo. Naye giba gijjudde ebizibu n’ennaku; giyita mangu ne tubulawo.”​—Zabbuli 90:10.

Bayibuli yayamba nnyo Delphine mu biseera ebyo ebizibu. Ng’ebitundu ebisatu ebiddako bwe biraga, n’abalala bangi amagezi agali mu Bayibuli gabayambye nga bafunye ebizibu. Bakizudde nti Bayibuli teringa bitabo birala ebikaddiwa ne biggwa ku mulembe. Lwaki Bayibuli eri bw’etyo? Kubanga ebigirimu byava eri Katonda so si eri bantu.​—1 Abassessalonika 2:13.

Oboolyawo naawe okirabye nti obulamu bumpi era bujjudde ebizibu. Bw’ofuna ebizibu, wa w’oyinza okuggya obuyambi, n’amagezi ageesigika?

Ka tulabe engeri ssatu Bayibuli gy’eyinza okukuyambamu. Esobola okukuyamba

  1. okwewala ebizibu bwe kiba kisoboka.

  2. okuvvuunuka ebizibu.

  3. okugumira embeera etajja kuvaawo.

Mu bitundu ebiddako, tujja kwogera ku nsonga ezo essatu.

^ lup. 10 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.​—Zabbuli 83:18.

^ lup. 24 Mu kitundu kino era ne mu bitundu ebisatu ebiddirira, amannya agamu gakyusiddwa.