Kiki ekituuka ku muntu ng’afudde?

ABANTU ABAMU BAKKIRIZA nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu, ate abalala bagamba nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye. Ggwe olowooza otya?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Omuntu bw’afa, aba takyaliwo.

EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI

  • Adamu, omuntu eyasooka bwe yafa, yadda mu nfuufu. (Olubereberye 2:7; 3:19) N’abantu abalala bonna abafa badda mu nfuufu.Omubuulizi 3:19, 20.

  • Omuntu afudde aba takyavunaanibwa kibi. (Abaruumi 6:7) N’olwekyo omuntu bw’afa, aba tabonerezebwa olw’ebibi bye yakola.

Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Yee

  • Nedda

  • Oboolyawo

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Wajja kubaawo okuzuukira.”Ebikolwa 24:15.

BIKI EBIRALA BYE TUYIGA MU BAYIBULI?