Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Omunaala gw'Omukuumi  |  Na. 1 2016

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?

Ddala Wakyaliyo Abantu Abeesigwa?

Ddala Wakyaliyo Abantu Abeesigwa?

Hitoshi yali akola ku bya mbalirira mu kitongole ekimu mu Japaani. Bwe yali yeekenneenya lipooti y’embalirira n’oyo eyali amukulira ku mulimu, yamugamba nti teyalina kukola lipooti ntuufu ekwata ku by’embalirira. Hitoshi yamunnyonnyola nti yali tasobola kulimba. N’ekyavaamu eyali amukulira yamutiisatiisa okumugoba ku mulimu, era oluvannyuma yamugoba.

Hitoshi yatandika okweraliikirira, era yeebuuzanga obanga yandizzeemu okufuna omulimu. Lumu bwe yali agenze okunoonya omulimu, yagamba eyali agenda okumuwa omulimu nti yali tayinza kwenyigira mu bukumpanya obw’engeri yonna. Eyali agenda okumuwa omulimu yamugamba nti, “Endowooza yo yeewuunyisa!” Ab’omu maka ga Hitoshi awamu ne mikwano gye baamukubiriza okunywerera ku kituufu. Kyokka, Hitoshi yatandika okubuusabuusa. Yagamba nti, “Nnatandika okwebuuza obanga ddala kigasa okubeera omwesigwa olw’ebyo bye nzikiririzaamu.”

Ebyo ebyatuuka ku Hitoshi biraga nti abantu bangi tebakitwala nga kikulu okuba omwesigwa. Mu butuufu, bangi bakitwala nti okuba omwesigwa kifiiriza, naddala mu bya bizineesi. Omukyala omu abeera mu South Africa agamba nti, “Abantu be nkola nabo si beesigwa era ebiseera ebimu mpikirizibwa okuba nga bo.”

Ekimu ku bikolwa ebyoleka obutali bwesigwa ekicaase ennyo leero kwe kulimba. Okunoonyereza okwakolebwa Robert S. Feldman ow’omu yunivasite ya Massachusetts mu Amerika kwalaga nti abantu 60 ku buli kikumi balimba waakiri omulundi gumu mu buli mboozi ey’eddakiika ekkumi. Feldman agamba nti: “Ekyo kyatwewuunyisa nnyo, kubanga twali tetusuubira nti abantu balimba nnyo bwe batyo.” Abantu bangi tebaagala kulimbibwa, kyokka nga bo emirundi mingi balimba.

Naye lwaki okulimba, okubba, n’ebikolwa ebirala ebitali bya bwesigwa bicaase nnyo leero? Kabi ki akali mu butaba beesigwa? Era tuyinza tutya okwewala obutaba beesigwa?